Olusozi lwa Mukama
1Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.
2Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma
olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda
lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,
luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,
era amawanga gonna galilwolekera.
3Abantu bangi balijja bagambe nti,
Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
4Alisala enkaayana z’amawanga,
aliramula emisango gy’abantu bangi,
era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi,
n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
Mukama Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya
5Ggwe ennyumba ya Yakobo,
mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
6Wayabulira abantu bo
ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
era basizza kimu ne bannamawanga.
7Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu,
n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo:
ensi yaabwe ejjudde embalaasi,
era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
8Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe,
basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo,
engalo zaabwe gwe zeekolera.
9Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa,
omuntu wa kussibwa wansi.
Mukama, tobasonyiwa!
10Mugende mwekweke mu njazi,
mwekweke mu binnya wansi mu ttaka,
nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda,
nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
11Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu
n’amalala ge lwe birizikirizibwa,
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.
12Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese
eri abo bonna ab’amalala era abeewanise,
eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde
okwemanya n’okwewulira.
13Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni,2:13 Lebanooni kitundu ekiri mu buvanjuba bwa Yoludaani, ekimanyiddwa olw’emivule gyayo n’ente ennyingi emiwanvu emigulumivu,
n’emivule gyonna egya Basani.
14Era n’ensozi zonna empanvu,
n’obusozi bwonna obugulumivu.
15Na buli mulongooti gwonna omuwanvu,
na buli bbugwe gwe bakomese.
16Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi,
n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.
17Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka,
n’amalala g’abantu galissibwa;
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
18N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.
19Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,
ne mu binnya mu ttaka,
nga badduka entiisa
n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
20Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala
bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu,
be beekolera nga ba kusinzanga,
ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
21Balidduka ne beekukuma mu mpuku
ez’amayinja amaatifu
nga badduka entiisa
n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
bwaliyimuka okukankanya ensi.
22Mulekeraawo okwesiga omuntu
alina omukka obukka mu nnyindo ze.
Kiki ennyo kyali?