Eseza 2 – LCB & TNCV

Luganda Contemporary Bible

Eseza 2:1-23

Eseza Aweebwa obwa Nnabagereka

1Oluvannyuma, obusungu bwa Kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, yasigala ng’alowooza ku Vasuti, kye yakola, n’ekyali kisaliddwawo. 2Awo abaddu ba Kabaka ne baleeta ekirowoozo nti, “Banoonyeze Kabaka omuwala ku bawala abato abalungi nga mbeerera. 3Kabaka alonde ababaka mu buli kitundu mu bwakabaka bwe, bamuleetere abawala abato ababalagavu abalungi mu lubiri lwe e Susani bakuumibwe mu nnyumba y’abakyala. Era Kegayi omulaawe wa Kabaka avunaanyizibwe abawala abo, ng’abawa ne by’okulungiya byonna bye beetaaga. 4Awo omuwala anasiimibwa kabaka, ye anafuuka Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa kabaka, era n’akissa mu nkola.

5Mu biro ebyo mu lubiri e Susani, waaliyo Omuyudaaya ow’omu kika kya Benyamini, erinnya lye Moluddekaayi, mutabani wa Yayiri, muzzukulu wa Simeeyi, muzzukulu wa Kiisi, 6eyawaambibwa Nebukadduneeza, Kabaka we Babulooni n’aleetebwa mu buwaŋŋanguse nga y’omu ku basibe abaasibibwa ne Yekoniya, eyali Kabaka wa Yuda, okuva e Yerusaalemi. 7Moluddekaayi yalina omuwala omuto erinnya lye Kadasa, gwe yalinako oluganda, eyakulira mu mikono gye, kubanga yali mulekwa nga yafiirwa kitaawe ne nnyina. Erinnya ly’omuwala ono eddala nga ye Eseza, era yali ng’alabika bulungi nnyo.

8Awo olwatuuka ekiragiro kya Kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi, nga ne Eseza mwali ne baleetebwa mu lubiri e Susani ne bakwasibwa Kegayi eyali alabirira abakyala ba Kabaka. 9Eseza n’asiimibwa Kegayi, era n’amuwa ebintu eby’okulungiya, n’emmere ey’enjawulo. Era yamuwa n’abazaana musanvu abaalondebwa okuva mu lubiri lwa Kabaka, era n’amuteeka mu kifo ekisinga obulungi awakuumibwa abakyala. 10Eseza yali tamanyiddwa ggwanga lye, wadde ekika kye, kubanga Moluddekaayi yali amugaanye okulyogera. 11Buli lunaku Moluddekaayi yalagangako mu luggya lw’ennyumba ya bakyala okumanya ebyafanga ku Eseza.

12Awo oluwalo lwa buli muwala bwe lwatuukanga okugenda eri Kabaka Akaswero, omuwala oyo yalinanga okuba ng’amaze emyezi kkumi n’ebiri egy’okufumbirirwa, ng’era mu bbanga eryo, emyezi omukaaga aba ng’akozesa amafuta ag’omugavu n’emyezi omukaaga omulala nga yeyambisa obuwoowo n’ebintu ebirala ebifumbirira. 13Bw’atyo omuwala n’alyokanga agenda eri Kabaka. Omuwala bwe yatuukanga okugenda ewa Kabaka yabanga wa ddembe okuweebwa kyonna ky’ayagala okuva mu nnyumba y’abakyala. 14Yagendangayo kawungeezi, ate bwe bwakeeranga, n’addayo mu kifo ekirala era eky’abakyala ekyalabirirwanga Saasugazi, omulaawe wa Kabaka eyakuumanga abakyala ba Kabaka abalala. Era omuwala oyo teyaddanga wa Kabaka wabula ng’amusiimye, era ng’amutumizza.

15Awo oluwalo lwa Eseza omuwala eyakuzibwa Moluddekaayi, ate nga muwala wa Abikayiri, eyalina oluganda ku Moluddekaayi, bwe lwatuuka okugenda eri Kabaka, Eseza talina birala bye yasaba okuggyako ebyo Kegayi, omulaawe wa Kabaka bye yamuwa. Era Eseza n’aganja mu maaso g’abo bonna abaamutunuulira. 16Yatwalibwa eri Kabaka Akaswero mu lubiri lwe mu mwezi ogw’ekkumi, gwe mwezi Tebesi, mu mwaka ogw’omusanvu ogw’okufuga kwe.

