Makko 12 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

Makko 12:1-44

Olugero lw’Abalimi Ababi

1Awo Yesu n’atandika okwogera nabo mu ngero, ng’agamba nti, “Waaliwo omusajja eyalima ennimiro y’emizabbibu, n’ateeka olukomera okugyetooloola, n’ateekamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agifuniramu abalimi abaagipangisa, n’agenda olugendo. 2Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’abatumira omuddu okufuna ebibala okuva mu nnimiro ey’emizabbibu. 3Naye bwe yatuuka ku nnimiro abalimi ne bamukuba ne bamusindika n’addayo ngalo nsa. 4Nannyini nnimiro n’atuma omuddu we omulala, oyo ne bamukuba olubale, ne bamuswaza. 5Omubaka omulala gwe yatuma baamutta bussi, ate abalala be yazzaako okutuma, abamu baabakuba n’abalala ne babatta.

6“Yali asigazzaawo omu yekka ow’okutuma, ye mutabani we omwagalwa. Bw’atyo n’amutuma gye bali ng’agamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’

7“Naye abalimi abo ne bateesa bokka na bokka nti, Ono ye musika, mujje tumutte ebyobusika tubyesigalize! 8Awo ne bamukwata ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula ebweru w’ennimiro y’emizabbibu.

9“Mulowooza nannyini nnimiro alikola atya? Agenda kujja, abalimi abo bonna abazikirize, ennimiro ye agipangiseemu abalimi abalala. 10Temusomangako byawandiikibwa nti,

“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,

lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.

11Ekyo Mukama ye yakikola

era kitwewuunyisa nnyo okukiraba.’ ”

12Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamanya ng’olugero lwali lukwata ku bo, olwo ne banoonya engeri gye bayinza okumukwata, naye ne batya ekibiina. Ne bamuviira ne bagenda.

Okuwa Kayisaali Omusolo

13Ne bamuweereza abamu ku Bafalisaayo n’Abakerodiyaani boogere, bagezeeko okumutega mu bigambo. 14Awo ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oyogera mazima era tolina gw’otya. Toffaayo ku nfaanana y’abantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?”12:14 Okuwa Kayisaali omusolo: Abayudaaya mu Yuda baali bateekwa okuwa Kayisaali omusolo. Bangi ku bo baali tebakkiriziganya kalombolombo ako, kubanga baalowooza nga kyali kukkiriza bufuzi bw’Abaruumi

15Naye Yesu n’ategeera obunnanfuusi bwabwe n’abagamba nti, “Lwaki munkema. Mundeetere ensimbi ngirabe.” 16Ne bagimuleetera, n’ababuuza nti, “Ekifaananyi kino n’ebiwandiiko ebiri ku nsimbi kuno by’ani?”

Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.”

17N’abagamba nti, “Kale ebintu bya Kayisaali mubiwenga Kayisaali n’ebya Katonda, mubiwenga Katonda!”

Ne bamwewuunya nnyo.

Yesu Abuuzibwa ku by’Okuzuukira

18Awo Abasaddukaayo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti, 19“Omuyigiriza, Musa yatuwa etteeka erigamba nti omusajja omufumbo bw’afanga nga tazadde baana, muganda w’omufu awasenga nnamwandu wa muganda we oyo alyoke amuzaalire abaana. 20Waaliwo abooluganda musanvu, mukulu waabwe n’awasa, Oluvannyuma n’afa nga tazadde baana. 21Muto w’omufu kwe kuwasa nnamwandu wa mukulu we, waayitawo akabanga katono naye n’afa, nga naye tazadde mwana. Muganda w’omufu amuddako n’awasa nnamwandu oyo, naye n’atazaala. 22Bonna omusanvu ne bafa ne baggwaawo. Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 23Kale, mu kuzuukira kw’abafu omukazi oyo aliba muka ani, kubanga bonna yabafumbirwako?”

24Yesu n’abaddamu nti, “Ekibaleetedde okukyama bwe butamanya byawandiikibwa, n’obutategeera maanyi ga Katonda. 25Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu. 26Ate ebifa ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda n’amugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’ 27Katonda si Katonda w’abafu, wabula ow’abalamu. Mukyamye nnyo.”

