Ezera 8 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Ezera 8:1-36

Amannya g’Abaddayo ne Ezera

1Bano be bakulu b’ennyumba, n’abo abeewandiisa n’abo abaayambuka nange okuva e Babulooni mu mulembe gwa kabaka Alutagizerugizi:

2okuva mu bazzukulu ba Finekaasi,

Gerusomu;

n’okuva mu bazzukulu ba Isamaali,

Danyeri;

n’okuva mu bazzukulu ba Dawudi,

Kattusi 3muzzukulu wa Sekaniya,

n’okuva mu bazzukulu ba Palosi,

Zekkaliya, era wamu naye abasajja abeewandiisa kikumi mu ataano (150);

4n’okuva mu bazzukulu ba Pakasumowaabu,

Eriwenayi mutabani wa Zekkaliya, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri (200);

5n’okuva mu bazzukulu ba Sekaniya,

mutabani wa Yakazyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bisatu (300);

6n’okuva mu bazzukulu ba Adini,

Ebedi mutabani wa Yonasaani, era wamu naye abasajja amakumi ataano (50);

7n’okuva mu bazzukulu ba Eramu,

Yesaya mutabani wa Asaliya, era wamu naye abasajja nsanvu (70);

8n’okuva mu bazzukulu ba Sefatiya,

Zebadiya mutabani wa Mikayiri, era wamu naye abasajja kinaana (80);

9n’okuva mu bazzukulu ba Yowaabu,

Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana (218);

10n’okuva mu bazzukulu ba Seromisi,

mutabani wa Yosifiya, era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga (160);

11n’okuva mu bazzukulu ba Bebayi,

Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana (28);

12n’okuva mu bazzukulu ba Azugadi,

Yokanaani mutabani wa Kakkatani, era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi (110);

13n’okuva mu bazzukulu ba Adonikamu,

abajja oluvannyuma, Erifereti, ne Yeyeri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga (60);

14n’okuva mu bazzukulu ba Biguvaayi,

Usayi ne Zabudi, era wamu nabo abasajja nsanvu (70).

Okuddayo e Yerusaalemi

15Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogukulukutira e Yakava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Awo bwe nnali nga nneekebejja abantu ne bakabona, ne sirabamu Baleevi. 16Kyennava ntumya Eryeza ne Alyeri ne Semaaya ne Erunasani ne Yalibu ne Erunasani ne Nasani ne Zekkaliya ne Mesullamu, abaali abakulembeze ne Yoyalibu ne Erunasani, abaali abategeevu, 17ne mbatuma eri Iddo omukulu w’ekifo eky’e Kasifiya, ne mbategeeza bye baba bagamba Iddo ne baganda be, abaaweerezanga mu yeekaalu mu kifo ekyo eky’e Kasifiya, batuuweereze abaweereza abaliyamba mu nnyumba ya Katonda waffe. 18Olw’omukono gwa Katonda ogwali awamu naffe, ne batuleetera omusajja omutegeevu, omu ku bazzukulu ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isirayiri, erinnya lye Serebiya, wamu ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja kkumi na munaana; 19ne Kasabiya, wamu naye Yesaya omu ku bazzukulu ba Merali, ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja amakumi abiri. 20Ate era ne baleeta n’abaweereza ba yeekaalu Dawudi n’abakungu be baalonda okubeeranga Abaleevi ebikumi bibiri mu abiri. Bonna baali beewandiisizza.

21Awo ku mugga Akava, ne nangirira okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, nga tumwegayirira okubeera awamu naffe n’abaana baffe n’ebintu byaffe byonna mu lugendo lwaffe. 22Nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka abaserikale abakuumi ab’ebigere n’abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe, kubanga twali tumutegeezeza nti, “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku buli muntu amunoonya, naye obusungu bwe bubeera ku abo abamujeemera.” 23Kyetwava tusiiba ne twegayirira Katonda waffe ku nsonga eyo, era n’addamu okusaba kwaffe.

