Isaaya 66 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 66:1-24

1Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,

“Eggulu y’entebe yange kwe nfugira

n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,

nnyumba ki gye mulinzimbira?

Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?

2Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,

noolwekyo ebintu bino byonna byange?”

bw’ayogera Mukama Katonda.

“Ono ye muntu gwe ntunulako;

oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,

oyo akankanira ekigambo kyange.

3Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu,

oyo awaayo omwana gw’endiga n’aba ng’amenye ensingo y’embwa,

n’oyo awaayo ekiweebwayo eky’empeke

aba ng’awaddeyo omusaayi gw’embizzi,

era oyo anyookeza obubaane bw’ekijjukizo

aba ng’asinza ekifaananyi ekikole n’emikono.

Abantu bakutte amakubo gaabwe,

era emmeeme zaabwe zisanyukira eby’emizizo byabwe.

4Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira,

mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko.

Kubanga bwe nayita,

teri n’omu yayanukula,

bwe nnaayogera

tebanfaako.

Bakola ebibi mu maaso gange

ne bagoberera ebitansanyusa.”

5Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda

mmwe abakankanira ekigambo kye.

“Baganda bammwe abatabaagala

era ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti,

‘Leka Mukama alage obukulu bwe

abalokole tulabe bwe musanyuka!’

Naye bo be banaakwasibwa ensonyi.

6Muwulirize.

Oluyoogaano oluva mu kibuga, muwulirize eddoboozi eriva mu yeekaalu.

Eddoboozi eryo lya Mukama Katonda ng’asasula abalabe be

nga bwe kibagwanira.

7“Ekibuga kyange ekitukuvu

kiri ng’omukazi azaala

nga tannatuusa kulumwa,

obulumi nga tebunatuuka n’akubawo eddenzi.

8Ani eyali awulidde ekintu bwe kityo?

Ani eyali alabye ekiri ng’ekyo?

Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumu

oba eggwanga okutondebwawo mu kaseera obuseera?

Akaseera katono bwe kati,

Sayuuni anaaba yakalumwa ng’eggwanga litondebwa.

9Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa

ne batazaalibwa?” bw’ayogera Mukama Katonda.

“Ate olubuto ndusiba ntya

nga ndutuusizza ku kuzaala?” bw’ayogera Mukama Katonda wo.

10“Mujagulize wamu ne Yerusaalemi

era mumusanyukireko mwenna abamwagala,

mujaganye nnyo

mmwe mwenna abamukaabira.

11Kubanga muliyonka

munywe n’essanyu

mukkutire ddala

ku kitiibwa kye ekingi.”

12Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo,

obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala.

Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriizi

era bababuusizebuusize ku mubiri gwe.

13Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina,

bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi

mu Yerusaalemi.”

14Kino bw’olikiraba omutima gwo gulisanyuka,

era kirikufuula w’amaanyi omulamu obulungi ng’omuddo ogukuze.

Olwo kiryoke kimanyibwe nti omukono gwa Mukama Katonda guyamba abaweereza be,

ate obusungu bwe ne bulagibwa abalabe be.

15“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,

era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.

Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi

era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.

16Omuliro n’ekitala

Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna,

n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.

17“Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.

18“Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.

19“Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli66:19 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya, n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani,66:19 Yavani ye Buyonaani mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange. 20Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda. 21Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda.

22“Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala. 23Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda. 24“Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Исаия 66:1-24

Суд, утешение и надежда

1Так говорит Вечный:

– Небеса – Мой престол,

и земля – подножие для ног Моих!

Какой вы можете построить Мне дом?

Где может быть место отдыха для Меня?

2Всё это сотворено Моей рукой,

и всё это – Моё66:2 Или: «и так всё это появилось»., –

возвещает Вечный. –

Вот кем Я дорожу:

тем, кто кроток и сокрушён духом

и трепещет перед словом Моим.

3А приносящий в жертву быка –

как убивающий человека;

приносящий в жертву ягнёнка –

как ломающий шею псу;

представляющий хлебное приношение –

как приносящий свиную кровь,

и приносящий в памятную жертву благовония –

как тот, кто молится идолу66:3 Или: «Приносящий в жертву быка также убивает человека; приносящий в жертву ягнёнка также ломает шею псу; представляющий хлебное приношение также приносит свиную кровь, и приносящий в памятную жертву благовония также молится идолу»..

Они сами избрали свои пути,

и мерзости их им приятны.

4Что ж, и Я изберу суровое наказание для них

и наведу на них то, чего они боятся.

