Isaaya 54 – LCB & OL

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 54:1-17

Ekitiibwa Kya Sayuuni eky’Oluvannyuma

1“Yimba ggwe omugumba

atazaalanga;

tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala

ggwe atalumwanga kuzaala.

Kubanga ggwe eyalekebwa

ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,”

bw’ayogera Mukama.

2“Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo,

tokwata mpola;

nyweza enkondo zo.

3Kubanga olisaasaanira

ku mukono gwo ogwa ddyo

era n’ogwa kkono,

n’ezzadde lyo lirirya amawanga,

era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.

4“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi.

Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa.

Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo,

n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.

5Kubanga Omutonzi wo ye balo,

Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo,

Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.

6Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo,

ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima;

omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,”

bw’ayogera Katonda wo.

7“Nakulekako akaseera katono nnyo;

naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.

8Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata

nakweka amaaso gange okumala ekiseera,

naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”

bw’ayogera Mukama Katonda,

Omununuzi wo.

9“Kubanga gye ndi,

bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa.

Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi,

bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.

10Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo

naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana

so n’endagaano yange ey’emirembe

teriggyibwawo,”

bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.

Yerusaalemi eky’Ebiro Ebijja

11Mukama agamba nti,

“Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe;

laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi,

emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.

12Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu,

n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo,

ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.

13N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;

n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.

14Olinywezebwa mu butuukirivu

era toojoogebwenga,

kubanga tolitya,

onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.

15Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi.

Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.

16Laba nze natonda omuweesi,

awujja amanda agaliko omuliro

n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo.

Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.

17Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola,

era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe.

Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama,

n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

O Livro

Isaías 54:1-17

A glória futuro de Sião

1Alegra-te tu, mulher que não tiveste filhos! Expande a tua alegria com cânticos, tu que não estás de parto! Porque tu que foste abandonada terás mais filhos do que a que tem marido, diz o Senhor. 2Amplia a tua habitação; acrescenta o espaço da tua tenda; não hesites! Alonga as cordas; firma bem as estacas! 3Porque em breve transbordarás por todos os lados! Os teus descendentes possuirão as cidades abandonadas durante o exílio e mandarão nas nações que tomaram as suas terras.

4Não tenhas receio; nunca mais viverás humilhada! O opróbrio da tua mocidade e o acabrunhamento da tua viuvez são coisas que nunca mais serão lembradas! 5Porque o teu Criador é o teu marido. Senhor dos exércitos é o seu nome, é o teu Redentor, o Santo de Israel, o Deus de toda a Terra. 6O Senhor chamou-te no meio do teu abatimento, pois eras como uma jovem mulher abandonada pelo seu marido. 7Por um curto espaço de tempo abandonei-te, mas com imensa compaixão te recolherei. 8Durante um momento de cólera, virei-vos a cara por algum tempo, mas com amor eterno terei piedade de vocês, diz o Senhor, o vosso Redentor.

9Tal como no tempo de Noé, em que jurei nunca mais permitir que águas dum dilúvio cobrissem a Terra e destruíssem a vida, também agora juro que nunca mais derramarei a minha ira sobre vocês nem vos ameaçarei. 10Ainda que as montanhas tremam e as colinas desapareçam, o meu amor infalível nunca vos abandonará. A aliança de paz que vos faço nunca será alterada, diz o Senhor, que tem piedade de vocês.

11Ó meu povo afligido e oprimido, batido pelas tempestades, tornarei a edificar-vos sobre alicerces de safiras! 12As vossas torres serão de rubi, as vossas portas de esmeralda e os vossos muros de joias cintilantes. 13Todos os teus filhos serão ensinados por mim e será grande a sua paz. 14Hão de viver sob um governo justo e honesto! Os vossos inimigos e tudo o que seja opressão estará bem longe! Viverão em paz e nunca terror algum se aproximará de vocês! 15Se alguma nação vier fazer-vos guerra, não terá sido enviada por mim para vos castigar, com toda a certeza! Será derrotada, pois estou convosco!

16Fui eu quem criou o ferreiro que sopra o carvão para aquecer a forja e fabricar as armas de destruição. Eu criei os exércitos devastadores. 17Mas nesse dia, que há de vir, arma alguma voltada contra ti terá sucesso e ser-te-á feita justiça sempre que quiserem condenar-te na base da mentira. Esta é a herança e o ganho dos servos do Senhor. Esta é a bênção que vos dei, diz o Senhor.