146:1 a Ez 40:19 b 1By 9:18 c nny 6; Is 66:23“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga. 246:2 a nny 8 b nny 12; Ez 44:3Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi. 346:3 Luk 1:10Bwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka. 4Ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky’anaaleetanga eri Mukama ku lunaku olwa Ssabbiiti kinaabanga abaana b’endiga ennume mukaaga nga tebaliiko kamogo n’endiga ennume enkulu emu eteriiko kamogo; 546:5 nny 11; Ez 45:24n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo n’endiga ennume kinaabanga kilo kkumi na mukaaga, n’ekiweebwayo eky’obutta ekinaaweebwangayo n’abaana b’endiga ennume binaabanga ebirabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. 646:6 nny 1; Kbl 10:10Ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka anaawangayo ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’abaana b’endiga mukaaga n’endiga ennume nga nkulu, ebitaliiko kamogo; 746:7 Ez 45:24era anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke kilo kkumi na mukaaga ku lw’ente ennume, n’eky’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, n’abaana b’endiga nga bye birabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. 846:8 a nny 2 b Ez 44:3Awo omulangira bw’anaayingiranga, anaayitanga mu kisasi ky’omulyango, era mu kkubo lye limu eryo mw’anaafulumiranga.
946:9 Kuv 23:14; 34:20“ ‘Abantu ab’omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama ku mbaga ezaalagirwa, buli anaayingiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono okusinza, anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo; ne buli anaayingiriranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono; tewaabenga muntu addirayo mu kkubo ery’omulyango mwe yayingiridde, naye anaayitangamu buyisi n’aggukira ku luuyi olwolekera lwe yayingiriddeko. 1046:10 2Sa 6:14-15; Zab 42:4Omulangira anaabeeranga wakati mu bo, bwe banaayingiranga, naye anaayingiranga, bwe banaafulumanga, naye anaafulumanga. 1146:11 nny 5Ku mbaga ne mu biseera ebyalondebwa bino bye binaabanga ebiweebwayo: ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kya kilo kkumi na mukaaga n’ente ennume emu ne kilo kkumi na mukaaga ez’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, awamu n’abaana b’endiga ng’omuntu bw’anaayinzanga, ng’okwo kw’otadde lita nnya ez’amafuta eza buli efa.
1246:12 a Ez 45:17 b Lv 7:16 c nny 2“ ‘Awo omulangira bw’anaateekateekanga ekyo ky’asiimye ku bubwe n’akiwaayo eri Mukama, ng’ekiweebwayo ekyokebwa oba ng’ebiweebwayo olw’emirembe, anaaggulirwangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era nnaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo kye olw’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti. N’oluvannyuma ng’amaze anaafulumanga, omulyango ne guggalwa.
1346:13 Kuv 29:38; Kbl 28:3“ ‘Munaawangayo omwana gw’endiga ogw’omwaka ogumu ogutaliiko kamogo okuba ekiweebwayo eri Mukama buli lunaku; ekyo munaakikolanga buli nkya. 1446:14 Dan 8:11Munaakiweerangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke buli nkya, ekiri kilo bbiri n’obutundu musanvu n’ekitundu awamu ne lita ennya ez’amafuta okunnyikiza obutta obulungi okuwangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eri Mukama ekya buli lunaku; kinaabanga ekiragiro ekitaliggwaawo. 1546:15 a Kuv 29:42 b Kuv 29:38; Kbl 28:5-6Noolwekyo omwana gw’endiga n’ekiweebwayo eky’obutta, n’amafuta binaaweebwangayo buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo.
1646:16 2By 21:3“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Omulangira bw’anaagabiranga omu ku batabani be ekirabo okuva ku by’omugabo gwe, kinaabanga busika bwa bazzukulu be; era nga bwansikirano. 1746:17 Lv 25:10Naye omulangira bw’anaddiranga ekirabo okuva ku by’omugabo gwe n’akiwa omu ku baddu be, kinaabanga kikye okutuuka ku mwaka ogw’eddembe, n’oluvannyuma kinaddizibwanga omulangira kubanga omugabo gunaabanga gugwe n’abaana be bokka. 1846:18 Lv 25:23; Ez 45:8; Mi 2:1-2Omulangira taatwalenga ttaka ly’abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaagabiranga abaana be omugabo gwabwe okuva ku butaka bwe, waleme okubaawo omuntu yenna ku bantu bange aggyibwako obutaka bwe.’ ”
1946:19 Ez 42:9Awo omusajja n’ampisa mu mulyango ku luuyi olw’omulyango wakati w’ebisenge ebitukuvu ebya bakabona olutunuulira Obukiikakkono, n’andaga ekifo ku luuyi olusembayo Ebugwanjuba. 2046:20 a Lv 6:27 b Zek 14:20N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era gye banaafumbiranga emigaati egy’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, baleme okubifulumya mu luggya olw’ebweru okutukuza abantu.”
