Matayo 5 – LCB & HHH

Luganda Contemporary Bible

Matayo 5:1-48

Yesu Ayigiriza ku Lusozi

1Awo Yesu bwe yalaba ng’ebibiina byeyongera obungi, n’alinnya ku lusozi, abayigirizwa be ne bajja gy’ali, 2n’abayigiriza ng’agamba nti:

3“Balina omukisa abaavu mu mwoyo,

kubanga abo Obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.

4Balina omukisa abali mu nnaku,

kubanga abo balisanyusibwa.

5Balina omukisa abeetoowaze,

kubanga abo balisikira ensi.

6Balina omukisa abalumwa enjala olw’obutuukirivu

kubanga abo balikkusibwa.

7Balina omukisa ab’ekisa,

kubanga abo balikwatirwa ekisa.

8Balina omukisa abalina omutima omulongoofu,

kubanga abo baliraba Katonda.

9Balina omukisa abatabaganya,

kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.

10Balina omukisa abayigganyizibwa olw’obutuukirivu,

kubanga abo obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.”

11“Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze. 12Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi ab’edda bwe baayigganyizibwa bwe batyo.”

Omunnyo n’Omusana

13“Mmwe muli munnyo gwa nsi. Naye kale bwe guggwaamu obuka, guliba munnyo nate? Olwo gukasukibwa ebweru ne gulinnyirirwa n’ebigere, nga tegukyalina mugaso gwonna.

14“Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi. 15Era omuntu takoleeza ttabaaza ate n’agisaanikirako ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo n’emulisiza bonna abali mu nju. 16Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.

Okutuukiriza Amateeka

17“Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza. 18Ddala ddala mbagamba nti Eggulu n’ensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira. 19Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, n’ayigiriza n’abalala okukola bwe batyo, y’alisembayo mu bwakabaka obw’omu ggulu. 20Naye mbalabula nti Okuggyako ng’obutuukirivu bwammwe businga obw’Abafalisaayo n’obw’abawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.”

Etteeka ly’Obutemu

21“Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga, na buli anattanga, anaawozesebwa.’ 22Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lw’abakulembeze b’Abayudaaya n’awozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.

23“Bw’obanga oli mu maaso ga Katonda, ng’omuleetedde ekirabo eky’okuwaayo nga ssaddaaka, n’ojjukira nga waliwo gw’olinako ensonga, 24ekirabo kyo sooka okireke awo oddeyo omale okumwetondera mutegeeragane, olyoke okomewo oweeyo ekirabo kyo eri Katonda.

25“Tegeeragananga mangu n’oyo akuwawaabira nga mukyali mu kkubo aleme kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi okukuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale okukuteeka mu kkomera. 26Nkutegeeza nti Olibeera omwo okutuusa lw’olimalayo byonna by’obanjibwa.”

Etteeka ly’Obwenzi

27“Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga!’ 28Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe. 29Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ng’ebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena. 30Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ng’ekitundu ky’omubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena n’ebitundu by’omubiri gwo byonna. 31Kyagambibwa nti, ‘Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa ey’okumugoba.’ 32Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olw’obwenzi anaabanga amwenzesezza, n’oyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze.”

Okulayira

33“Mwawulira bwe kyagambibwa ab’edda nti, ‘Buli kye weeyamanga eri Mukama okituukirizanga.’ 34Naye mbagamba nti: Temulayiranga n’akatono! Temulayiranga ggulu, kubanga ye ntebe y’obwakabaka bwa Katonda. 35Temulayiranga nsi, kubanga y’entebe y’ebigere bye. Temulayiranga Yerusaalemi, kubanga ky’ekibuga kya Kabaka omukulu. 36Era tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza na kufuula luviiri lwo olumu okuba olweru oba oluddugavu. 37Naye muddangamu buzzi nti, ‘Weewaawo.’ Oba nti, ‘Si weewaawo’. Kubanga bw’ogezaako okukakasa ebigambo byo n’okulayira kiraga nti waliwo ekitali kituufu.”