17Kabaka n’ayagala nnyo Eseza okukira abakyala abalala bonna, era n’aganja mu maaso ge okusinga abawala embeerera bonna. N’amutikkira engule okuba Nnabagereka mu kifo kya Vasuti. 18Awo Kabaka n’akolera Eseza embaga ennene, n’ayita abakungu be wamu n’abaami be, era n’alangirira abantu okusonyiyibwa emisolo mu bitundu byonna, ate n’agaba n’ebirabo nga bwe yayagala.

Moluddekaayi Agwa mu Lukwe lw’Okutta Kabaka

19Olunaku olumu Moluddekaayi bwe yali ng’atudde ku wankaaki w’olubiri lwa Kabaka, abawala ne bakuŋŋaanira eri Kabaka omulundi ogwokubiri. 20Eseza yakuuma ekyama Moluddekaayi kye yali amukuutidde, eky’obutayogera ekika kye newaakubadde eggwanga lye.

21Awo mu biro ebyo Moluddekaayi ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka, abalaawe ba Kabaka babiri, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga omulyango, ne banyiigira Kabaka Akaswero, era ne bateesa okumutemula. 22Naye Moluddekaayi n’agwa mu lukwe olwo, n’ategeezaako Eseza Nnabagereka, eyagenda n’abuulira Kabaka nga Moluddekaayi bwe yamutegeeza. 23Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo eky’ebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.

Thai New Contemporary Bible

เอสเธอร์ 2:1-23

เอสเธอร์ได้รับเลือกเป็นราชินี

1ต่อมาเมื่อพระพิโรธของกษัตริย์เซอร์ซีสสงบลงแล้ว พระองค์ทรงคิดถึงพระนางวัชที ตลอดจนสิ่งที่พระนางได้ทำและพระราชโองการของพระองค์เองเกี่ยวกับพระนาง 2แล้วข้าราชบริพารส่วนพระองค์จึงทูลเสนอว่า “ควรเฟ้นหาหญิงสาวพรหมจารีผู้งดงามมาถวายกษัตริย์ 3ขอทรงตั้งเจ้าพนักงานในแต่ละมณฑลของอาณาจักรของพระองค์ให้เฟ้นหาตัวหญิงสาวโฉมงามทั้งหมด และนำตัวมายังฮาเร็มในป้อมเมืองสุสา ให้อยู่ในความดูแลของเฮกัยขันทีของกษัตริย์ซึ่งรับผิดชอบเกี่ยวกับเหล่าสตรี และให้พวกนางรับการประทินโฉม 4หลังจากนั้นให้สตรีซึ่งฝ่าพระบาทโปรดปรานเป็นราชินีแทนพระนางวัชที” กษัตริย์ก็พอพระทัยความคิดนี้และให้ลงมือปฏิบัติ

5ครั้งนั้นในป้อมเมืองสุสา มีชายชาวยิวจากเผ่าเบนยามินคนหนึ่งชื่อโมรเดคัย ผู้เป็นบุตรของยาอีร์ ผู้เป็นบุตรของชิเมอี ผู้เป็นบุตรของคีช 6เขาถูกจับมาเป็นเชลยเมื่อครั้งกษัตริย์เนบูคัดเนสซาร์แห่งบาบิโลนทรงกวาดต้อนเชลยมาจากเยรูซาเล็มพร้อมกษัตริย์เยโฮยาคีน2:6 ภาษาฮีบรูว่าเยโคนิยาห์เป็นอีกรูปหนึ่งของเยโฮยาคีนแห่งยูดาห์ 7โมรเดคัยมีลูกพี่ลูกน้องเป็นหญิงสาวรูปโฉมงามน่ารักชื่อ ฮาดัสสาห์หรือเอสเธอร์ เขาเลี้ยงดูนางเป็นบุตรสาวบุญธรรมหลังจากที่บิดามารดาของนางสิ้นชีวิต

8เนื่องด้วยพระราชโองการของกษัตริย์ หญิงสาวหลายคนจึงถูกนำมาอยู่ที่ป้อมเมืองสุสาในความดูแลของเฮกัย และเอสเธอร์ก็ถูกนำมาที่พระราชวังของกษัตริย์และอยู่ในความดูแลของเฮกัยผู้ดูแลฮาเร็มเช่นกัน 9เฮกัยเอ็นดูและพอใจเอสเธอร์มาก เขาจึงรีบจัดหาเครื่องประทินโฉมและอาหารพิเศษให้นางทันที ทั้งจัดเด็กหญิงเจ็ดคนซึ่งคัดเลือกจากพระราชวังมาคอยรับใช้นาง และให้นางกับสาวใช้ย้ายไปอยู่ที่ที่ดีที่สุดในฮาเร็ม

