Ezeekyeri 2 – LCB & NEN

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 2:1-10

Okuyitibwa kwa Ezeekyeri

1N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimirira njogere naawe.” 2Awo bwe yali ng’akyayogera nange, Omwoyo nanzikako n’annyimusa, ne mpulira ng’ayogera nange.

3N’ayogera nti, “Omwana w’omuntu, nkutuma eri Abayisirayiri, eri eggwanga ejeemu eryanjeemera, era bo ne bajjajjaabwe banjeemera okuva edda n’okutuusa olunaku lwa leero. 4Abantu be nkutumamu bakakanyavu era bakozi ba bibi. Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,’ 5Oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga nnyumba njeemu, balimanya nga mu bo musituseemu nnabbi. 6Kaakano ggwe omwana w’omuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newaakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga bikwetoolodde, era ng’obeera wakati mu njaba ez’obusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu. 7Oteekwa okubategeeza ebigambo byange, oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga bajeemu. 8Naye ggwe omwana w’omuntu wuliriza kye nkugamba. Tojeema ng’ennyumba eyo bwe yanjeemera. Yasamya akamwa ko olye bye nkuwa.”

9Awo ne ntunula, ne ndaba omukono nga gugoloddwa gye ndi, mu gwo nga mulimu omuzingo gw’ekitabo. 10N’agwanjuluriza mu maaso gange, munda nga muwandiikibbwamu ne kungulu nga kuwandiikibbwako ebigambo eby’okukungubaga n’okukuba ebiwoobe, n’okukaaba.

Kiswahili Contemporary Version (Neno: Bibilia Takatifu)

Ezekieli 2:1-10

Wito Wa Ezekieli

12:1 Dan 10:11; Mdo 26:16; Ay 25:6; Za 8:4; Eze 1:26; Mdo 9:6; 14:10Akaniambia, “Mwanadamu, simama kwa miguu yako nami nitasema nawe.” 22:2 Eze 3:24; Dan 8:18; Amu 13:25Alipokuwa akiongea nami, Roho akanijia na kunisimamisha wima, nikamsikia akisema nami.

32:3 Yer 3:25; Eze 24:3; 20:8-24Akaniambia: “Mwanadamu, ninakutuma kwa Waisraeli, kwa taifa asi ambalo limeniasi mimi, wao na baba zao wananikosea mimi hadi leo. 42:4 Kut 32:9; Isa 9:9; Eze 3:7; Amo 7:15Watu ambao ninakutuma kwao ni wapotovu na wakaidi. Waambie, ‘Hivi ndivyo anavyosema Bwana Mwenyezi.’ 52:5 Eze 3:11; 3:27; Yn 15:22; Eze 33:33; Yer 5:3Kama watasikiliza au hawatasikiliza, kwa kuwa wao ni nyumba ya kuasi, watajua nabii amekuwa miongoni mwao. 62:6 1Pet 3:14; Yer 1:8, 17; Hes 33:55; Mik 7:4Nawe mwanadamu, usiwaogope wao wala maneno yao, usiogope, ingawa michongoma na miiba vinakuzunguka na unaishi katikati ya nge. Usiogope yale wasemayo wala usitishwe nao, ingawa wao ni nyumba ya uasi. 72:7 Yer 7:27; 42:21; Eze 3:10-11; Mt 28:20Wewe lazima uwaambie maneno yangu, ikiwa wanasikiliza au hawasikilizi, kwa kuwa wao ni watu waasi. 82:8 Isa 8:11; 50:5; Ufu 10:9; Za 81:10; Hes 20:10-13; Yer 15:16Lakini wewe mwanadamu, sikiliza ninalokuambia. Usiwe mwenye kuasi kama hiyo nyumba ya kuasi. Fungua kinywa chako na ule nikupacho.”

92:9 Eze 8:3; Yer 1:9; Za 40:7; Yer 36:4; Ufu 5:1-5; 10:8-10Ndipo nikatazama, nami nikaona mkono ulionyooshwa kunielekea. Nao ulikuwa na ukurasa wa kitabu, 102:10 Isa 3:11; Ufu 8:13ambao aliukunjua mbele yangu. Pande zote mbili ulikuwa umeandikwa maneno ya maombolezo, vilio na ole.