Eriiso Okugatta Eriiso

38“Mwawulira nga kyagambibwa nti, ‘Omuntu bw’anaggyangamu eriiso lya munne n’erirye linaggibwangamu. Oba omuntu bw’anaaggyangamu erinnyo lya munne, n’erirye banaalikuulangamu.’ 39Naye mbagamba nti, Temuwakananga na mubi, naye omuntu bw’akukubanga oluyi ku ttama erya ddyo omukyusizanga n’ettama eryokubiri. 40Omuntu bw’ayagalanga okuwoza naawe atwale essaati yo, omulekeranga n’ekkooti yo. 41N’oyo akuwalirizanga okumwetikkirako omugugu gwe kilomita emu, omutwalirangako n’eyokubiri. 42Akusaba omuwanga, n’oyo ayagala okukwewolako tomukubanga mabega.”

Mwagale Abalabe Bammwe

43“Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo, naye okyawenga mulabe wo.’ 44Naye nze mbagamba nti, Mwagalenga abalabe bammwe! Musabirenga ababayigganya! 45Bwe mulikola bwe mutyo muliba baana ba Kitammwe ali mu ggulu. Kubanga omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi, era n’enkuba agitonnyeza ab’amazima n’abatali ba mazima. 46Bwe mwagala ababaagala bokka, mufunamu ki? N’abawooza bwe bakola bwe batyo. 47Era bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaaba mulina njawulo ki n’abalala? Kubanga ne bannamawanga bwe bakola bwe batyo. 48Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bw’ali Omutuukirivu.”

Habrit Hakhadasha/Haderekh

הבשורה על-פי מתי 5:1‏-48

1‏-2יום אחד, כשהתאסף סביבו קהל גדול, עלה ישוע עם תלמידיו על מדרון הגבעה, התיישב שם והחל ללמד:

3”אשרי האנשים המודים בעניותם הרוחנית, כי להם שייכת מלכות השמים.

4אשרי הבוכים והמתאבלים, כי הם ינוחמו.

5אשרי הצנועים והענווים, כי העולם כולו שייך להם.

6אשרי השואפים בכל לבם לעשות את הטוב והישר, כי אלוהים ימלא את שאיפתם.

7אשרי האדיבים והרחמנים, כי אלוהים יגלה כלפיהם רחמים.

8אשרי האנשים שלבם טהור, כי הם יראו את אלוהים.

9אשרי האנשים הרודפים שלום, כי הם ייקראו ’בני־אלוהים‘.

10אשרי הסובלים והנרדפים בגלל עשותם את רצון ה׳, כי להם שייכת מלכות השמיים.

11”אם יקללו אתכם, יעלילו עליכם שקרים וירדפו אתכם בגלל אמונתכם בי, 12שמחו מאוד! כן, שמחו מאוד, כי שכר רב לכם בשמים, וזכרו שכך רדפו גם את הנביאים!

13”אתם מלח הארץ. מה יקרה לעולם אם תאבדו את המליחות שלכם? מלח תפל הוא חסר תועלת, ואינו ראוי אלא שיזרקו וירמסו אותו.

14”אתם אור העולם – בדומה לעיר הבנויה על הר, אשר כל אחד יכול לראות את אורותיה בלילה. 15‏-16אל תסתירו את אורכם! הניחו לו להאיר לכולם! תנו לכל אדם לראות את התנהגותכם הטובה, ואז יודו כולם לאביכם שבשמים.

17”אל תחשבו שבאתי לבטל את תורת משה או את אזהרותיהם של הנביאים; באתי לקיים ולמלא אותן! 18אני אומר לכם בכל הכנות והרצינות: מצוות התורה תישארנה בתוקף עד שיתקיים הכול. 19מי שיעבור על המצווה הקטנה ביותר או שיעודד אחרים לעשות זאת, הוא יהיה קטן במלכות השמים. ואילו מי שילמד את תורת ה׳ ואף יקיים את מצוותיה, יהיה גדול במלכות השמים.

20”אולם אני מזהיר אתכם: אם לא תהיו טובים יותר מהפרושים והסופרים, לא תוכלו להיכנס למלכות השמיים.

