Isaaya 64 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 64:1-12

Okusingibwa Omusango mu Maaso ga Mukama

1Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi,

ensozi ne zikankana mu maaso go!

2Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku,

oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera,

ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo,

n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!

3Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira,

wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.

4Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde

oba kutu kwali kutegedde,

oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe,

alwanirira abo abamulindirira.

5Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu,

abo abajjukira amakubo go.

Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu.

Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe,

ddala tulirokolebwa?

6Ffenna twafuuka batali balongoofu

era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu64:6 obukyafu wano kitegeeza abakyala nga bavudde mu nsonga yaabwe eya buli mwezi.

Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola,

era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.

7Tewali n’omu akoowoola linnya lyo

oba eyewaliriza okukukwatako,

kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go,

era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.

8Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.

Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,

ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.

9Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda,

tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna.

Weewaawo, tutunuulire, tusaba,

kubanga tuli bantu bo.

10Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu,

ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.

11Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa

bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro,

era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.

12Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo?

Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?