Kaabakuuku 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Kaabakuuku 3:1-19

Okusaba kwa Kaabakuuku

1Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.

23:2 a Zab 44:1 b Zab 119:120 c Zab 85:6 d Is 54:8Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo;

mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.

Bizze buggya mu nnaku zaffe,

bimanyise mu biro bino,

era mu busungu jjukira okusaasira.

33:3 Zab 48:10Katonda yajja ng’ava e Temani,

Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.

Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,

ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.

4Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.

Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,

era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.

5Kawumpuli ye yakulembera,

Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.

63:6 Zab 114:1-6Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;

Yatunula n’akankanya amawanga.

Ensozi ez’edda za merenguka,

obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.

73:7 a Bal 7:24-25 b Kuv 15:14Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:

n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.

83:8 a Kuv 7:20 b Zab 68:17Ayi Mukama, wanyiigira emigga?

Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?

Wanyiigira ennyanja

bwe weebagala embalaasi zo,

n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?

93:9 Zab 7:12-13Wasowolayo akasaale ko,

wategeka okulasa obusaale;

ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.

103:10 a Zab 98:7 b Zab 93:3Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;

Amataba ne gayitawo mbiro,

obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,

ne busitula amayengo gaayo waggulu.

113:11 a Yos 10:13 b Zab 18:14Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,

olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,

n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.

123:12 Is 41:15Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,

wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.

133:13 a Zab 20:6; 28:8 b Zab 68:21; 110:6Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,

olokole gwe wafukako amafuta;

Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,

ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.

143:14 a Bal 7:22 b Zab 64:2-5Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,

abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,

nga bali ng’abanaatumalawo,

ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.

153:15 Kuv 15:8; Zab 77:19Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,

n’otabangula amazzi amangi.

Okusanyukira mu Mukama

16Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana

n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;

Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,

amagulu gange ne gakankana.

Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku

bwe lulijjira eggwanga eritulumba.

173:17 a Yo 1:10-12, 18 b Yer 5:17Wadde omutiini tegutojjera,

so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,

amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,

ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,

endiga nga ziweddemu mu kisibo,

nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,

183:18 Is 61:10; Baf 4:4kyokka ndijaguliza Mukama,

ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.

193:19 a Ma 33:29; Zab 46:1-5 b Ma 32:13; 2Sa 22:34; Zab 18:33Mukama Katonda, ge maanyi gange;

afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo,

era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.