Empeera y’Okunoonya Amagezi
1Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,
n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
22:2 Nge 22:17era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
3ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
42:4 Yob 3:21; Nge 3:14; Mat 13:44bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
52:5 Nge 1:7awo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
62:6 1Bk 3:9, 12; Yak 1:5Kubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
72:7 a Nge 30:5-6 b Zab 84:11Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
82:8 1Sa 2:9; Zab 66:9Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.
9Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
weewaawo buli kkubo eddungi.
102:10 Nge 14:33Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
112:11 Nge 4:6; 6:22Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga
n’okutegeera kunaakukuumanga:
12Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,
n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
132:13 Nge 4:19; Yk 3:19abaleka amakubo ag’obutuukirivu
ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
142:14 Nge 10:23; Yer 11:15abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,
abanyumirwa eby’obusirusiru,
152:15 a Zab 125:5 b Nge 21:8abantu abo be b’amakubo amakyamu,
era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.
162:16 Nge 5:1-6; 6:20-29; 7:5-27Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
172:17 Mal 2:14eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
182:18 Nge 7:27Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
n’amakubo ge galaga eri abafu.
192:19 Mub 7:26Tewali n’omu agenda ewuwe adda
wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
20Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda
era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.
212:21 Zab 37:29Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi,
era abo abagolokofu baligisigalamu.
222:22 a Yob 18:17; Zab 37:38 b Ma 28:63; Nge 10:30Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi,
n’abatali beesigwa balizikirizibwa.