Etteeka Ekkulu

28Awo omu ku bannyonnyozi b’amateeka eyali ayimiridde awo ng’awuliriza bye baali beebuuza, n’ategeera nga Yesu azzeemu bulungi. Naye n’amubuuzaayo nti, “Mu mateeka gonna, erisingamu obukulu lye liruwa?”

29Yesu n’amuddamu nti, “Ery’olubereberye lye lino nti, ‘Wulira, Isirayiri! Mukama Katonda waffe, Mukama ali omu yekka. 30Era yagala Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’omwoyo gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.’ 31N’eryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu.”

32Omunnyonnyozi w’amateeka n’agamba nti, “Omuyigiriza ekigambo ky’oyogedde kya mazima bw’ogambye nti waliwo Katonda omu yekka era teriiyo mulala. 33Era mmanyi nga kikulu nnyo okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’okutegeera kwaffe n’amaanyi gaffe, n’okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka, era ng’ekyo kikulu okusinga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.”

34Yesu bwe yalaba ng’omusajja azzeemu n’amagezi n’amugamba nti, “Toli wala n’obwakabaka bwa Katonda.” Okuva ku ekyo ne watabaawo muntu n’omu eyayaŋŋanga okwongera okumubuuza ebibuuzo ebirala.

Kristo Mwana wa Ani

35Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, n’ababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi? 36Kubanga Mwoyo Mutukuvu bwe yali ali ku Dawudi, Dawudi yennyini yagamba ku bwa Mwoyo Mutukuvu nti,

“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,

“Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,

okutuusa lwe nditeeka abalabe bo

wansi w’ebigere byo.” ’

37Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ayinza atya ate okuba Omwana we?”

Ekibiina kyalimu abantu bangi, ne bamuwuliriza n’essanyu.

38Awo Yesu n’ayigiriza ng’agamba nti, “Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka, kubanga baagala nnyo okwambala ne batambulatambula mu butale ng’abantu babalamusa. 39Baagala nnyo okutuula mu bifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n’okutuula mu bifo eby’ekitiibwa ku mbaga. 40Kyokka, banyagako bannamwandu ebintu byabwe, ne beeraga nga basaba esaala empanvu ennyo. Ekibonerezo kyabwe kyekiriva kibeera ekinene ddala.”

Ekirabo kya Nnamwandu

41Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.12:41 Etterekero ly’ensimbi mu yeekaalu lyabeeranga mu luggya lw’abakazi. Abasajja n’abakazi bakkirizibwanga mu luggya olwo, kyokka ng’abakazi bo bakoma awo, ate abasajja bo nga beeyongerayo munda mu yeekaalu 42Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.12:42 ze ssente ezaali zisingirayo ddala okuba eza wansi mu muwendo mu Palesitayini mu biro ebyo

43Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika. 44Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”

New International Version

Mark 12:1-44

The Parable of the Tenants

1Jesus then began to speak to them in parables: “A man planted a vineyard. He put a wall around it, dug a pit for the winepress and built a watchtower. Then he rented the vineyard to some farmers and moved to another place. 2At harvest time he sent a servant to the tenants to collect from them some of the fruit of the vineyard. 3But they seized him, beat him and sent him away empty-handed. 4Then he sent another servant to them; they struck this man on the head and treated him shamefully. 5He sent still another, and that one they killed. He sent many others; some of them they beat, others they killed.

6“He had one left to send, a son, whom he loved. He sent him last of all, saying, ‘They will respect my son.’

7“But the tenants said to one another, ‘This is the heir. Come, let’s kill him, and the inheritance will be ours.’ 8So they took him and killed him, and threw him out of the vineyard.

9“What then will the owner of the vineyard do? He will come and kill those tenants and give the vineyard to others. 10Haven’t you read this passage of Scripture:

“ ‘The stone the builders rejected

has become the cornerstone;

11the Lord has done this,

and it is marvelous in our eyes’12:11 Psalm 118:22,23?”