21”תורת משה אומרת: ’לא תרצח‘, והרוצח יחויב לדין. 22אולם אני אומר לכם שאם אדם אף כועס על אחיו, עליו לעמוד לדין. גם מי שיקרא לחברו ’אידיוט!‘ עליו לעמוד לדין, ואם יקלל את חברו הריהו בסכנת גיהינום! 23לכן אם אתה עומד לפני המזבח בבית־המקדש ומביא קורבן לה׳, ולפתע אתה נזכר שלאחד מחבריך יש דבר מה נגדך, 24השאר את קורבנך לפני המזבח, מהר אל חברך ובקש את סליחתו. לאחר מכן חזור לבית־המקדש והקרב את הקרבן לה׳. 25התפייס מהר עם אויבך, אחרת יהיה מאוחר מדי והוא יסגירך לידי החוק, ואז ישליכו אותך לכלא – 26שם תישאר עד שתשלם את האגורה האחרונה!

27”תורת משה אומרת: ’לא תנאף‘. 28אולם אני אומר לכם: כל מי שמסתכל על אישה בתאווה, כאילו נאף אותה בלבו. 29משום כך, אם עינך גורמת לך לחשוק ולחמוד, עקור והשלך אותה. מוטב שתאבד חלק מגופך, מאשר שיושלך כל גופך לגיהינום. 30ואם ידך – ולו גם הימנית – גורמת לך לחטוא, קצץ והשלך אותה! מוטב כך, מאשר למצוא את עצמך בגיהינום.

31”תורת משה אומרת שאם איש רוצה לגרש את אשתו, עליו לתת לה ספר כריתות, וזה הכל. 32אולם אני אומר שאיש המגרש את אשתו מלבד במקרה שבגדה בו, גורם לכך שתנאף אם תינשא בשנית. גם מי שיתחתן איתה לאישה נחשב לנואף!

33”התורה אומרת שאם נשבעת, עליך לקיים את שבועתך. 34ואילו אני אומר: אל תישבע כלל! אל תאמר: ’אני נשבע בשמים‘, כי כסא ה׳ נמצא בשמים. 35אם אתה נשבע ’בארץ‘, אתה נשבע למעשה בהדום רגליו של אלוהים. כמו כן אל תישבע ’בירושלים‘, כי היא ’קרית מלך רב‘.5‏.35 ה 35 תהלים מח 3 36גם אל תישבע על ראשך, כי אפילו שערה אחת אין ביכולתך לשנות ללבן או שחור. 37אמור פשוט: ’כן‘, או ’לא‘. יותר מזה מן הרע הוא.

38”התורה אומרת ’עין תחת עין, שן תחת שן‘.5‏.38 ה 38 שמות כא 24, ויקרא כד 20 39ואילו אני אומר לכם: אל תתקוממו נגד מי שעושה רע נגדכם. אם מישהו סוטר לך על הלחי, הושט לו גם את הלחי השנייה. 40אם דורשים ממך בבית המשפט לתת את חולצתך, תן להם גם את מעילך. 41אם חייל כופה עליך לשאת את תרמילו קילומטר אחד, שא אותו שני קילומטרים. 42תן למי שמבקש ממך, ואל תדחה את מי שרוצה ללוות ממך כסף.

43”שמעתם שנאמר: ’ואהבת לרעך, ושנאת את אויבך‘. 44אולם אני אומר: אהבו את אויביכם והתפללו בעד אלה שרודפים אתכם, 45כי כך תהיו בנים לאביכם שבשמים. שהרי אלוהים נותן את אור השמש גם לטובים וגם לרעים, ואף את הגשם הוא מוריד על צדיקים ועל רשעים כאחד. 46אם אתם אוהבים רק את אלה שאוהבים אתכם, מה מיוחד בכך? גם הפושעים נוהגים כך! 47ואם אתם חברים רק לחבריכם, במה שונים אתם מכל האחרים? הלא גם עובדי אלילים נוהגים כך! 48שאפו להיות שלמים כשם שאביכם שבשמים שלם.“