11:1 Nak 1:1Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.
Kaabakuuku yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya
21:2 a Zab 13:1-2; 22:1-2 b Yer 14:9Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira
naye nga tompuliriza?
Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,”
naye n’otonnyamba?
31:3 a nny 13 b Yer 20:8 c Zab 55:9Lwaki ondaga obutali bwenkanya
era lwaki ogumiikiriza obukyamu?
Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,
empaka n’ennyombo byeyongede.
41:4 a Zab 119:126 b Yob 19:7; Is 1:23; 5:20; Ez 9:9Amateeka kyegavudde gatagonderwa
era n’obwenkanya ne butakolebwa.
Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde,
n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.
Okuddamu kwa Mukama
51:5 a Is 29:9 b Bik 13:41*“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo.
Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe
gwe mutalikkiriza
newaakubadde nga mugubuuliddwa.
61:6 a 2Bk 24:2 b Yer 13:20Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya,
eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe,
ababunye ensi eno n’eri
nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
71:7 Is 18:7; Yer 39:5-9Ba ntiisa, batiibwa,
be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola,
nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
81:8 Yer 4:13Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo,
era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro.
Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala
era bajja beesaasaanyizza
ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.
91:9 Kbk 2:5Bajja n’eryanyi bonna,
ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu;
ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.
101:10 2By 36:6Weewaawo, basekerera bakabaka
ne baduulira n’abakungu.
Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo
ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.
111:11 a Yer 4:11-12 b Dan 4:30Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga;
abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”
Kaabakuuku Yeemulugunya Ogwokubiri
121:12 a Is 31:1 b Is 10:6Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe,
ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa.
Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango.
Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
131:13 Kgb 3:34-36Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi,
so toyinza kugumiikiriza bukyamu.
Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe,
n’osirika ng’omubi amalirawo ddala
omuntu amusinga obutuukirivu?
14Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja,
ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.
151:15 a Is 19:8 b Yer 16:16Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo,
oluusi n’abawalula mu katimba ke,
n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye
n’alyoka asanyuka n’ajaguza.
161:16 Yer 44:8Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke
n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane;
akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya,
n’alya emmere ey’ekigagga.
171:17 Is 14:6; 19:8Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe,
n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?