24Awo ne nonda Serebiya ne Kasabiya ne baganda baabwe abalala kkumi, be bantu kkumi na babiri okuva mu bakabona abakulu, 25ne mbapimira ffeeza ne zaabu n’ebintu kabaka, n’abaami be, n’abakungu be, ne Isirayiri yenna, bye baawaayo ku lw’ennyumba ya Katonda waffe. 26Ne mbagererera ttani amakumi abiri mu ttaano eza ffeeza, n’ebintu ebya ffeeza obuzito bwabyo ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, ne zaabu ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, 27ne kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebitundu bibiri eby’ekikomo ebirungi ebizigule, eby’omuwendo nga zaabu.

28Ne mbategeeza nti, “Muli batukuvu eri Mukama, n’ebintu bino bitukuvu eri Mukama. Effeeza ne zaabu biweebwayo kyeyagalire eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe. 29Mubikuume bulungi era mubituuse bulungi eri bakabona abakulu n’Abaleevi, n’abakulu b’ennyumba za Isirayiri.” 30Awo bakabona n’Abaleevi ne baweebwa effeeza ne zaabu, n’ebintu ebyawongebwa, ebyali bipimiddwa, okubitwala mu nnyumba ya Katonda waffe e Yerusaalemi.

31Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogw’olubereberye ne tusitula okuva ku mugga Akava okugenda e Yerusaalemi. Omukono gwa Katonda waffe ne gubeera wamu naffe, n’atukuuma eri abalabe n’abanyazi mu kkubo. 32Ne tutuuka e Yerusaalemi gye twawumulira okumala ennaku ssatu. 33Awo ku lunaku olwokuna, nga tuli mu nnyumba ya Katonda waffe, ne tupima ffeeza ne zaabu n’ebintu ebyawongebwa ne tubikwasa Meremoosi kabona, mutabani wa Uliya, ne Eriyazaali mutabani wa Finekaasi eyali awamu naye, ne Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi. 34Byonna ne bibalibwa ng’omuwendo gwabyo bwe gwali n’obuzito bwabyo bwe bwali era ne biwandiikibwa.

35Mu kiseera ekyo abaawaŋŋangusibwa, abakomawo okuva mu busibe, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isirayiri: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Isirayiri yenna, n’endiga ennume kyenda mu mukaaga, n’obuliga obuto nga bulume nsanvu mu musanvu, n’embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ebyo byonna ne biba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. 36Ate era ne batuusa n’ebiragiro bya kabaka eri bagavana8:36 bagavana be baakulirwanga abaamasaza. n’abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati, abafuzi abo ne bayamba abantu ne bawaayo n’obuyambi eri ennyumba ya Katonda.

New Russian Translation

Ездра 8:1-36

Список глав семей, вернувшихся с Ездрой

1Вот главы семейств и родословия тех, кто вышел со мной из Вавилона во время правления царя Артаксеркса:

2из потомков Пинехаса – Гершом;

из потомков Итамара – Даниил;

из потомков Давида – Хаттуш, 3сын Шекании;

из потомков Пароша – Захария, и с ним по родословному списку было 150 мужчин;

4из потомков Пахат-Моава – Элиегоэнай, сын Зерахии, и с ним 200 мужчин;

5из потомков Затту – Шекания, сын Иахазиила, и с ним 300 мужчин;

6из потомков Адина – Эвед, сын Ионафана, и с ним 50 мужчин;

7из потомков Елама – Иешаия, сын Аталии, и с ним 70 мужчин;

8из потомков Шефатии – Зевадия, сын Михаила, и с ним 80 мужчин;

9из потомков Иоава – Авдий, сын Иехиила, и с ним 218 мужчин;

10из потомков Вании – Шеломит, сын Иосифии, и с ним 160 мужчин;

11из потомков Бевая – Захария, сын Бевая, и с ним 28 мужчин;

12из потомков Азгада – Иоханан, сын Гаккатана, и с ним 110 мужчин;

13из потомков Адоникама – последние, чьи имена Элифелет, Иеил и Шемая, и с ними 60 мужчин;

14из потомков Бигвая – Уфай и Заккур, и с ними 70 мужчин.

