Engero 17 – LCB & NIVUK

Luganda Contemporary Bible

Engero 17:1-28

1Okulya akamere akaluma awali emirembe,

kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.

2Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi,

era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.

3Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu,

naye Mukama agezesa emitima.

4Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba,

era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.

5Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda,

n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.

6Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,

era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.

7Enjogerannungi teba ya musirusiru,

ng’oweekitiibwa bw’atasaana kwogera bya bulimba.

8Enguzi eri ng’ejjinja ery’omufuusa mu maaso g’oyo agigaba,

alowooza nti buli gy’akyukira eneemuyamba.

9Okwagala tekulondoola nsobi,

naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.

10Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera,

okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.

11Omukozi w’ebibi anoonya bujeemu bwereere,

era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.

12Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo,

kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.

Ebbeeyi y’Amagezi

13Omuntu bw’asasula ekibi olw’obulungi,

ekibi tekiriva mu nnyumba ye.

14Okutandika oluyombo kuli ng’omuntu bw’asumulula omudumu gw’amazzi,

noolwekyo vvaawo ng’oluyombo terunnatandika.

15Eyejjeereza omukozi w’ebibi n’oyo avumirira omutuukirivu,

bombi ba muzizo eri Mukama.

16Omusirusiru agasibwa ki okuba ne ssente ezisasulibwa amagezi,

ng’ate ye talina mutima gwegomba magezi?

17Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera,

era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.

18Omuntu atalina magezi awa obweyamo

ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.

19Oyo ayagala ekibi anyumirwa ennyombo,

n’oyo akola omulyango omunene ogw’omu maaso gwa bbugwe ye nga guyitiridde obunene gulimuteganya nnyo.

20Omuntu ow’omutima omubambaavu takulaakulana,

n’oyo ow’olulimi olulimba agwa mu katyabaga.

21Omwana omusirusiru aleetera kitaawe obuyinike,

kitaawe w’omusirusiru taba na ssanyu.

22Omutima ogw’essanyu ddagala ddungi,

naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.

23Omuntu omubi alya enguzi mu kyama,

alyoke aziyize amazima okweyoleka.

24Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi,

naye amaaso g’omusirusiru gasamaalirira ensi gy’ekoma.

25Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe,

era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.

26Si kirungi okuweesa omutuukirivu engassi ey’obwereere

wadde okukuba ab’ekitiibwa embooko olw’obwesimbu bwabwe.

27Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera n’okutegeera,

n’oyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi.

28Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi,

era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.

New International Version – UK

Proverbs 17:1-28

1Better a dry crust with peace and quiet

than a house full of feasting, with strife.

2A prudent servant will rule over a disgraceful son

and will share the inheritance as one of the family.

3The crucible for silver and the furnace for gold,

but the Lord tests the heart.

4A wicked person listens to deceitful lips;

a liar pays attention to a destructive tongue.

5Whoever mocks the poor shows contempt for their Maker;

whoever gloats over disaster will not go unpunished.

6Children’s children are a crown to the aged,

and parents are the pride of their children.

7Eloquent lips are unsuited to a godless fool –

how much worse lying lips to a ruler!

8A bribe is seen as a charm by the one who gives it;

they think success will come at every turn.

9Whoever would foster love covers over an offence,

but whoever repeats the matter separates close friends.

10A rebuke impresses a discerning person

more than a hundred lashes a fool.

11Evildoers foster rebellion against God;

the messenger of death will be sent against them.

12Better to meet a bear robbed of her cubs

than a fool bent on folly.

13Evil will never leave the house

of one who pays back evil for good.

14Starting a quarrel is like breaching a dam;

so drop the matter before a dispute breaks out.

15Acquitting the guilty and condemning the innocent –

the Lord detests them both.

16Why should fools have money in hand to buy wisdom,

when they are not able to understand it?

17A friend loves at all times,

and a brother is born for a time of adversity.

18One who has no sense shakes hands in pledge

and puts up security for a neighbour.

19Whoever loves a quarrel loves sin;

whoever builds a high gate invites destruction.

20One whose heart is corrupt does not prosper;

one whose tongue is perverse falls into trouble.

21To have a fool for a child brings grief;

there is no joy for the parent of a godless fool.

22A cheerful heart is good medicine,

but a crushed spirit dries up the bones.

23The wicked accept bribes in secret

to pervert the course of justice.

24A discerning person keeps wisdom in view,

but a fool’s eyes wander to the ends of the earth.

25A foolish son brings grief to his father

and bitterness to the mother who bore him.

26If imposing a fine on the innocent is not good,

surely to flog honest officials is not right.

27The one who has knowledge uses words with restraint,

and whoever has understanding is even-tempered.

28Even fools are thought wise if they keep silent,

and discerning if they hold their tongues.