Isaaya 26 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 26:1-21

Oluyimba olw’Okutendereza

1Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda.

Tulina ekibuga eky’amaanyi;

Katonda assaawo obulokozi

okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.

2Ggulawo wankaaki,

eggwanga ettukuvu liyingire,

eggwanga erikuuma okukkiriza.

3Mukama alikuuma mirembe

oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.

4Weesigenga Mukama ennaku zonna,

kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.

5Mukama lwe lwazi olutaggwaawo,

akkakkanya ekibuga eky’amalala,

akissa wansi ku ttaka,

n’akisuula mu nfuufu.

6Kirinnyirirwa

ebigere by’abanyigirizibwa,

n’ebisinde by’abaavu.

7Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu;

Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.

8Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira

nga tutambulira mu mateeka go,

era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo

kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.

9Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro,

omwoyo gwange gukunoonyeza ddala.

Bw’osalira ensi omusango,

abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.

10Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa,

tayiga butuukirivu.

Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde,

yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.

11Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu,

naye tebagulaba.

Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe,

omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.

12Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe,

n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde.

13Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.

14Baafa, tebakyali balamu;

egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka.

Wababonereza n’obazikiriza,

wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.

15Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda

ogaziyizza eggwanga.

Weefunidde ekitiibwa,

era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi.

16Mukama Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe,

bwe wabakangavvula,

tebaasobola na kukusaba mu kaama.

17Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala,

bw’alumwa n’akaaba mu bulumi,

bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda.

18Twali lubuto, twalumwa,

naye twazaala mpewo

Tetwaleeta bulokozi ku nsi,

tetwazaala bantu ba nsi.

19Naye abafiira mu ggwe balirama,

emibiri gyabwe girizuukira.

Mugolokoke,

muleekaane olw’essanyu.

Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya,

ensi erizaala abafudde.

20Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe

muggalewo enzigi zammwe.

Mwekweke okumala akabanga katono,

okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako.

21Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera

okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe.

Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako,

era teriddayo nate kukweka abattibwa.

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Исаия 26:1-21

Хвалебная песнь

1В тот день в иудейской земле будут петь такую песнь:

«Сильный город у нас;

спасение от Аллаха защищает его,

точно стены и вал.

2Откройте ворота,

пусть войдёт праведный народ,

народ, что остался верным.

3Твёрдого духом Ты хранишь в совершенном мире,

потому что он верит Тебе.

4Верьте Вечному во все века,

потому что Вечный Бог – скала навеки.

5Он смиряет живущих на высоте,

низвергает высокий город;

низвергает его на землю,

повергает его в прах.

6Попирают его ноги –

ноги бедных,

стопы нищих.

7Путь праведных прям;

Ты делаешь ровной стезю праведных.

8Да, Вечный, соблюдая Твои законы26:8 Или: «когда совершаются Твои суды».,

мы ждём Тебя;

к имени Твоему, к воспоминанию о Тебе

стремятся наши сердца.

9Душа моя жаждет Тебя ночью,

утром ищет Тебя дух мой.

Когда совершаются на земле Твои суды,

жители мира учатся справедливости.

10Но если нечестивым будет явлена милость,

то они справедливости не научатся;

даже в земле правды продолжают они творить зло

и не видят величия Вечного.

11О Вечный, вознесена Твоя рука,

но они не видят её.

Пусть увидят ревность Твою к Твоему народу и устыдятся;

пусть огонь, уготованный Твоим врагам, пожрёт их.

12Вечный, Ты даруешь нам мир,

ведь всё, что мы сделали,

совершил для нас Ты.

13Вечный, Бог наш, другие владыки, помимо Тебя, правили нами,

но лишь Твоё имя мы чтим.

14Мертвы они теперь, не оживут,

ведь духи умерших не поднимутся.

Ты покарал и погубил их,

изгладил память о них.

15Ты умножил народ, о Вечный,

Ты умножил народ.

Ты славу Себе приобрёл;

пределы страны Ты расширил.

16Вечный, они приходили к Тебе в горе

и возносили тихие молитвы,

когда Ты наказывал их.

17Как беременная при родах

корчится и кричит от боли,

так были мы перед Тобой, Вечный.

18Мы были беременны, от боли корчились,

а родили лишь ветер.

Мы не дали земле спасения,

не произвели новых жителей в этот мир26:18 Или: «жители мира не пали»..

19Оживут Твои мертвецы,

поднимутся их тела.

Обитатели праха,

вставайте и пойте от радости,

потому что роса Вечного ложится на вас,

и духи умерших выходят, как растения из земли.

20Иди, народ мой, в свои покои

и запри за собою двери;

спрячься ненадолго,

пока не прошёл Его гнев.

21Потому что вот выходит Вечный из Своего жилища

наказать жителей земли за их грехи.

Земля явит пролитую на ней кровь

и не станет больше скрывать своих убитых».