Когда Я звал, никто не ответил,

когда Я говорил, никто не слушал.

Они делали злое в Моих глазах

и избрали неугодное Мне.

5Слушайте слово Вечного,

трепещущие перед Его словом:

– Ваши братья, которые вас ненавидят

и изгоняют за имя Моё, сказали:

«Пусть Вечный явит Себя в славе,

а мы посмотрим на вашу радость!»

Но они будут опозорены.

6Вот шум из города,

шум из храма –

шум от того, что Вечный воздаёт

врагам Своим по заслугам!

7Ещё не мучилась родами,

а уже родила;

ещё не страдала от болей,

но уже разрешилась сыном.

8Кто слышал о таком?

Кто видел подобное?

Рождается ли страна в один день

или народ – за одно мгновение?

Но дочь Сиона66:8 Дочь Сиона – олицетворение Иерусалима. Так же и «дочь Иерусалима» в ст. 10. едва начала мучиться родами,

как родила своих сыновей.

9– Доведу ли Я до родов

и не дам родить? – говорит Вечный. –

Разве закрою Я утробу,

дав силу родить? – говорит Бог твой. –

10Ликуйте с дочерью Иерусалима и веселитесь о ней,

все, кто любит её;

радуйтесь, радуйтесь с ней,

все, кто над ней плачет!

11Потому что вы будете питаться и насыщаться

из её груди, дающей утешение,

будете упиваться и наслаждаться

полнотой её славы.

12Ведь так говорит Вечный:

– Я направляю к нему мир, как реку,

и богатства народов, как полноводный поток.

Вас будут кормить, будут носить на руках

и качать на коленях.

13Как мать утешает своё дитя,

так утешу вас Я;

вы будете утешены в Иерусалиме.

14Когда вы увидите это, сердце ваше возрадуется,

и ваша сила вернётся быстрее, чем вырастет трава.

Рука Вечного откроется Его рабам,

но ярость Его будет против Его врагов.

15Вот Вечный придёт в огне,

колесницы Его подобны урагану;

в ярости Он обрушит Свой гнев

и в пылающем пламени – Свой укор.

16Огнём и Своим мечом Вечный исполнит

приговор над всеми людьми,

и много будет сражённых Вечным.

17– Те, кто освящаются и очищаются, чтобы идти, следуя за ведущим, в сады для поклонения идолам, кто ест свинину, мышей и другие мерзости66:17 См. Лев. 11., погибнут вместе, – возвещает Вечный.

18Я знаю их дела и мысли и иду собрать все народы и людей всех языков; они придут, увидят Мою славу, 19и Я дам им знамение. Я пошлю некоторых из уцелевших к народам – в Фарсис, Ливию и Лидию66:19 Букв.: «Пул и Луд». (знаменитую стрелками из лука), в Тувал и Грецию66:19 Букв.: «Иаван»., к дальним островам, которые не слышали обо Мне и не видели Моей славы. Они возвестят Мою славу среди народов. 20Они доставят всех ваших братьев из всех народов к Моей святой горе, в Иерусалим, как дар Вечному, – на конях, в колесницах и повозках, на мулах и на верблюдах, – говорит Вечный. – Они доставят их, как исраильтяне доставляют свои хлебные приношения в храм Вечного, в сосудах, посвящённых Аллаху. 21И ещё Я отберу некоторых из них, чтобы они были священнослужителями и левитами, – говорит Вечный.

22Потому что, как новое небо и новая земля, которые Я создам, устоят и останутся предо Мной, – возвещает Вечный, – так останется ваше потомство и ваше имя. 23И от новолуния к новолунию, от субботы к субботе66:23 Новолуние – исраильтяне, пользовавшиеся лунным календарём, праздновали начало каждого месяца, которое совпадало с новолунием (см. Чис. 28:11-15). Суббота – седьмой день недели у иудеев, день, посвящённый Вечному. В этот день, согласно повелению Вечного, исраильский народ отдыхал и совершал ритуальные приношения (см. Исх. 31:12-17; Чис. 28:9-10). все люди будут приходить и поклоняться Мне, – говорит Вечный. – 24Тогда они выйдут и посмотрят на трупы тех, кто отступил от Меня; черви, грызущие их, не умрут, и огонь, пожирающий их, не угаснет66:24 Черви… огонь – в Инджиле эти образы стали ключевой метафорой ада – места, где предаются вечным мукам нераскаявшиеся грешники (см. 57:20-21; Мк. 9:47-48)., и они будут внушать отвращение всем людям.