Isaaya 6 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 6:1-13

Katonda Atuma Isaaya

1Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. 2Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa. 3Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti,

“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna:

ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”

4N’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyali akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, yeekaalu n’ejjula omukka.

5Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda ow’Eggye!”

6Olwo omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto6:6 Ekyoto ekyo ky’ekyoto eky’obuwoowo ekiri wakati w’Awatukuvu. ne nnamagalo. 7Era n’alikomya ku kamwa kange, n’agamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era n’ekibi kyo kikusonyiyiddwa.”

8Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?”

Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”

9Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti,

“ ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga,

n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’

10Okakanyaze omutima gw’abantu bano,

oggale amatu gaabwe,

n’amaaso gazibe

si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe

oba okuwulira n’amatu gaabwe

oba okutegeera n’emitima gyabwe

ne bakyuka bawonyezebwe.”

11Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?”

Nanziramu nti,

“Okutuusa ebibuga lwe birizika

nga tewali abibeeramu,

ne mu mayumba nga temuli muntu,

ensi ng’esigalidde awo,

12okutuusa nga Mukama Katonda agobedde wala buli muntu,

era ng’ensi esigadde matongo.

13N’ekimu eky’ekkumi ekiriba kisigaddewo,

nakyo kirizikirizibwa.

Naye ng’omumyuliru n’omuvule

bwe gireka ebikolo byagyo bwe gitemebwa,

bw’etyo ensigo entukuvu bw’erigwa mu ttaka n’esigala ng’ekikolo mu nsi.”

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Исаия 6:1-13

Призвание Исаии

1В год смерти царя Уззии6:1 Царь Уззия умер приблизительно в 740 г. до н. э. я видел Владыку, сидящего на престоле, высоком и превознесённом, и края Его одеяния наполняли храм. 2Над Ним парили серафимы6:2 Серафим – один из высших ангельских чинов., и у каждого было по шесть крыльев: двумя крыльями они закрывали свои лица, двумя закрывали ноги и двумя летали. 3Они восклицали друг другу:

– Свят, свят, свят Вечный, Повелитель Сил;

вся земля полна Его славы!

4От звука их голосов дрогнули косяки дверей, и храм наполнился дымом.

И тогда я воскликнул:

5– Горе мне! Я погиб! Я человек с нечистыми устами, и живу среди народа с нечистыми устами, а глаза мои видели Царя, Вечного, Повелителя Сил.

6Тогда один из серафимов подлетел ко мне, держа горящий уголь, который он взял щипцами с жертвенника. 7Он коснулся им моих уст и сказал:

– Вот, это прикоснулось к твоим устам; твоя вина снята, и твой грех очищен.

8Затем я услышал голос Владыки, говорящего:

– Кого Мне послать? И кто пойдёт для Нас?

И я сказал:

– Вот я. Пошли меня!

9Он сказал:

– Пойди и скажи этому народу:

«Слушать слушайте, но не понимайте,

смотреть смотрите, но не разумейте».

10Ожесточи сердце этого народа,

закрой их уши

и сомкни им глаза,

чтобы они не смогли увидеть глазами,

услышать ушами

и понять сердцем,

чтобы не обратились и не получили исцеление.

11Тогда я спросил:

– Надолго ли Ты отправляешь меня, Владыка?

И Он ответил:

– Пока города не лягут руинами

и не останутся без жителей;

пока дома не будут брошены,

и поля не будут опустошены и разграблены;

12пока Вечный не изгонит всех,

и страна не будет совершенно заброшена.

13И пусть в ней останется десятая часть её жителей,

она будет снова опустошена.

Но как от теревинфа6:13 Теревинф – невысокое дерево (до пяти метров) с широкой кроной. Распространено в тёплых сухих местах в самом Исраиле и в соседних районах. и от дуба

остаётся корень, когда их срубят,

так и оставшийся святой народ, словно корень,

породит новую жизнь.