Ekyamateeka Olwokubiri 9 – LCB & BPH

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 9:1-29

1Wulira, Ayi Isirayiri. Osemberedde olunaku lw’ojja okusomokerako omugga Yoludaani, oyingire mu nsi omuli amawanga agakusinga obunene, ogyetwalire ogyefunire. Olisangamu ebibuga ebinene ebyebulunguddwa ebigo ebyawanvuwa okutuuka ku ggulu. 2Abantu baayo be batabani ba Anaki, ba maanyi era bawanvu. Obamanyi bulungi, era wawulirako dda nga boogerwako nti, “Ani ayinza okwolekera Abanaki?” 3Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo y’akukulembera buli gy’oba olaga yonna, era ng’ali ng’omuliro ogusaanyaawo buli kintu. Ab’amaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bw’akusuubizza.

4Mukama Katonda wo bw’alimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno n’okugifuna olw’obutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go. 5Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi ky’amawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize n’ekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. 6Osaana okitegeere ng’ensi eno ennungi Mukama Katonda gy’akuwa okugyefunira tagikuwa lwa kubanga oli mutuukirivu; kubanga oli muntu alina ensingo enkakanyavu.

Ennyana eya Zaabu

7Ojjukiranga, era tosaana kwerabiranga, nga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo ng’oli mu ddungu. Okuviira ddala ku lunaku lwe wava mu nsi ey’e Misiri mubadde mujeemera Mukama n’okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino. 8Ku lusozi Kolebu mwanyiiza Mukama Katonda, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo n’okwagala n’ayagala okubazikiriza. 9Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby’amayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi. 10Mukama Katonda n’ampa ebipande bibiri eby’amayinja nga biwandiikiddwako n’engalo ya Katonda. Ku byo kwali kuwandiikiddwako amateeka Mukama ge yali abalangiridde ng’ali ku lusozi wakati mu muliro ku lunaku olwo nga mwenna mukuŋŋaanye.

11Ku nkomerero y’ennaku amakumi ana n’ebiro amakumi ana Mukama Katonda n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja nga bye bipande eby’endagaano. 12Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”

13Era Mukama Katonda ne yeeyongera n’aŋŋamba nti, “Neetegerezza abantu bano, ne ndaba nga bantu abalina ensingo enkakanyavu, nga ggwanga lya mputtu. 14Leka mbazikirize, erinnya ly’eggwanga lyabwe ndisangulewo wansi w’eggulu. Ndikuggyamu eggwanga eddene era ery’amaanyi okusinga eggwanga lyabwe.”

15Bwe ntyo ne nkyuka ne nva ku lusozi ne nserengeta, ne ndeka ng’olusozi lwaka omuliro. Ebipande byombi eby’amateeka eby’endagaano nabirina mu mikono gyange gyombi. 16Bwe natunula ne ndaba nga mwonoonye mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mwali mwekoledde ekitali Katonda nga mukibumbye okufaanana ng’ennyana; mwali mukyuse mangu okuva mu kkubo Mukama lye yali abalagidde. 17Bwe ntyo ne nzirira ebipande byombi bye nnali nkutte mu ngalo zange ne mbikasuka wansi ne byatikirayatikira mu maaso gammwe nga nammwe mulaba.

18Ate ne nziramu okweyala wansi awali Mukama Katonda okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro, Mukama bwe yali amaliridde okubazikiririza ddala yeefunire eggwanga eddala; ne sirya ku mmere wadde okunywa ku tuzzi okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, olw’ekibi kye mwali mukoze, bwe mwakola ebitasaana mu maaso ga Mukama Katonda ne mumusunguwaza. 19Ne ntya nnyo olw’obusungu bwa Mukama Katonda n’ekiruyi kye, kubanga yali abasunguwalidde nnyo ng’ayinza n’okubazikiriza. Naye era Mukama n’ampuliriza ne ku mulundi ogwo. 20Era Mukama yali asunguwalidde nnyo Alooni nga n’okumuzikiriza ayinza okumuzikiriza. Naye mu kiseera ekyo ne Alooni ne mmusabira nnyo. 21Ne nzirira ennyana eyabaleetera okusobya, ne ngyokya mu muliro. Ne ngisekulasekula ne ngisa, n’efuuka olufufugge. Olufufugge olwo ne nduyiwa mu kagga akaali kakulukutira ku lusozi olunene.

22Mukama, mwayongera okumusunguwaza bwe mwali e Tabera, n’e Masa, n’e Kiberosu Kataava.

23Era Mukama bwe yabasindika okuva e Kadesubanea, yabagamba nti, “Mwambuke mwetwalire ensi gye mbawadde.” Naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. Temwamwesiga wadde okumugondera. 24Kasookedde mbamanya, ebbanga eryo lyonna mubadde mujeemera Mukama Katonda.

Musa Yeegayirira Mukama ku lwa Isirayiri

25Bwe ntyo ne nambaala ku ttaka nga neevuunise mu maaso ga Mukama, okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro; kubanga Mukama Katonda yali agambye nti ajja kubazikiriza. 26Ne nsaba Mukama nti, Ayi Mukama Katonda, bano be bantu bo, era obusika bwo bwennyini, be wanunula n’obaggya mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi. 27Nkusaba ojjukire abaddu bo, era abaweereza bo, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo osonyiwe obukakanyavu bw’eggwanga lino, n’obunafu bwalyo n’ebibi byalyo. 28Ab’omu nsi mwe watuggya baleme okugamba nti, “Olwokubanga Mukama yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era olwokubanga yali abakyaye nnyo, kyeyava abaggyayo mu Misiri alyoke abattire mu ddungu.” 29Kubanga lino lye ggwanga lyo, be bantu bo ab’obusika bwo, be waggya mu Misiri n’obuyinza bwo obungi, n’omukono gwo ogw’amaanyi.

