Lukka 23 – LCB & CCL

Luganda Contemporary Bible

Lukka 23:1-56

Yesu mu Maaso ga Piraato

1Awo Olukiiko lwonna ne lusituka, ne batwala Yesu ewa Piraato. 2Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ng’atuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.” 3Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe okyogedde.”

4Awo Piraato n’akyukira bakabona abakulu n’ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Siraba musango muntu ono gw’azizza.”

5Naye ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamazza abantu n’okuyigiriza kwe mu Buyudaaya mwonna. Yatandikira Ggaliraaya okutuukira ddala ne wano!”

6Piraato bwe yawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Omuntu ono Mugaliraaya?” 7Bwe yategeera nga Yesu Mugaliraaya, n’amuweereza eri Kerode, kubanga Ggaliraaya kyali kifugibwa Kerode, ate nga Kerode mu kiseera ekyo yali ali mu Yerusaalemi.

8Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n’asanyuka nnyo, kubanga yali atutte ekiseera kiwanvu ng’ayagala okulaba Yesu. Era okuva ku ebyo bye yali amuwuliddeko yasuubira ng’ajja kumulaba ng’akolayo ekyamagero. 9N’amubuuza ebibuuzo bingi, naye Yesu n’atamuddamu. 10Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka baali awo mu busungu obungi ne baleekaanira waggulu nga bamulumiriza. 11Kerode n’abaserikale be ne batandika okuduulira Yesu, n’okumuvuma. Ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka, ne bamuzzaayo ewa Piraato. 12Ku lunaku olwo lwennyini, Kerode ne Piraato, abaali bakyawaganye, ne bafuuka ba mukwano.

Piraato Asalira Yesu ogw’Okufa

13Awo Piraato n’akuŋŋaanya bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abantu, 14n’abagamba nti, “Mwandeetedde omuntu ono nga mumuwawaabira nti asasamaza abantu bajeeme. Mubuuzizza nnyo era ne neetegereza bulungi ensonga eyo nga nammwe we muli, naye ne nsanga nga talina musango ku ebyo bye mumuwawaabidde. 15Ne Kerode naye tamulabyeko musango era kyavudde amukomyawo gye tuli. Omuntu ono talina ky’akoze kimusaanyiza kibonerezo kya kufa. 16Noolwekyo ŋŋenda mukangavvulamu, ndyoke mmusumulule.”

17Ku buli mbaga ya Kuyitako, Piraato ng’ateekwa okubateera omusibe omu. 18Ekibiina kyonna ne kireekaana nnyo nti, “Oyo mutte! Otuteere Balaba.” 19Balaba ono yali asibiddwa lwa kukulembera kasasamalo mu kibuga, era n’olw’obutemu.

20Piraato olw’okwagala okusumulula Yesu, n’ayongera okwogera nabo. 21Naye ne beeyongera okuleekaana nti, “Mukomerere ku musaalaba! Mukomerere ku musaalaba!”

22Piraato n’ayogera nabo omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki? Azzizza musango ki? Sirabye nsonga yonna emusaanyiza kibonerezo kya kufa. Noolwekyo ka mmukangavvule, ndyoke mmusumulule.” 23Naye ne beeyongera nnyo okuleekaana, n’okuwowoggana nga baagala Yesu akomererwe ku musaalaba. Era okuleekaana kwabwe ne kuwangula.

24Awo Piraato n’akola nga bwe baayagala. 25N’asumulula Balaba, gwe baasaba eyali asibiddwa olw’okusasamaza abantu n’olw’obutemu. Naye n’abakwasa Yesu bagende bamukole nga bwe baagala.