10เอสเธอร์ไม่ได้เปิดเผยเรื่องเชื้อชาติและภูมิหลังครอบครัวของนางเพราะโมรเดคัยสั่งห้ามไว้ 11ทุกวันโมรเดคัยจะเดินวนเวียนแถวๆ ลานฮาเร็ม เพื่อถามข่าวคราวและความเป็นไปของเอสเธอร์

12ก่อนถึงเวรที่หญิงสาวแต่ละคนเข้าเฝ้ากษัตริย์เซอร์ซีส พวกนางจะต้องรับการประทินโฉมครบสิบสองเดือนตามที่กำหนดไว้คือ หกเดือนแรกบำรุงด้วยน้ำมันมดยอบ จากนั้นบำรุงด้วยน้ำหอมและเครื่องประทินผิวอีกหกเดือน 13เมื่อถึงรอบที่แต่ละคนจะเข้าเฝ้ากษัตริย์ จะขอนำอะไรจากฮาเร็มไปพระราชวังด้วยก็ได้ 14ในเวลาเย็นนางจะเข้าวัง และเช้าวันรุ่งขึ้นจะกลับไปอยู่อีกตำหนักหนึ่งในฮาเร็มซึ่งอยู่ในความดูแลของชาอัชกาสขันทีของกษัตริย์ผู้คอยดูแลพวกสนม นางจะไม่ได้เฝ้ากษัตริย์อีกเว้นเสียแต่ว่าพระองค์ทรงโปรดและเอ่ยนามเรียกตัวนางมาเข้าเฝ้า

15เมื่อถึงรอบของเอสเธอร์ที่จะเข้าเฝ้ากษัตริย์ (หญิงสาวที่โมรเดคัยรับเป็นบุตรบุญธรรม นางเป็นบุตรสาวของอาบีฮายิล ผู้เป็นลุงของโมรเดคัย) นางไม่ได้ขอสิ่งใดนอกจากที่ขันทีเฮกัยผู้ดูแลฮาเร็มแนะนำ และทุกคนที่เห็นเอสเธอร์ก็ชื่นชอบนาง 16เอสเธอร์ถูกนำมาเข้าเฝ้ากษัตริย์เซอร์ซีสในพระราชวังเมื่อเดือนเทเบท ซึ่งเป็นเดือนที่สิบปีที่เจ็ดแห่งรัชกาล

17กษัตริย์พอพระทัยเอสเธอร์มากกว่าหญิงอื่นทั้งปวง พระองค์โปรดปรานและพอพระทัยนางมากกว่าหญิงพรหมจารีคนอื่นๆ จึงสวมมงกุฎให้และตั้งนางเป็นราชินีแทนพระนางวัชที 18และกษัตริย์ทรงจัดงานเลี้ยงใหญ่ประทานแก่ขุนนางและข้าราชบริพารทั้งปวงเพื่อเอสเธอร์ พระองค์ทรงประกาศวันหยุดทั่วทุกมณฑล และประทานของขวัญด้วยพระทัยกว้างขวาง

โมรเดคัยทูลเรื่องแผนการของคนร้าย

19เมื่อมีการเฟ้นตัวหญิงสาวพรหมจารีครั้งที่สอง โมรเดคัยนั่งประจำอยู่ที่ประตูพระราชวัง 20แต่เอสเธอร์ยังคงไม่เปิดเผยเชื้อชาติและภูมิหลังครอบครัวของพระนางตามที่โมรเดคัยสั่งไว้ พระนางยังคงปฏิบัติตามคำสั่งของโมรเดคัยเหมือนตอนที่เขายังเลี้ยงดูพระนาง

21ในช่วงที่โมรเดคัยนั่งประจำอยู่ที่ประตูพระราชวัง ข้าราชการสองคนซึ่งเป็นยามเฝ้าประตู คือบิกธานา2:21 ภาษาฮีบรูว่าบิกธานเป็นอีกรูปหนึ่งของบิกธานาและเทเรช มีเรื่องแค้นเคืองและคบคิดกันจะลอบปลงพระชนม์กษัตริย์เซอร์ซีส 22แต่โมรเดคัยล่วงรู้และนำความไปแจ้งพระนางเอสเธอร์ พระนางจึงขึ้นกราบทูลกษัตริย์และทูลว่าเป็นความดีความชอบของโมรเดคัย 23มีการสอบสวนเรื่องนี้และพบว่าเป็นความจริง ข้าราชบริพารทั้งสองจึงถูกแขวนคอที่ตะแลงแกง2:23 หรือถูกแขวน(หรือถูกเสียบ)ไว้บนเสาเหมือนที่อื่นๆ ในพระธรรมเอสเธอร์ เรื่องราวทั้งหมดบันทึกอยู่ในจดหมายเหตุรัชกาลกษัตริย์เซอร์ซีส