Bibelen på hverdagsdansk

5. Mosebog 9:1-29

Kana’anæernes ondskab

1Hør efter, Israels folk! Nu er det tid at gå over Jordanfloden og erobre landet fra folkeslagene på den anden side. De er større og stærkere end jer og bor i byer med himmelhøje mure. 2Blandt dem bor de frygtede anakitter, kæmper, som siges at være uovervindelige. 3Men Herren, jeres Gud, vil gå foran jer som en fortærende ild, der ødelægger alt på sin vej, og I vil hurtigt besejre dem og udrydde dem, sådan som Herren har lovet.

4-5Når Herren rydder dem bort foran jer og giver jer landet i besiddelse, må I ikke sige: ‚Herren hjalp os, fordi vi fortjente det!’ Nej, det er ikke jer, der fortjener hans hjælp, men dem, der fortjener hans straf. Han driver dem ud af landet på grund af deres ondskab og for at opfylde sit løfte til jeres forfædre, Abraham, Isak og Jakob. 6Jeg kan forsikre jer om, at Herren ikke giver jer det dejlige land, fordi I har gjort jer fortjent til det. I er nemlig et stædigt og oprørsk folk!

Påmindelse om Israels folks genstridighed

7Glem aldrig, hvordan folket gang på gang fremkaldte Herrens vrede i ørkenen, lige fra den dag, de forlod Egypten, og til nu. Hele vejen har de været stride imod ham.

8Husk på, hvor vred de gjorde ham ved Horebs bjerg, så vred, at han faktisk havde besluttet at udrydde hele folket. 9-11Det var dengang jeg opholdt mig på bjerget i 40 dage9,9-11 På hebraisk 40 dage og 40 nætter, hvilket svarer til 40 dage og 39 nætter eller 39 døgn på dansk. uden at spise eller drikke, mens jeg ventede på, at Herren skulle give mig stentavlerne med pagtens betingelser, som de allerede havde hørt ham erklære fra ilden på bjerget. 12Han befalede mig imidlertid at skynde mig ned ad bjerget, fordi folket, jeg havde ført ud af Egypten, havde syndet ved at tage afstand fra ham og støbe et afgudsbillede i stedet.

13-14‚Lad mig få lov til at udrydde dette oprørske folk fra jordens overflade!’ sagde Herren til mig. ‚Derefter vil jeg begynde forfra med dig og gøre dig til et mægtigt folk, større og stærkere end dem.’

15Jeg gik så ned fra det flammende bjerg. I hænderne havde jeg de to stentavler. 16Da jeg ved bjergets fod fik øje på den tyrekalv, de havde fremstillet, blev jeg så rasende over, at de så hurtigt havde forladt Herrens vej, 17at jeg løftede stentavlerne i vejret og kastede dem til jorden, så de splintredes for øjnene af folket. 18Derefter lå jeg for Herrens ansigt endnu 40 dage uden at spise eller drikke. Jeg sørgede over deres utrolige ondskab, som endnu en gang havde fremkaldt hans vrede. 19Jeg rystede af angst for, at Herren ville gøre alvor af sin trussel og udslette sit folk, men også denne gang hørte han min bøn. 20Selv Aron, der havde svigtet sit ansvar, blev ramt af Herrens vrede, men han blev skånet ved, at jeg gik i forbøn for ham. 21Den forfærdelige tyrekalv, folket havde fremstillet, brændte jeg i ilden, hvorefter jeg knuste resterne til fint støv og smed støvet i bækken, der flød ned ad bjerget.

22Senere ved Tabera og Massa provokerede folket Herren igen, og endnu en gang ved ‚De Grådiges Grav’. 23Da vi nåede til Kadesh-Barnea, og Herren opfordrede dem til at gå ind i det land, han havde lovet dem, nægtede de at adlyde ham, fordi de ikke havde tillid til, at han ville hjælpe dem. 24Folket har været i oprør imod Herren, lige så længe jeg kan huske.

25Da jeg lå for Herrens ansigt i 40 dage og bad for dem, var det, fordi Herren havde sagt, at han ville udrydde sit folk. 26Derfor gik jeg i forbøn for dem med følgende ord: ‚Min Herre og Gud, udslet ikke dit ejendomsfolk, som du med magt og vælde befriede fra slaveriet i Egypten. 27Husk på dine løfter til dine tjenere Abraham, Isak og Jakob og se i nåde til det her oprørske folk med dets synd og ulydighed. 28Hvis du udrydder dem, vil egypterne jo påstå, at du ikke var i stand til at gennemføre din plan om at føre dem til det land, du havde lovet dem, eller de vil sige, at du er en ond Gud, der af had til dit folk lagde en fælde for dem i ørkenen. 29Vis dog, at de er dit ejendomsfolk, og at det ikke var forgæves, at du med magt og vælde førte dem ud af Egypten.’