Ezeekyeri 4 – LCB & HOF

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 4:1-17

Ekifaananyi Ekiraga Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi

1“Kaakano omwana w’omuntu, ddira ekipande eky’ebbumba okiteeke mu maaso go, okikubeko ekifaananyi ky’ekibuga Yerusaalemi, 2okizingize, okizimbeko bbugwe okukyetooloola, okituumeko ekifunvu, era oteekewo ensiisira okukyetooloola n’ebifunvu bye banaatomera enjuuyi zonna.

3“Oluvannyuma oddire olukalango olw’ekyuma, oluteeke okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera ey’okuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.

4“N’oluvannyuma oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono n’oddira ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri okyeteekeko. Olyetikka ekibi kyabwe ennaku z’olimala ng’ogalamidde ku lubiriizi lwo. 5Ennaku z’olimala ezenkanankana emyaka gye baamala nga boonoona. Noolwekyo olimala ennaku ebikumi bisatu mu kyenda nga weetisse ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri.

6“Ekyo bw’olikimala, oligalamira nate, ku mulundi guno ku lubiriizi lwo olwa ddyo, ne weetikka ekibi ky’ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka. 7Olikyusa amaaso go n’otunula eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, okyogerereko ebigambo n’omukono gwo ogutali mubikkeko, 8Ndikusiba emiguwa n’otosobola kwekyusa okuva ku luuyi olumu okudda ku lulala, okutuusa ennaku ez’obusibe bwo lwe ziriggwaako.

9“Ddira eŋŋaano ne sayiri, n’obulo, n’omukyere, n’ebijanjalo, n’enva endiirwa endala obisse mu kibya omuterekebwa, obikozese okwefumbira omugaati. Oligulya mu nnaku ezo ebikumi ebisatu mu ekyenda z’oliba ogalamidde ku luuyi olw’omubiri gwo. 10Opime gulaamu ebikumi bibiri mu amakumi asatu ez’emmere gy’olirya buli lunaku, era gy’oliriira mu biseera ebigere. 11Ate opime nga kitundu kya lita ey’amazzi, oganywe mu biseera ebigere. 12Olye emmere nga bwe wandiridde keeke eya sayiri; ogifumbe n’obusa bw’omuntu, ng’abantu balaba.” 13Mukama n’aŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.”

14Ne njogera nti, “Nedda Ayi Mukama Katonda. Sseeyonoonesanga, era okuva mu buto bwange n’okutuusa kaakano siryanga kifu wadde ekitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe. Siryanga nnyama etali nnongoofu.”

15N’ayogera nti, “Weewaawo, nnaakukkiriza okukozesa obusa bw’ente okufumba omugaati mu kifo ky’obusa bw’abantu.”

16N’oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya, 17kubanga emmere n’amazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olw’ekibi kyabwe.”

Hoffnung für Alle

Hesekiel 4:1-17

Gott zieht Jerusalem und ganz Israel zur Rechenschaft

(Kapitel 4–24)

Jerusalem wird belagert

1»Du Mensch, nimm dir einen Ziegelstein, leg ihn vor dich hin und ritz die Umrisse der Stadt Jerusalem hinein! 2Mit diesem Stein sollst du vormachen, wie Jerusalem belagert werden wird: Schütte rings um ihn einen Wall auf, bau eine Angriffsrampe und setz von allen Seiten Rammböcke gegen die Mauer. Leg außerdem befestigte Heerlager rundherum an! 3Nimm dann ein Backblech aus Eisen und stell es als eiserne Mauer zwischen dich und den Stein mit der Stadt! Wende dich gegen die Stadt und tu so, als würdest du sie belagern! Auf diese Weise sollst du den Israeliten zeigen, was sie erwartet.

4-5Dann leg dich auf die linke Seite als Zeichen dafür, dass du die Schuld des Volkes Israel auf dich nimmst! 390 Tage musst du am Boden liegen, denn genauso viele Jahre haben sie mich verlassen. 6Danach leg dich auf die rechte Seite und trag die Schuld des Reiches Juda: Vierzig Tage bürde ich dir diese Last auf, einen Tag für jedes Jahr, in dem sie sich von mir abgewandt haben. 7Richte deinen Blick dabei auf das belagerte Jerusalem, droh den Leuten mit erhobener Faust und kündige ihnen mein Gericht an. 8Schau, ich binde dich mit Stricken fest, damit du dich nicht von einer Seite auf die andere drehen kannst, bis du diese Zeit der Belagerung überstanden hast.

9Hol dir vorher noch Weizen, Gerste, Bohnen, Linsen, Hirse und Dinkel, vermenge sie in einem Gefäß und backe Brot daraus. Solange du auf der linken Seite liegst, 390 Tage lang, sollst du davon essen. 10-11250 Gramm Brot und einen Dreiviertelliter Wasser darfst du an einem Tag zu dir nehmen. Wieg sie genau ab, und dann iss und trink zu festgelegten Zeiten!

12Bereite das Brot so zu wie Gerstenbrot und back es vor aller Augen über einem Feuer, das du mit Menschenkot anheizt! 13Denn ich sage dir: Wenn ich die Israeliten verstoße und sie unter fremden Völkern leben, werden sie ebenfalls Brot essen müssen, das nach dem Gesetz als unrein gilt.« 14Entsetzt erwiderte ich: »Ach, Herr und Gott! Du weißt doch, dass ich mich noch nie verunreinigt habe! In meinem ganzen Leben habe ich nie von einem verendeten oder zerrissenen Tier gegessen, nie habe ich unreines Fleisch in den Mund genommen!« 15»Nun gut«, antwortete der Herr, »ich gestatte dir, das Brot auf dem Mist von Rindern statt auf Menschenkot zu backen.«

16Und er fügte hinzu: »Du Mensch, schon bald lasse ich alle Vorräte in Jerusalem zu Ende gehen. Dann müssen sie genau wie du ihr Brot und Wasser streng einteilen. Ständig werden sie in Angst und Sorge leben. 17Ja, Brot und Wasser werden so knapp, dass die Einwohner verzweifeln und sie einer nach dem anderen zugrunde gehen. So müssen sie für ihre Schuld büßen.«