Okwenenya Kuleeta Omukisa
114:1 Kos 5:5Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.
Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
214:2 a Mi 7:18-19 b Beb 13:15Mudde eri Mukama
nga mwogera ebigambo bino nti,
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,
otwanirize n’ekisa,
bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
314:3 a Zab 33:17; Is 31:1 b Kos 8:6 c Zab 10:14; 68:5Obwasuli tebusobola kutulokola;
Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’
nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,
kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”
414:4 a Kos 6:1 b Zef 3:17Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,
ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
514:5 a Lu 2:1 b Is 35:2 c Yob 29:19Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
614:6 a Zab 52:8; Yer 11:16 b Lu 4:11Amatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
714:7 a Zab 91:1-4 b Kos 2:22 c Ez 17:23Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
814:8 nny 3Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?
Ndimwanukula ne mulabirira.
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.
914:9 a Zab 107:43 b Nge 10:29; Is 1:28 c Zab 111:7-8; Zef 3:5; Bik 13:10 d Is 26:7Abalina amagezi bategeera ensonga zino,
era abakabakaba balibimanya.
Amakuba ga Mukama matuufu,
n’abatuukirivu bagatambuliramu,
naye abajeemu bageesittaliramu.