1Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.
2Muwulire mmwe abantu mwenna,
muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu,
Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu,
ng’alina by’abalumiriza.
3Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye
ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
4N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye
era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka
ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro,
ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
5Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo,
olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.
Ekibi kya Yakobo kye kiruwa?
Si ye Samaliya?
Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda?
Si Yerusaalemi?
6“Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu,
kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu.
Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu
N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.
7Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa;
ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro;
ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera.
Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi,
bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”
Okukaaba n’Okukungubaga
8Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe,
ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya.
Ndikaaba ng’ekibe,
ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
9Ekiwundu kye tekiwonyezeka,
ne Yuda ky’alwadde.
Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange,
ne ku Yerusaalemi yennyini.
Omulabe Asemberera Yerusaalemi
10Temukibuulira mu Gaasi,
temukaaba maziga n’akatono.
Mwevulungulire mu nfuufu
mu Besuleyafula.
11Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde,
mmwe ababeera mu Safiri.
Ababeera mu Zanani
tebalifuluma.
Beswezeeri ekuba ebiwoobe,
kubanga tokyalinayo buddukiro.
12Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi
nga balindirira okubeerwa,
kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama,
ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.
13Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi
mmwe ababeera mu Lakisi.
Mmwe nsibuko y’ekibi
mu Bawala ba Sayuuni,
kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
14Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi
ebirabo ebimusiibula.
Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba
eri bakabaka ba Isirayiri.
15Mmwe abantu b’omu Malesa,
ndibasindikira alibawangula n’abafuga.
Oyo ekitiibwa kya Isirayiri
alijja mu Adulamu.
16Mukungubage, n’emitwe mugimwe
olw’abaana bammwe be mwesiimisa;
mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega,
kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.
1यहूदिया के राजा योथाम, आहाज़ तथा हिज़किय्याह के शासनकाल में मोरेशेथवासी मीकाह के पास याहवेह का यह वचन पहुंचा, जिसे उसने शमरिया और येरूशलेम के बारे में दर्शन में देखा.
2हे लोगों, तुम सब सुनो,
पृथ्वी और इसके सभी निवासियों, इस पर ध्यान दो,
कि प्रभु अपने पवित्र मंदिर से,
परम याहवेह तुम्हारे विरुद्ध गवाही दें.
शमरिया और येरूशलेम के विरुद्ध न्याय
3देखो! याहवेह अपने निवास से निकलकर आ रहे हैं;
वे नीचे उतरकर पृथ्वी के ऊंचे स्थानों को रौंदते हैं.
4उनके पैरों के नीचे पर्वत पिघल जाते हैं
और जैसे आग के आगे मोम,
और जैसे ढलान से गिरता पानी,
वैसे ही घाटियां तड़क कर फट जाती हैं.
5यह सब याकोब के अपराध,
और इस्राएल के लोगों के पाप का परिणाम है.
याकोब का अपराध क्या है?
क्या शमरिया नहीं?
यहूदिया का ऊंचा स्थान (देवताओं के पूजा-स्थल) क्या है?
क्या येरूशलेम नहीं?
6“इसलिये मैं शमरिया को मैदान में खंडहर के ढेर सा कर दूंगा,
एक ऐसी जगह जहां अंगूर की बारी लगाई जाती है.
मैं उसके पत्थरों को नीचे घाटी में लुढ़का दूंगा
और उसकी नीवें खुली कर दूंगा.
7उसकी सब मूर्तियां टुकड़े-टुकड़े कर दी जाएंगी;
उसके मंदिर के सब भेटों को आग में जला दिया जाएगा;
मैं उसकी सब मूर्तियों को नष्ट कर दूंगा.
क्योंकि उसने अपनी भेटों को वेश्यावृत्ति करके प्राप्त किया है,
और वेश्यावृत्ति के मजदूरी के रूप में वे फिर उपयोग में लाई जाएंगी.”
रोना और शोक मनाना
8इसलिये मैं रोऊंगा और विलाप करूंगा;
मैं खाली पैर और नंगा चला फिरा करूंगा.
मैं सियार के समान चिल्लाऊंगा
और उल्लू की तरह कराहूंगा.
9क्योंकि शमरिया का घाव असाध्य है;
यह यहूदिया में फैल गया है.
यह मेरी प्रजा के द्वार तक,
और तो और यह येरूशलेम तक पहुंच गया है.
10यह समाचार गाथ1:10 गाथ अर्थ कहना में न दिया जाए;
बिलकुल भी न रोया जाए.
बेथ-अफराह1:10 बेथ-अफराह अर्थ धूल का घर में
जाकर धूल में लोटो.
11तुम जो शाफीर1:11 शाफीर अर्थ सुहानी में रहते हो,
नंगे और निर्लज्ज होकर आगे बढ़ो.
जो त्सानान1:11 त्सानान अर्थ बाहर निकलना नगर में रहते हैं
वे बाहर नहीं निकलेंगे.
बेथ-एत्सेल विलाप में डूबा हुआ है;
यह तुम्हारा और बचाव नहीं कर सकता.
12जो मारोथ1:12 मारोथ अर्थ कड़वा में रहते हैं, वे दर्द से छटपटा रहे हैं,
और मदद के लिये इंतजार कर रहे हैं,
क्योंकि याहवेह के द्वारा भेजी गई विपत्ति
येरूशलेम के प्रवेश द्वार तक पहुंच गई है.
13तुम जो लाकीश में रहते हो,
तेज भागनेवाले घोड़ों को रथ में फांदने के लिये साज पहनाओ.
तुम्हीं से ज़ियोन की पुत्री का पाप शुरू हुआ,
क्योंकि तुम्हीं में इस्राएल का अपराध पाया गया.
14इसलिये तुम्हें ही मोरेशेथ-गथ को
विदाई उपहार देना होगा.
अकज़ीब1:14 अकज़ीब अर्थ धोखा के निवासी
इस्राएल के राजाओं के लिए धोखेबाज सिद्ध होंगे.
15हे मारेशाह1:15 मारेशाह अर्थ विजेता के रहनेवाले,
मैं तुम्हारे विरुद्ध एक विजेता को भेजूंगा.
इस्राएल के प्रतिष्ठित लोग
अदुल्लाम को भाग जाएंगे.
16अपने प्यारे बच्चों के लिए शोक में
अपने सिर के बाल मुंड़ाओ;
गिद्ध के समान अपना सिर गंजा कर लो,
क्योंकि तुम्हारी संतान तुम्हारे पास से बंधुआई में चली जाएगी.