Okugabana kw’Ettaka
148:1 a Lub 30:6 b Ez 47:15-17 c Ez 47:20“Gano ge mannya g’ebika:
“Ku nsalo ey’Obukiikakkono, okuva ku nnyanja n’okuyita mu kkubo Agekusulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi n’okutuuka Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ku luuyi olw’Obukiikakkono okuliraana Kamasi, okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Ddaani.
248:2 Yos 19:24-31N’okuliraana Ddaani okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Aseri.
348:3 Yos 19:32-39N’okuliraana Aseri okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Nafutaali.
448:4 Yos 17:1-11N’okuliraana Nafutaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Manase.
548:5 a Yos 16:5-9 b Yos 17:7-10 c Yos 17:17N’okuliraana Manase okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Efulayimu.
648:6 Yos 13:15-21N’okuliraana Efulayimu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Lewubeeni.
748:7 Yos 15:1-63N’okuliraana Lewubeeni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Yuda.
848:8 nny 21“Okuliraana Yuda okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba gwe guliba omugabo gwe muligaba ng’ekirabo eky’enjawulo. Obugazi guliba mayilo munaana, n’obuwanvu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba ekipimo kye kimu, ng’ogumu ku migabo gy’ebika. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu.
948:9 Ez 45:1“Omugabo ogw’enjawulo gwe muligabira Mukama guliba obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. 1048:10 nny 21; Ez 45:3-4Omugabo ogwo ogwawuddwako guliba gwa bakabona era guliba mayilo munaana obuwanvu ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba n’obuwanvu mayilo munaana ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu wa Mukama. 1148:11 a 2Sa 8:17 b Lv 8:35 c Ez 14:11; 44:15Ekifo ekyo kiriba kya bakabona abaatukuzibwa bazzukulu ba Zadooki, abaamperezanga n’obwesigwa ne batawaba ng’abaana ba Isirayiri bwe baakola, era ng’Abaleevi abalala bwe banvaako. 12Kiriba kirabo kyabwe eky’enjawulo ekiggiddwa ku mugabo ogwawuddwa ku nsi, ekifo ekitukuvu ennyo okuliraana ekitundu ky’Abaleevi.
1348:13 Ez 45:5“Okuliraana ekitundu ekya bakabona, Abaleevi balifuna omugabo, obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. Obuwanvu bwonna buliba mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. 1448:14 Lv 25:34; 27:10, 28Tebateekwa kukitunda newaakubadde okukiwaanyisa; wadde okuggyamu ebibala ebisooka eby’omu nsi kubanga kitukuvu eri Mukama.
15“Ekitundu ekirifikkawo ekiweza obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo emu kiriba kifo kya bulijjo eky’ekibuga, okuzimbamu ennyumba. Ekibuga kiriba wakati wakyo, 1648:16 Kub 21:16era ebipimo byakyo biriba ku luuyi olw’Obukiikakkono mayilo emu n’ekitundu ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mayilo emu n’ekitundu. 17Ekifo ekiri ebbali w’ekibuga kiriba n’ebipimo byakyo; ku luuyi olw’Obukiikakkono mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga. 1848:18 Ez 45:6Ekitundu ekirifikkawo okuliraana omugabo omutukuvu, kiriba obuwanvu mayilo ssatu ku luuyi olw’ebuvanjuba ne mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba, n’ebibala byamu bye biriba emmere y’abakola mu kibuga. 19Abakola mu kibuga baliva mu bika byonna ebya Isirayiri. 20Ekifo kyonna awamu kiriba kyenkana obuwanvu n’obugazi ze mayilo munaana buli luuyi. Ekyo kye kiriba ekirabo eky’enjawulo eky’omugabo omutukuvu, awamu n’ettaka ly’ekibuga.
2148:21 nny 8, 10; Ez 45:7“Ekitundu ekirifikkawo ku njuyi zombi ez’omugabo omutukuvu n’ettaka ly’ekibuga biriba bya mulangira. Okugenda mu Buvanjuba ekimu kiriba mayilo munaana ez’omugabo omutukuvu okutuuka ku nsalo ey’Ebuvanjuba, n’ekirala okudda mu Bugwanjuba kiriba mayilo munaana okutuuka ku nsalo ey’Ebugwanjuba. Ebifo ebyo byombi okuliraana emigabo egy’ebika biriba bya mulangira. Omugabo omutukuvu, awamu n’Awatukuvu wa yeekaalu, biriba wakati wakyo. 22Ekitundu ky’Abaleevi n’ettaka ly’ekibuga biriba wakati mu kitundu ky’omulangira. Ekifo ky’omulangira kiriba wakati w’ensalo ya Yuda n’ensalo ya Benyamini.
2348:23 Yos 18:11-28“N’ebika ebirala birigabana bwe biti:
“Okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Benyamini.
2448:24 Lub 29:33; Yos 19:1-9N’okuliraana ensalo ya Benyamini okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Simyoni.
2548:25 Yos 19:17-23N’okuliraana ensalo ya Simyoni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Isakaali.
2648:26 Yos 19:10-16N’okuliraana ensalo ya Isakaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Zebbulooni.