Yesu Akomererwa ku Musaalaba

26Awo ne bafulumya Yesu okumutwala okumukomerera. Bwe baali bamutwala ne basanga omusajja Omukuleene erinnya lye Simooni, yali ava mu kyalo nga yaakayingira mu kibuga, ne bamuwaliriza okusitula omusaalaba gwa Yesu ku kibegabega kye; n’agusitula n’agutwala ng’atambulira emabega wa Yesu. 27Ekibiina kinene ne bagoberera Yesu nga mwe muli n’abakazi abaali bamukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe. 28Naye Yesu n’abakyukira n’abagamba nti, “Abawala ba Yerusaalemi, temukaabira Nze, wabula mwekaabire era mukaabire n’abaana bammwe. 29Kubanga ekiseera kijja abakazi abatalina baana lwe baliyitibwa ab’omukisa ddala.

30“ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,”

n’obusozi nti, “Mutuziike.” ’

31Kale, obanga bino babikola ku muti omubisi, naye ku mukalu kiriba kitya?”

32Waaliwo n’abasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa. 33Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono. 34Yesu n’agamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.

35Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”

36N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, 37nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!”

38Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti,

Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.

39Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.” 40Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? 41Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze.”

42N’alyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo.”

43Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”

Okufa kwa Yesu

44Awo obudde bwe bwatuuka essaawa omukaaga ez’omu ttuntu, enzikiza n’ekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa ey’omwenda, 45kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri. 46Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.

47Omuserikale Omuruumi omukulu w’ekitongole eyakulembera abaserikale abaakomerera Yesu, bwe yalaba ebibaddewo, n’atendereza Katonda ng’agamba nti, “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.” 48Abantu bonna abaali bazze okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu kifuba nga bajjudde ennaku nnyingi. 49Mikwano gya Yesu, awamu n’abakazi abajja naye nga bamugoberera okuviira ddala e Ggaliraaya, baali bayimiridde nga beesuddeko akabanga, nga batunuulira byonna ebibaddewo.

Okuziikibwa kwa Yesu

50Laba waaliwo omusajja erinnya lye Yusufu, ng’atuula mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, yali musajja mulungi era nga mutuukirivu, 51teyakkirizaganya na banne mu ebyo bye baasalawo ku Yesu ne bye baakola. Yali wa mu kibuga Alimasaya eky’omu Buyudaaya. Yali ng’alindirira n’essuubi ddene okulaba obwakabaka bwa Katonda. 52Omusajja ono n’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. 53Bwe yaguggya ku musaalaba, n’aguzinga mu lugoye lwa linena olweru ennyo, n’agugalamiza mu ntaana ey’empuku eyali etemeddwa mu lwazi, era nga teziikibwangamu muntu. 54Bino byonna byaliwo ku Lwakutaano, olunaku olw’okweteekerateekerako ng’enkeera ye Ssabbiiti.

55Omulambo gwa Yesu bwe gwali gutwalibwa mu ntaana, abakazi abaava e Ggaliraaya ne bagoberera nga bavaako emabega, ne balaba entaana n’omulambo gwe nga bwe gwagalamizibwamu. 56Ne balyoka baddayo eka ne bategeka ebyakaloosa n’amafuta ag’okusiiga omulambo gwa Yesu. Naye ne bawummula ku Ssabbiiti ng’etteeka bwe liragira.

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Luka 23:1-56

1Kenaka gulu lonse la anthuwo linayimirira ndi kumutengera kwa Pilato. 2Ndipo iwo anayamba kumuneneza nati, “Ife tinapeza munthu uyu akusokoneza anthu a mtundu wathu ndipo amatsutsa zopereka msonkho kwa Kaisara komanso amati ndi Khristu, Mfumu.”

3Pamenepo Pilato anamufunsa Yesu kuti, “Kodi Iwe ndiwe Mfumu ya Ayuda?”

Yesu anayankha kuti, “Mwatero ndinu.”

4Kenaka Pilato anawawuza akulu a ansembe ndi gulu la anthu, “Ine sindikumupeza cholakwa munthuyu.”

5Koma iwo analimbikirabe kuti, “Iyeyu amasokoneza anthu ku Yudeya konse ndi chiphunzitso chake, Iyeyu anayambira ku Galileya ndipo wayenda mtunda wonse mpaka kuno.”

