Lukka 15 – LCB & CRO

Luganda Contemporary Bible

Lukka 15:1-32

Olugero lw’Endiga Eyabula

1Awo abasolooza b’omusolo n’abakozi b’ebibi ne bakuŋŋaanira eri Yesu okumuwuliriza. 2Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti Yesu akolagana n’abantu abalina ebibi, n’okulya n’alya nabo.

3Yesu n’alyoka abagerera olugero luno ng’agamba nti, 4“Singa omu ku mmwe abadde alina endiga kikumi, naye emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale n’agenda anoonya eri ebuze okutuusa Lw’agiraba? 5Bw’agiraba, agisitula ku bibegabega bye n’agitwala eka ng’ajaguza. 6Bw’atuuka eka ayita mikwano gye ne baliraanwa be bajje ng’agamba nti, ‘Munsanyukireko kubanga endiga yange eyabadde ebuze, erabise.’ 7Mu ngeri y’emu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”

Olugero lw’Ennoso Eyabula

8“Oba mukazi ki alina ennoso ze kkumi, emu n’emubulako, atakoleeza ttaala n’anoonya mu buli kasonda konna ak’ennyumba, n’ayera n’ebuziizi yenna okutuusa lw’agiraba? 9Bw’agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, ennoso yange eyabadde ebuze ngirabye.’ 10Mbategeeza nti mu ngeri y’emu omukozi w’ebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”

Olugero lw’Omwana Eyazaawa

11Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalina batabani be babiri. 12Omuto n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe n’abagabanyiza ebintu byabwe.

13“Waayitawo ennaku ntono, omwana omuto n’asibako ebintu bye byonna ne yeetambulira, n’agenda mu nsi ey’ewala. Bwe yatuuka eyo n’asaasaanya ebintu bye ne yeemalira mu binyumu. 14Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, n’enjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, n’asiibanga era n’asulanga enjala. 15N’agenda abeere ew’omwami omu ow’omu nsi omwo n’amusaba amuwe omulimu, n’amusindika gye yalundiranga embizzi azirabirirenga. 16Omulenzi ne yeegombanga okulyanga ebikuta by’embizzi, naye ne watabaawo amuwa kantu konna.

17“Naye bwe yeddamu n’agamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala! 18Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go, 19era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ng’abapakasi bo.’ 20Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe.

“Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera. 21Omwana n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’

22“Naye kitaawe n’alagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze n’engatto! 23Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze. 24Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga n’etandika.

25“Mu kiseera ekyo omwana omukulu yali ali mu nnimiro. Awo bwe yali akomawo eka ng’asemberedde ennyumba, n’awulira ennyimba ez’amazina. 26N’ayita omu ku baweereza n’amubuuza bwe bibadde. 27Omuweereza n’amutegeeza nti, ‘Muganda wo akomyewo, era kitammwe amuttidde ennyana eya ssava olwokubanga muganda wo akomyewo nga mulamu bulungi.’

28“Muganda we omukulu n’anyiiga, n’okuyingira n’atayingira mu nnyumba. Naye kitaawe n’ajja n’amwegayirira ayingire, 29naye omwana n’amuddamu nti, ‘Emyaka gino gyonna nkukoledde, era tewali mulundi na gumu Lwe wali ondagidde ne nkujeemera. Naye tompangayo wadde akabuzi akato neesanyuseeko ne mikwano gyange. 30Naye kale mutabani wo olukomyewo ng’ebintu byo bye wamuwa amaze okubimalira mu bamalaaya, n’omuttira ennyana ensava.’

31“Kitaawe n’amuddamu nti, ‘Laba mwana wange, tuli ffenna bulijjo, era byonna bye nnina bibyo. 32Kaakano kituufu okusanyuka n’okujaguza. Kubanga muganda wo, yali afudde, kaakano mulamu! Yali azaaye, wuuno azaawuse!’ ”

Knijga O Kristu

Luka 15:1-32

Prispodoba o izgubljenoj ovci

(Mt 18:12-14)

1Oko Isusa su se okupljali svi ubirači poreza i ostali zloglasni grešnici da ga slušaju dok poučava. 2Zato su farizeji i pismoznanci prigovarali: “Druži se s grešnicima i još s njima jede!”