2748:27 Yos 13:24-28N’okuliraana ensalo ya Zebbulooni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Gaadi.
2848:28 a Lub 14:7 b Ez 47:19N’okuliraana ensalo ya Gaadi ku luuyi olw’Obukiikaddyo, ensalo eriba kyenkanyi okuva ku Tamali n’etuuka ku mazzi ag’e Meribasukadeesi, n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene, ye Meditereniyaani.
29“Obwo bwe butaka bw’oligabanya ng’omugabo mu bika bya Isirayiri, era egyo gye giriba emigabo gyabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Emiryango egy’Ekibuga
30“Gino gye giriba emiryango egy’ekibuga egifulumirwamu:
“Okuva ku luuyi olw’Obukiikakkono, obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, 31emiryango girituumibwa ng’ebika bya Isirayiri bwe biri. Era emiryango egy’oluuyi olwo giriba esatu, omulyango ogwa Lewubeeni, n’omulyango ogwa Yuda n’omulyango gwa Leevi.
32Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Yusufu, n’omulyango ogwa Benyamini, n’omulyango ogwa Ddaani.
33Ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Simyoni, n’omulyango ogwa Isakaali, n’omulyango ogwa Zebbulooni.
34Ne ku luuyi olw’Obugwanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Gaadi, n’omulyango ogwa Aseri, n’omulyango ogwa Nafutaali.
3548:35 Is 12:6; 24:23; Yer 3:17; 14:9; 33:16; Yo 3:21; Zek 2:10; Kub 21:3“Okwetooloola ekibuga waliba mayilo mukaaga obuwanvu.
“N’erinnya ly’ekibuga okuva mu kiseera ekyo liriba: ‘Mukama Katonda ali omwo.’ ”
分地
1「以下是各支派分得的土地:
「但的地業在北部:從希特倫經哈馬口到大馬士革邊界的哈薩·以難,北面靠近哈馬,橫跨東西兩地。 2亞設的地業從東到西與但的地業接壤。 3拿弗他利的地業從東到西與亞設的地業接壤。 4瑪拿西的地業從東到西與拿弗他利的地業接壤。 5以法蓮的地業從東到西與瑪拿西的地業接壤。 6呂便的地業從東到西與以法蓮的地業接壤。 7猶大的地業從東到西與呂便的地業接壤。
8「猶大邊界以南將是你們劃分出來的那塊地,寬十二公里半,由東至西的長度與其他各支派的地相同,聖殿在那塊地的中央。 9你們獻給耶和華的聖地長十二公里半、寬五公里, 10南北面各長十二公里半,東西面各寬五公里。耶和華的聖所在這塊地的中央。 11這塊地要歸給忠心事奉我的聖潔祭司撒督的子孫。當以色列人步入歧途時,他們沒有與利未人同流合污。 12這塊從聖地中劃出的至聖之地要歸給他們,它與利未人所得的地業相鄰。 13利未人的地與祭司的地並排挨著,長十二公里半,寬五公里。 14他們不可把這塊地出賣或交換,不可把這塊最好的地轉讓給他人,因為它是歸給耶和華的聖地。
15「剩下的十二公里半長、兩公里半寬的地方作公共用地,用來建城邑、房屋和草場,城要建在這地方的中央。 16城是正方形的,東、西、南、北各長兩公里半。 17城四周要有郊野,東西南北各長一百二十五米, 18與聖地相鄰,城外東西兩側剩下的地各長五公里,地裡的出產要作城內工人的食物。 19所有在這城裡做工的以色列各支派的人都要耕種這片土地。 20你們所獻的這塊聖地和城區是方形的,四面各長十二公里半。
21「聖地和城區東西兩邊的餘地要歸君王。兩邊的餘地從聖地十二公里半寬的東西邊界開始,沿各支派所分的地,分別向東向西延伸到以色列的東界和西界。聖地和聖殿在地的中央。 22利未人的產業和城區在君王土地的中央,君王的土地在猶大和便雅憫支派之間。
23「以下是其他各支派所分的地業:
「便雅憫的一份地業從東跨到西。 24西緬的一份地業從東到西與便雅憫的地業接壤。 25以薩迦的一份地業從東到西與西緬的地業接壤。 26西布倫的一份地業從東到西與以薩迦的地業接壤。 27迦得的一份地業從東到西與西布倫的地業接壤。 28迦得的南界是從他瑪延伸到米利巴·加低斯泉,沿埃及小河,一直到地中海。 29這就是你們要抽籤分給以色列各支派的土地,作為他們的產業。這是主耶和華說的。
30「以下是城的各個出口。北面的牆是兩公里半長, 31有三道門,按以色列的各支派命名,分別是呂便門、猶大門和利未門。 32東面的牆是兩公里半長,有三道門,分別是約瑟門、便雅憫門和但門。 33南面的牆是兩公里半長,有三道門,分別是西緬門、以薩迦門和西布倫門。 34西面的牆是兩公里半長,有三道門,分別是迦得門、亞設門和拿弗他利門。 35城的四周共長九公里半,從那時起,這城必叫『耶和華的所在』。」