6Pakumva zimenezi, Pilato anafunsa ngati munthuyo ndi Mgalileya. 7Iye atamva kuti Yesu anali pansi pa ulamuliro wa Herode, anamutumiza kwa Herodeyo, amene pa nthawi imeneyo analinso mu Yerusalemu.

8Herode ataona Yesu, anakondwa kwambiri, chifukwa kwa nthawi yayitali, ankafunitsitsa atamuona. Kuchokera pa zimene anamva za Iye, anayembekezera kuti achita zodabwitsa. 9Iye anamufunsa mafunso ambiri, koma Yesu sanayankhe. 10Akulu a ansembe ndi aphunzitsi amalamulo, anayimirira pamenepo ndi kumuneneza kwambiri. 11Pamenepo Herode ndi asilikali ake anamuseka ndi kumunyoza Iye. Atamuveka mkanjo wonyezimira, anamutumizanso kwa Pilato. 12Tsiku limenelo, Herode ndi Pilato anakhala abwenzi. Zisanachitike izi anali adani.

13Pilato anasonkhanitsa akulu a ansembe, oweruza ndi anthu, 14ndipo anawawuza kuti, “Munabweretsa munthuyu kwa ine ngati ndiye amawuza anthu kuti awukire. Ine ndamufunsa pamaso panu ndipo sindinapeze chomuyimbira mlandu. 15Herodenso sanapeze chifukwa pakuti wamutumizanso kwa ife monga mmene mukuoneramu. Iyeyu sanachite chinthu chakuti aphedwe. 16Nʼchifukwa chake, ine ndingomulanga, nʼkumumasula.” 17(Pa nthawi yachikondwerero cha Paska iye ankayenera kumasula munthu mmodzi).

18Onse pamodzi anafuwula kuti, “Muchotseni munthuyu! Timasulireni Baraba!” 19(Baraba anaponyedwa mʼndende chifukwa choyambitsa chipolowe mu mzinda ndi kupha).

20Pofuna kumumasula Yesu, Pilato anawadandaulira iwo. 21Koma iwo anapitirirabe kufuwula kuti, “Mpachikeni! Mpachikeni!”

22Kachitatu anawafunsanso iwo kuti, “Chifukwa chiyani? Kodi munthu uyu wachita choyipa chanji? Ine sindinapeze cholakwa mwa Iye chakuti aphedwe choncho ndingomukwapula ndi kumumasula.”

23Koma ndi mawu ofuwulitsa, analimbikirabe kuti Iye apachikidwe, ndipo kufuwulako kunapitirira. 24Choncho Pilato anatsimikiza kuchita zofuna zawozo. 25Iye anawamasulira munthu amene anaponyedwa mʼndende chifukwa choyambitsa chipolowe ndi kupha, amene ankamufunayo, ndipo anawapatsa Yesu mwakufuna kwawo.

Kupachikidwa kwa Yesu

26Ndipo pamene ankapita naye, anagwira Simoni wa ku Kurene, amene ankachokera ku munda, namusenzetsa mtanda namuyendetsa pambuyo pa Yesu. 27Gulu lalikulu la anthu linamutsata Iye, kuphatikiza amayi amene ankabuma ndi kumulirira. 28Yesu anatembenuka nati kwa iwo, “Ana aakazi a Yerusalemu, musandilirire Ine; dzililireni nokha ndi ana anu. 29Pakuti nthawi idzabwera imene inu mudzati, ‘Ndi odala amayi osabereka, mimba zimene sizinabereke ndi mawere amene sanayamwitse!’ 30Kenaka,

“adzawuza mapiri kuti tigwereni ife;

zitunda kuti tiphimbeni ife.

31Chifukwa ngati anthu akuchita izi pa mtengo wauwisi, chidzachitike nʼchiyani ndi wowuma?”

