Luusi 1 – LCB & CCL

Luganda Contemporary Bible

Luusi 1:1-22

Nawomi ne Luusi

1Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu. 2Erinnya ly’omusajja yali Erimereki, erya mukazi we Nawomi, n’amannya ga batabani be bombi, Maloni ne Kiriyoni. Baali Bayefulaasi1:2 Erinnya Bayefulaasi liva mu nju Erimereki mw’asibuka. Erimereki yabbula erinnya Efulaasi okuva mu nnyumba ye mu kifo gye yali abeera, okumpi n’e Besirekemu (4:11; Lub 35:19; 1Sa 17:12; Mi 5:2) ab’e Besirekemu mu Yuda, bwe baatuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera omwo.

3Naye Erimereki bba wa Nawomi n’afa; nnamwandu Nawomi n’asigalawo ne batabani be bombi. 4Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, n’omulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi.

5Oluvannyuma Maloni ne Kiriyoni ne bafa, Nawomi n’asigala nga talina baana wadde bba.

6Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti Mukama Katonda yajjira abantu be n’abawa emmere, n’agolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri. 7Ye ne baka baana be, ne bava mu kifo mwe baali, ne bakwata ekkubo okuddayo mu nsi ya Yuda.

8Awo Nawomi n’agamba baka baana be nti, “Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina1:8 Abawala ne bannamwandu baabeeranga ne bannyaabwe (Lub 24:28, 67). Kitaawe wa Luusi yali akyali mulamu (2:11)., era Mukama Katonda abakolere ebyekisa, nga nammwe bwe mwakolera abaafa era ne bye mwakolera nze. 9Mukama Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala.” N’alyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga, 10nga bagamba nti, “Nedda, tuligenda naawe ng’oddayo eri abantu bo.” 11Naye Nawomi n’abagamba nti, “Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe1:11 Ekyo kyogera ku mpisa y’Ekiyudaaya egamba nti nnamwandu atalina mwana ateekwa kufumbirwa muganda w’omugenzi bba (Lub 38:6-8; Ma 25:5-10). 12Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi; 13mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa Mukama Katonda tegubadde nange.”

14Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.

15Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.” 16Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange. 17Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.” 18Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, n’atayongerako kigambo kirala.

19Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?”

20Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde. 21Nagenda nnina ebintu bingi, naye Mukama Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? Mukama ambonerezza. Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona.”

22Bw’atyo Nawomi n’akomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera eky’okukungula sayiri1:22 Sayiri ye yasookanga okukungulwa. Eŋŋaano yakungulwanga wayiseewo wiiki nnyigiko (laba 2:23) nga kyakatandika.

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Rute 1:1-22

Naomi ndi Rute

1Mu nthawi imene oweruza ankalamulira Israeli, munali njala mʼdziko, ndipo munthu wina wa ku Betelehemu mʼdziko la Yuda anapita pamodzi ndi mkazi wake ndi ana ake aamuna awiri, kukakhala ku Mowabu kwa nthawi yochepa. 2Dzina la munthuyo linali Elimeleki, dzina la mkazi wake linali Naomi, ndipo mayina a ana awo aamuna anali Maaloni ndi Kiliyoni. Iwo anali Aefurati ochokera ku Betelehemu ku Yuda. Ndipo anapita kukakhala ku Mowabu.

3Kenaka Elimeleki, mwamuna wake wa Naomi anamwalira ndipo Naomiyo anatsala ndi ana ake aamuna awiri aja.

4Iwo anakwatira akazi a Chimowabu; wina dzina lake Oripa ndi wina Rute. Atakhala kumeneko pafupifupi zaka khumi, 5Maloni ndi Kiliyoni anamwaliranso kotero kuti Naomi anatsala yekha wopanda ana ake awiri aja ndi mwamuna wake.

6Naomi ndi apongozi ake awiri aja ananyamuka kubwerera kwawo kuchokera ku Mowabu popeza anali atamva ali ku Mowabuko kuti Yehova anakomera mtima anthu ake ndi kuwapatsa chakudya.

7Naomi pamodzi ndi apongozi ake awiri aja anachoka kumene ankakhala ndi kuyamba ulendo obwerera kwawo ku Yuda.

8Kenaka Naomi anati kwa apongozi ake awiri aja, “Bwererani, aliyense kwa amayi ake. Yehova akukomereni mtima, monga munachita ndi malemu aja ndi ine ndemwe.

9“Yehova akuthandizeni kuti aliyense wa inu apeze pokhala pabwino komanso mwamuna.” Kenaka anawapsompsona koma awiriwo analira mokweza.

10Ndipo anati kwa Naomi, “Ife tipita nawo kwa anthu akwanu.”

11Koma Naomi anati, “Bwererani kwanu ana anga. Chifukwa chiyani mukufuna kupita ndi ine? Kodi ine ndingaberekenso ana ena kuti akhale amuna anu? 12Bwererani kwanu ana anga muzipita kwanu. Ine ndakalamba kwambiri kotero kuti sindingakwatiwenso. Ngakhale ndikananena kuti ndili nacho chikhulupiriro, ngakhale ndikanakhala ndi mwamuna usiku uno, ndipo nʼkubala ana aamuna, 13kodi inu mukanadikira kuti akule? Kodi mukanakhalabe osakwatiwa kudikira iwowo? Ayi ana anga. Zimenezi zikundiwawa kwambiri kuposa inu, chifukwa ndi ineyo amene Yehova wafuna kuti ndizunzike.”

14Atamva zimenezi analiranso kwambiri, ndipo Oripa anapsompsona apongozi ake nawatsanzika, koma Rute anakakamirabe.

15Naomi anati “Taona, mʼbale wako wabwerera kwawo kwa anthu ake ndi kwa milungu yake. Bwerera nawenso umulondole mʼbale wako.”

16Koma Rute anayankha kuti, “Musandikakamize kuti ndikusiyeni kapena kuti ndibwerere osakutsatani. Kumene inu mupite ine ndipita komweko, ndipo kumene mukakhale inenso ndikakhala komweko. Abale anu adzakhala abale anga ndipo Mulungu wanu adzakhala Mulungu wanga. 17Kumene mukafere inenso ndidzafera komweko ndipo komweko ndikayikidwa mʼmanda. Yehova andichite choyipa chingakule motani, ngati china chingatirekanitse ife kupatula imfa.”

18Naomi atazindikira kuti Rute watsimikiza kupita naye, analeka kumukakamiza.

19Choncho amayi awiriwo anapitiriza ulendo wawo mpaka anakafika ku Betelehemu. Pamene ankafika mu Betelehemu, anthu onse a mʼmudzimo anatekeseka chifukwa cha iwowo ndipo amayi ambiri ankanena kuti, “Kodi uyu nʼkukhala Naomi?”

20Iye anawawuza kuti, “Musanditchenso Naomi. Muzinditchula ine kuti Mara, chifukwa Wamphamvuzonse wandizunza kwambiri. 21Ine ndinapita wolemera, koma Yehova wabwera nane wopanda kanthu. Nanga munditchulirenji Naomi pamene Yehova wandisautsa. Wamphamvuzonse uja wandigwetsera mavuto owawa.”

22Naomi anabwerera kuchoka ku dziko la Mowabu pamodzi ndi Rute mpongozi wake. Ndipo anafika ku Betelehemu nthawi yoyamba kukolola barele.