Koseya 13 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 13:1-16

Mukama Asunguwalira Isirayiri

113:1 a Bal 12:1 b Bal 8:1 c Kos 11:2Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga.

Yagulumizibwanga mu Isirayiri.

Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.

213:2 a Is 46:6; Yer 10:4 b Is 44:17-20Ne kaakano bongera okwonoona;

ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe,

ng’okutegeera kwabwe bwe kuli,

nga byonna mulimu gw’abaweesi.

Kigambibwa nti,

“Bawaayo ssaddaaka ez’abantu,

ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”

313:3 a Kos 6:4 b Is 17:13 c Dan 2:35 d Zab 68:2Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya,

oba ng’omusulo oguvaawo amangu,

ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro,

oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.

413:4 a Kos 12:9 b Kuv 20:3 c Is 43:11; 45:21-22“Nze Mukama Katonda wo

eyakuggya mu nsi ya Misiri;

so tolimanya Katonda mulala wabula nze,

so tewali mulokozi wabula nze.

5Nakulabirira mu ddungu,

mu nsi ey’ekyeya ekingi.

613:6 Ma 32:12-15; Kos 2:13Bwe nabaliisa, bakkuta;

bwe bakkuta ne beegulumiza,

bwe batyo ne banneerabira.

7Kyendiva mbalumba ng’empologoma,

era ndibateegera ku kkubo ng’engo.

813:8 a 2Sa 17:8 b Zab 50:22Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo,

ndibalumba ne mbataagulataagula.

Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo,

ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.

913:9 a Yer 2:17-19 b Ma 33:29Ndibazikiriza mmwe Isirayiri,

kubanga munnwanyisa.

1013:10 a 2Bk 17:4 b 1Sa 8:6; Kos 8:4Kabaka wammwe ali wa, abalokole?

Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa,

be wayogerako nti,

‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’

1113:11 1Bk 14:10; Kos 10:7Nabawa kabaka nga nsunguwadde,

ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.

1213:12 Ma 32:34Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa,

era n’ekibi kye kimanyiddwa.

1313:13 a Is 13:8; Mi 4:9-10 b Is 66:9Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira,

naye omwana olw’obutaba n’amagezi,

ekiseera bwe kituuka,

tavaayo mu lubuto.

1413:14 a Zab 49:15; Ez 37:12-13 b 1Ko 15:55*“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,

era ndibalokola mu kufa.

Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?

Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?

“Sirimusaasira,

1513:15 a Kos 10:1 b Ez 19:12 c Yer 51:36 d Yer 20:5ne bw’anaakulaakulana mu baganda be.

Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama,

ng’eva mu ddungu,

n’ensulo ze ne zikalira,

n’oluzzi lwe ne lukalira.

Eggwanika lye lirinyagibwa,

eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.

1613:16 a Kos 10:2 b Kos 7:14 c Kos 11:6 d 2Bk 8:12; Kos 10:14 e 2Bk 15:16; Is 13:16Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe

kubanga bajeemedde Katonda waabwe.

Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,

n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”