12Then the chief priests, the teachers of the law and the elders looked for a way to arrest him because they knew he had spoken the parable against them. But they were afraid of the crowd; so they left him and went away.

Paying the Imperial Tax to Caesar

13Later they sent some of the Pharisees and Herodians to Jesus to catch him in his words. 14They came to him and said, “Teacher, we know that you are a man of integrity. You aren’t swayed by others, because you pay no attention to who they are; but you teach the way of God in accordance with the truth. Is it right to pay the imperial tax12:14 A special tax levied on subject peoples, not on Roman citizens to Caesar or not? 15Should we pay or shouldn’t we?”

But Jesus knew their hypocrisy. “Why are you trying to trap me?” he asked. “Bring me a denarius and let me look at it.” 16They brought the coin, and he asked them, “Whose image is this? And whose inscription?”

“Caesar’s,” they replied.

17Then Jesus said to them, “Give back to Caesar what is Caesar’s and to God what is God’s.”

And they were amazed at him.

Marriage at the Resurrection

18Then the Sadducees, who say there is no resurrection, came to him with a question. 19“Teacher,” they said, “Moses wrote for us that if a man’s brother dies and leaves a wife but no children, the man must marry the widow and raise up offspring for his brother. 20Now there were seven brothers. The first one married and died without leaving any children. 21The second one married the widow, but he also died, leaving no child. It was the same with the third. 22In fact, none of the seven left any children. Last of all, the woman died too. 23At the resurrection12:23 Some manuscripts resurrection, when people rise from the dead, whose wife will she be, since the seven were married to her?”

24Jesus replied, “Are you not in error because you do not know the Scriptures or the power of God? 25When the dead rise, they will neither marry nor be given in marriage; they will be like the angels in heaven. 26Now about the dead rising—have you not read in the Book of Moses, in the account of the burning bush, how God said to him, ‘I am the God of Abraham, the God of Isaac, and the God of Jacob’12:26 Exodus 3:6? 27He is not the God of the dead, but of the living. You are badly mistaken!”

The Greatest Commandment

28One of the teachers of the law came and heard them debating. Noticing that Jesus had given them a good answer, he asked him, “Of all the commandments, which is the most important?”

29“The most important one,” answered Jesus, “is this: ‘Hear, O Israel: The Lord our God, the Lord is one.12:29 Or The Lord our God is one Lord 30Love the Lord your God with all your heart and with all your soul and with all your mind and with all your strength.’12:30 Deut. 6:4,5 31The second is this: ‘Love your neighbor as yourself.’12:31 Lev. 19:18 There is no commandment greater than these.”

32“Well said, teacher,” the man replied. “You are right in saying that God is one and there is no other but him. 33To love him with all your heart, with all your understanding and with all your strength, and to love your neighbor as yourself is more important than all burnt offerings and sacrifices.”

34When Jesus saw that he had answered wisely, he said to him, “You are not far from the kingdom of God.” And from then on no one dared ask him any more questions.

Whose Son Is the Messiah?

35While Jesus was teaching in the temple courts, he asked, “Why do the teachers of the law say that the Messiah is the son of David? 36David himself, speaking by the Holy Spirit, declared:

“ ‘The Lord said to my Lord:

“Sit at my right hand

until I put your enemies

under your feet.” ’12:36 Psalm 110:1

37David himself calls him ‘Lord.’ How then can he be his son?”

The large crowd listened to him with delight.

Warning Against the Teachers of the Law

38As he taught, Jesus said, “Watch out for the teachers of the law. They like to walk around in flowing robes and be greeted with respect in the marketplaces, 39and have the most important seats in the synagogues and the places of honor at banquets. 40They devour widows’ houses and for a show make lengthy prayers. These men will be punished most severely.”

The Widow’s Offering

41Jesus sat down opposite the place where the offerings were put and watched the crowd putting their money into the temple treasury. Many rich people threw in large amounts. 42But a poor widow came and put in two very small copper coins, worth only a few cents.

43Calling his disciples to him, Jesus said, “Truly I tell you, this poor widow has put more into the treasury than all the others. 44They all gave out of their wealth; but she, out of her poverty, put in everything—all she had to live on.”