Ездра призывает левитов и храмовых слуг к возвращению

15Я собрал их у реки, которая течет в сторону Агавы, где мы разбили лагерь и провели там три дня. Когда я осмотрел народ и священников, то не нашел среди них ни одного левита. 16Тогда я позвал Элиезера, Ариила, Шемаю, Элнафана, Иарива, Элнафана, Нафана, Захарию и Мешуллама, которые были вождями, и ученых – Иоиарива и Элнафана, 17и отправил их к Иддо, вождю в Касифии. Я велел им передать Иддо и его родственникам, храмовым слугам в Касифии, чтобы они привели к нам служителей для дома нашего Бога. 18Так как милостивая рука нашего Бога была над нами, они привели к нам Шеревию, способного человека из потомков Махли, сына Левия, сына Израиля, и сыновей и братьев Шеревии – восемнадцать мужчин; 19и Хашавию вместе с Иешаией из потомков Мерари, и его братьев и племянников – двадцать мужчин. 20Они также привели двести двадцать храмовых слуг – группу служителей, которых Давид и чиновники отдали в помощь левитам. Все они были записаны поименно.

Подготовка к пути

21Там, у реки Агавы, я объявил пост, чтобы мы могли смирить себя перед нашим Богом и попросить Его о безопасном путешествии для нас и наших детей со всем нашим имуществом. 22Мне было стыдно просить у царя войска и всадников для нашей защиты от врагов в пути, потому что мы уже сказали царю: «Милостивая рука нашего Бога на каждом, кто ищет Его, но Его великий гнев на всех, кто покидает Его». 23Итак, мы постились и просили нашего Бога об этом, и Он ответил на нашу молитву.

24Затем я отделил двенадцать главных священников: Шеревию вместе с Хашавией и десять других из их братьев, 25и, взвесив, я отдал им пожертвованное серебро, и золото, и предметы, которые царь, его советники, его чиновники и все находившиеся там израильтяне отдали для дома нашего Бога. 26Взвесив, я отдал им шестьсот пятьдесят талантов8:26 Около 22 т. серебра и серебряных предметов на сто талантов8:26 Около 3,4 т., золота – сто талантов8:26 Около 3,4 т., 27двадцать золотых чаш стоимостью в тысячу драхм8:27 Золотые чаши весили около 9 кг. и два сосуда из лучшей блестящей меди, ценимой как золото.

28И я сказал им:

– Вы, также как и все эти предметы, посвящены Господу. Серебро и золото – добровольные пожертвования Господу, Богу ваших отцов. 29Бережно храните все это до тех пор, пока не передадите в хранилище дома Господа в Иерусалиме, взвесив все на глазах у главных священников, левитов и глав семейств Израиля.

30Затем священники и левиты приняли серебро, золото и священные предметы, которые были отданы для того, чтобы их отвезли в дом нашего Бога в Иерусалиме.

Возвращение в Иерусалим

31В двенадцатый день первого месяца8:31 19 апреля 458 г. до н. э. мы отправились в путь от реки Агавы, чтобы дойти до Иерусалима. Рука нашего Бога была над нами, и Он защитил нас от врагов и разбойников в пути. 32Итак, мы пришли в Иерусалим, где отдыхали три дня.

33На четвертый день в доме нашего Бога мы, взвесив серебро, золото и священные предметы, передали их в руки священника Меремофа, сына Урии. С ним был Элеазар, сын Пинехаса, а также левиты – Иозавад, сын Иисусов, и Ноадия, сын Биннуя. 34Все было сосчитано по количеству и весу, и в то же время был записан общий вес.

35Затем пришедшие из плена переселенцы принесли жертвы всесожжения Богу Израилеву – двенадцать быков за весь Израиль, девяносто шесть баранов, семьдесят семь ягнят мужского пола и двенадцать козлов в жертву за грех. Все это было принесено в жертву всесожжения Господу. 36Они также отдали царские приказы царским сатрапам8:36 Персидская империя была поделена на административные области (сатрапии), которыми управляли сатрапы – самый высокий ранг чиновников в империи. Сатрапии в свою очередь состояли из отдельных провинций. и наместникам провинции за Евфратом, которые потом оказали поддержку народу и дому Божию.