3Isus im stoga ispriča prispodobu: 4“Tko od vas ne bi, da ima sto ovaca i da se jedna od njih izgubi u pustinji, otišao tražiti tu jednu dok ju ne nađe? 5A onda bi ju, sav sretan, na ramenima odnio doma 6te pozvao prijatelje i susjede da im kaže: ‘Radujte se sa mnom! Našao sam izgubljenu ovcu!’ 7Kažem vam da će na nebu također biti veća radost zbog jednoga jedinoga grešnika koji se obrati Bogu nego zbog devedeset devet pravednika kojima obraćenje ne treba.”

Prispodoba o izgubljenom novčiću

8“Koja to žena, da ima deset srebrnih novčića15:8 U grčkome: deset drahmi. Tada je jedna drahma bila prosječna dnevna nadnica. i jedan izgubi, ne bi upalila svjetlo, pomela kuću i pomnjivo ju pretražila da ga pronađe? 9A kad ga nađe, pozvala bi prijateljice i susjede i rekla: ‘Radujte se sa mnom! Našla sam izgubljeni novac!’ 10Kažem vam da silnu radost u nebu gledaju i anđeli Božji zbog samo jednoga jedinoga grešnika koji se obrati Bogu.”

Prispodoba o izgubljenom sinu

11Isus nastavi: “Neki je čovjek imao dvojicu sinova. 12Mlađi mu reče: ‘Oče, daj mi sada dio baštine koji mi pripada.’ I otac podijeli imanje.

13Nakon nekoliko dana mlađi sin pokupi sve, otputuje u daleku zemlju i ondje potroši sav novac živeći raspušteno. 14Kad je potratio sav novac, u toj zemlji zavlada velika glad te on počne oskudijevati. 15Zaposli se kao najamnik pri nekom seljaku te mu je pasao svinje. 16Mladić je bio tako gladan da bi rado jeo i ljuske od mahuna što su ih jele svinje, ali nitko mu ih nije davao.

17Kad je napokon došao k sebi, reče: ‘Pri mojemu ocu i najamnici imaju hrane napretek, a ja ovdje umirem od gladi! 18Idem doma, ocu, i reći ću mu: “Oče, zgriješio sam i tebi i Bogu. 19Nisam više dostojan zvati se tvojim sinom. Molim te, primi me da radim pri tebi kao najamnik.”’

20I vrati se doma ocu. Dok je još bio daleko, otac ga ugleda pa ganut potrči pred njega, zagrli ga i izljubi. 21‘Oče! Zgriješio sam i tebi i Bogu! Nisam više dostojan zvati se tvojim sinom’, reče sin.

22Ali otac reče slugama: ‘Brzo donesite haljinu, onu najljepšu, i obucite ga! Stavite mu prsten na ruku, obujte mu sandale! 23I zakoljite ono ugojeno tele da se pogostimo i proslavimo 24što mi je sin bio mrtav, a sada je živ, bio je izgubljen, a sada je nađen!’ I započne veselje.

25Stariji je sin radio u polju. Kad se na povratku približio kući, začuje da se unutra svira i pleše. 26Dozove nekog slugu da ga upita što se događa. 27‘Vratio ti se brat, pa je otac zaklao ugojeno tele da proslavi što mu se sin vratio živ i zdrav.’

28Stariji se brat nato rasrdi i nije htio ući. Otac ga iziđe moliti da uđe. 29‘Ja ti tolike godine služim i nikada nisam odbio učiniti što mi kažeš, ali meni nikad nisi ni jare dao da se proveselim s prijateljima. 30Ali tvoj je sin s bludnicama potratio imanje, a ti mu zakolješ najbolje ugojeno tele!’ reče mu sin.

31‘Sinko,’ reče otac, ‘pa ti si stalno sa mnom. Sve što imam pripada tebi. 32Ali trebalo je proslaviti i radovati se jer tvoj je brat bio mrtav, a sada je živ, bio je izgubljen, a sada je nađen.’”