21N’oluvannyuma omusajja n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’annambuza ensonda ennya ez’oluggya, mu buli nsonda ne ndabamu oluggya olulala. 22Mu nsonda ennya ez’oluggya mwalimu empya entonotono obuwanvu mita amakumi abiri mu emu n’obugazi mita kkumi na ttaano ne desimoolo musanvu, era nga za kigera kimu. 23Munda okwetooloola empya mwalimu ebifo eby’okuweesezaamu nga mulimu n’ebyoto wansi w’embu enjuuyi zonna. 24N’aŋŋamba nti, “Gano ge mafumbiro abaweereza gye banaafumbiranga sssaddaaka abantu ze banaawangayo mu yeekaalu.”
君王與節期
1「主耶和華說,『聖殿內院的東門在平時工作的六日內都要關閉,只在安息日和朔日才打開。 2在這些日子,君王要從東門穿過門廊通道進入內院,站在門框旁邊。祭司要為他獻燔祭和平安祭。他在入口的門檻那裡敬拜,然後離去。這門要到晚上才關閉。 3在安息日和朔日,以色列人要站在這門口敬拜耶和華。 4君王在安息日獻給耶和華的燔祭應是羊羔六隻、公綿羊一隻,都要毫無殘疾。 5至於同獻的素祭,一隻公綿羊要同獻十公斤細麵粉,與羊羔同獻的素祭則可隨意奉獻。每十公斤細麵粉要加四升油。 6要在朔日獻公牛犢一頭、羊羔六隻、公綿羊一隻,都要毫無殘疾。 7他也要預備素祭,每一頭公牛犢要同獻十公斤細麵粉,公綿羊也是一樣。與羊羔同獻的素祭則可隨意奉獻。每十公斤細麵粉要加四升油。 8君王從門廊進去,也要從原路出來。
9「『以色列人在節期進去敬拜耶和華的時候,從北門進去的要從南門出來,從南門進去的要從北門出來。誰都不可回頭從進去的門出來,必須從對面的門出來。 10在這些節期君王應和百姓一同進殿敬拜,百姓離開的時候,君王也要一同離開。
11「『每逢節期和特定的聖會,要有與祭牲同獻的素祭,每頭公牛獻十公斤細麵粉,公綿羊也是一樣,與羊羔同獻的素祭則可以隨意奉獻。每十公斤細麵粉要加四升油。 12倘若君王自願向耶和華獻燔祭或平安祭,便要為他打開東門。他獻的燔祭或平安祭要與安息日所獻的一樣。他獻完後就從東門出去,門也跟著關閉。
13「『每天早晨,你們要獻給耶和華一隻毫無殘疾的一歲羊羔為燔祭, 14同獻的素祭是三公斤細麵粉,調上一升油。獻給耶和華的這種素祭是永久不變的律例。 15所以,每天早晨都要預備羊羔、素祭和油,作為日常獻的燔祭。
16「『主耶和華說,如果君王把一部分產業作為禮物賜給他兒子,這產業便歸了他兒子,由他兒子的後代繼承。 17如果君王把一部分產業作為禮物賜給他的僕人,他的僕人在得到自由之前可以擁有這產業,到他自由的那年46·17 「自由的那年」即「禧年」,參見利未記25·8‑17。,這份產業仍要歸還給君王,因為君王的產業只能由他的後代繼承。 18君王不可驅逐百姓離開他們的土地,強奪他們的產業。他必須把自己擁有的產業賜給兒子,免得我的子民從自己的土地上被驅散。』」
19然後,那人領我從大門旁邊的入口來到聖所北面的祭司聖屋,讓我看聖屋西邊的地方。 20他對我說:「這是祭司煮贖過祭牲、贖罪祭牲和烤素祭的地方。他們在這裡烤煮,免得把聖肉帶到外院,以致把聖潔傳到百姓身上。」
21他又領我到外院,巡察外院的四個角落。我看見院中每個角落都有一個小庭院, 22每個庭院的四周都有圍牆,長二十米,寬十五米,四角的庭院大小都一樣。 23每個庭院的牆周圍都有一排石屋,屋裡有爐灶。 24他對我說:「這是聖殿的僕役替百姓煮祭物的地方。」