Isaaya 22 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 22:1-25

Obunnabbi Obufa ku Yerusaalemi

1Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa:

Kiki ekikutawanya kaakano,

n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,

2ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano,

ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu?

Abantu bo abattibwa,

tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.

3Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu;

bawambiddwa awatali kulwana.

Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,

kubanga badduka.

4Kyenava njogera nti, “Munveeko,

mundeke nkaabire ddala nnyo.

Temugezaako kunsaasira

olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”

5Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku

olw’akatabanguko,

olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa;

olunaku olw’okumenya bbugwe,

n’okukaabirira ensozi.

6Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,

n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,

Kiri22:6 Kiri Kifo ekisangibwa mu Bwasuli asabuukulula engabo.

7Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali,

n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.

8Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.

Ku lunaku olwo watunuulira

ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.

9Walaba amabanga agaali mu kwerinda

kw’Ekibuga kya Dawudi,

wakuŋŋaanya amazzi

mu Kidiba eky’Emmanga.

10Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi

n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.

11Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,

n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde,

naye tewatunuulira Oyo eyakisima,

wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.

12Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye

yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,

n’okwemwako enviiri

n’okwambala ebibukutu.

13Naye laba, ssanyu na kujaguza,

okubaaga ente n’okutta endiga,

okulya ennyama n’okunywa envinnyo.

Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe

kubanga enkya tunaafa.”

14Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

15Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Genda eri omuwanika oyo,

eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,

16Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa

okwetemera entaana wano,

n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi,

ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?

17“Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira,

akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.

18Alikuzingazingako,

n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa.

Eyo gy’olifiira,

era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala,

ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.

19Ndikuggya ku ntebe yo,

era oliggyibwa mu kifo kyo.

20“Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya. 21Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda. 22Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo. 23Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. 24Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”

25Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 22:1-25

关于耶路撒冷的预言

1以下是关于异象谷22:1 异象谷”指耶路撒冷。的预言:

为什么你们全城的人都上到房顶呢?

2你们这座充满喧闹、骚动和欢乐的城啊,

你们中间被杀的人既非丧身刀下,

也非死于战场。

3你们的官长一起逃跑,

一箭未发便束手就缚,

逃到远方的也一同被擒。

4所以,我说:“你们不要管我,

让我痛哭一场吧!

不要安慰我,

我的同胞都被毁灭了。”

5主——万军之耶和华已经定了日子,

要使耶路撒冷饱受恐慌、

失败和混乱,

城墙被攻破,

哭喊声响彻山间。

6以拦人带着箭袋,

率领战车和骑兵前来,

吉珥人也亮出盾牌。

7你们佳美的山谷中布满战车,

骑兵在你们的城门前列阵。

8犹大毫无防卫之力。

那时,你们依靠藏在林宫里的兵器。 9你们看见大卫城破口累累,你们储存下池的水, 10数点耶路撒冷城的房屋,把房屋拆掉修补城墙。 11又在两道城墙之间建造新的蓄水池,用来盛旧池的水。耶和华从古时已定了这一切,要使这一切发生,但你们既不仰望祂,也不理会祂。

12那日,万军之耶和华呼召你们哭泣哀号,

剃光头发,身披麻衣。

13但你们还是欢喜作乐,

宰牛杀羊,喝酒吃肉,说:

“让我们吃喝吧!

因为明天我们就死了。”

14万军之耶和华启示我说:

“你们这罪到死也得不到赦免。

这是主——万军之耶和华说的。”

15主——万军之耶和华吩咐我去见宫廷总管舍伯那,对他说: 16“你在这里做什么?你凭什么在这里为自己挖坟墓,在高处为自己挖坟墓,在磐石上为自己凿安息之所? 17看啊,你这有权有势的人,耶和华必紧紧抓住你,把你猛力抛开。 18祂必把你揉作一团,像球一样扔到宽阔之地。在那里,你必死亡,你华美的战车也必遭毁灭,你是你主人家的羞辱。” 19耶和华对舍伯那说:“我必解除你的官职,把你从高位上拉下来。

20“到那日,我必召来我的仆人——希勒迦的儿子以利亚敬21给他穿上你的朝服,系上你的腰带,把你的权柄交给他。他必像父亲一样保护耶路撒冷犹大的人民。 22我必把大卫家的钥匙交给他。他开启的,没有人能关;他关闭的,没有人能开。 23我要使他像深嵌在坚固之处的橛子一样稳固,他必给他的家族带来尊荣。 24他所有的亲属都靠他得荣耀,如同杯子和酒瓶等小器皿挂在一个橛子上。”

25万军之耶和华说:“到那日,牢牢钉在坚固之处的钉子必松动,被砍落在地上,挂在上面的东西必被除掉。这是耶和华说的。”