32Amuna ena awiri, onsewo achifwamba, anatengedwanso pamodzi ndi Yesu kukaphedwa. 33Pamene anafika pamalo otchedwa Bade, anamupachika Iye pamodzi ndi achifwambawo, mmodzi kudzanja lake lamanja ndi winayo la ku lamazere. 34Yesu anati, “Atate, akhululukireni, pakuti sakudziwa chimene akuchita.” Ndipo anagawana malaya ake mochita maere.

35Anthu anayimirira nʼkumaonerera, ngakhalenso akuluakulu ankamulalatira Iye. Iwo anati, “Iye anapulumutsa ena; adzipulumutse yekha ngati ndi Khristu wa Mulungu, Wosankhidwayo.”

36Asilikalinso anabwera ndi kumunyoza Iye. Iwo anamupatsa vinyo wosasa, 37ndipo anati, “Ngati ndiwe Mfumu ya Ayuda, dzipulumutse wekha.”

38Ndipo panalembedwa chikwangwani pamwamba pake chimene chinati: uyu ndi mfumu ya ayuda.

39Mmodzi wa achifwambawo, amene anapachikidwa, anamunenera Iye zamwano nati, “Kodi sindiwe Khristu? Dzipulumutse wekha ndi ifenso!”

40Koma wachifwamba winayo anamudzudzula iye nati, “Suopa Mulungu, iwenso ukulandira chilango chomwechi? 41Ife tikulangidwa mwachilungamo, pakuti ife tikulandira monga mwa ntchito zathu. Koma munthu uyu sanachimwe kanthu.”

42Kenaka anati, “Yesu, mundikumbukire ine pamene mulowa mu ufumu wanu.”

43Yesu anayankha kuti, “Zoonadi, ndikukuwuza kuti lero lino udzakhala ndi Ine mʼparadaiso.”

Imfa ya Yesu

44Linali tsopano pafupi ora lachisanu ndi chimodzi, ndipo mdima unagwa pa dziko lonse mpaka ora lachisanu ndi chinayi, 45pakuti dzuwa linaleka kuwala. Ndipo chinsalu cha mʼNyumba ya Mulungu chinangʼambika pakati. 46Yesu anafuwula ndi mawu okweza kuti, “Atate, ndikupereka mzimu wanga mʼmanja mwanu.” Atanena zimenezi, anamwalira.

47Kenturiyo, ataona zimene zinachitikazi, analemekeza Mulungu ndipo anati, “Zoonadi, uyu anali munthu wolungama.” 48Anthu onse amene anasonkhana kudzaonerera izi, ataona zinachitikazo, anadziguguda pachifuwa ndipo anachoka. 49Koma onse amene anamudziwa Iye, kuphatikiza amayi amene anamutsatira kuchokera ku Galileya, anayimirira akuona zinthu izi.

Yesu Ayikidwa Mʼmanda

50Ndipo taonani panali munthu wina wotchedwa Yosefe, mmodzi wa gulu loweruza, munthu wabwino ndi wolungama. 51Iye sanavomereze zimene anzake abwalo anagwirizana ndi kuchita. Iye ankachokera ku mudzi wa Arimateyu wa ku Yudeya ndipo ankayembekezera ufumu wa Mulungu. 52Atapita kwa Pilato, iye anakapempha mtembo wa Yesu. 53Ndipo anawutsitsa, nawukulunga nsalu yabafuta nawuyika mʼmanda wosemedwa mʼmwala, amene panalibe wina amene anayikidwamo. 54Linali tsiku lokonzekera ndipo Sabata linatsala pangʼono kuyamba.

55Amayi amene anabwera ndi Yesu kuchokera ku Galileya, anatsata Yosefe ndipo anaona manda ndi momwe mtembo wake anawuyikira. 56Kenaka anapita ku mudzi ndi kukakonza mafuta onunkhira. Koma anapuma pa tsiku la Sabata pomvera malamulo.