Ekyamateeka Olwokubiri 19 – LCB & NIRV

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 19:1-21

Amateeka ku Bibuga eby’Okuddukirangamu

1Mukama Katonda wo bw’alimala okuzikiriza amawanga kaakano agali mu nsi gy’akuwa, n’ogyefunira, ne weetwalira ebibuga byabwe, n’amaka gaabwe n’obeera omwo, 2weeyawulirangako ebibuga bisatu19:2 ebibuga bisatu Bino byali bibuga bisatu ebirala eby’okuddukirangamu, nga biri mu bugwanjuba bwa Yoludaani. nga biri wakati mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya. 3Okolanga enguudo eziraga mu bibuga ebyo; ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ogyawulangamu ebitundu bisatu, kale buli anattanga omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga eby’omu bitundu ebyo.

4Etteeka lino likwata ku muntu anattanga munne nga tagenderedde kubanga anaabanga tamulinaako kiruyi kyonna, oyo eyasse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo awonye obulamu bwe. 5Ekyokulabirako kiikino: Singa omuntu agenda ne munne okutema omuti mu kibira n’embazzi, naye ng’abadde agiwuuba ateme omuti, embazzi n’ewanguka mu kiti kyayo, n’etema munne n’afa, eyasse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n’atattibwa.

6Ebibuga ebyo tebisaanira kuba wala nnyo, kubanga oli ayagala okuwalanira omufu eggwanga bw’anaafubanga okugoba eyasse embiro okutuusa ng’amukutte, aleme kusobola kumukwata, naye n’amutta, songa eyasse oli yali tagenderedde kutta munne, kubanga ku bombi tekwaliko mulabe wa munne. 7Kyenva nkulagira okweyawulirangako ebibuga bisatu. 8Mukama Katonda wo bw’anaakugaziyirizanga amatwale go, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, n’akuwa ettaka lyonna lye yasuubiza bajjajjaabo, 9kasita onookwatanga amateeka gonna ge nkulagira leero, kwe kwagalanga Mukama Katonda wo, n’okutambuliranga mu makubo ge, kale ku bibuga bino ebisatu onooyongerangako ebirala bisatu. 10Ekyo onookikolanga okuziyiza omusaayi gw’omuntu ataliiko musango okuyiikira obwereere mu nsi yo Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, omusaayi oguyiise gulemenga kubeera ku ggwe.

11Naye omuntu bw’anaabanga n’ekiruyi ku munne, n’amwekwekerera n’amutta, n’alyoka addukira mu kimu ku bibuga ebyo, 12abakulembeze abakulu ab’omu kibuga ky’omutemu, banaamutumyangayo ne bamuggyayo, ne bamukwasa anaabanga agenda okuwoolera eggwanga ery’omusaayi gw’omufu, omutemu n’alyoka attibwa. 13Tomusaasiranga. Kikugwanira okumalirawo ddala mu Isirayiri okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, olyoke obeerenga bulungi n’emirembe.

Ensalo z’Obwannannyini

14Tosimbulanga bituuti ebiri mu mpenda eziraga ensalo ya buli muntu ne muliraanwa we, ebyasimbibwawo ab’omu mirembe egyasooka, ebiraga ettaka ly’onoogabana mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya.

Etteeka ku Bajulizi

15Omujulizi omu taamalenga, okusinzisa omuntu omusango gw’anaabanga azzizza, oba olw’ekikolwa ekibi ky’anaabanga akoze nga kyekuusa ku musango gw’anaabanga azzizza. Wanaamalanga kubeerawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, olwo nno ekivunaanwa omuntu oyo ne kiryoka kinywezebwa. 16Omujulizi ow’obulimba bw’aneesowolangayo n’avunaana omuntu nti musobya, 17abantu bombi abawozaŋŋanya banajjanga mu maaso ga Mukama Katonda awali bakabona n’abalamuzi abanaabanga ku mulimu mu kiseera ekyo. 18Abalamuzi kinaabagwaniranga okubuulirizanga ennyo n’obwegendereza. Omujulizi oyo bw’anaakakasibwanga nga mulimba, ng’obujulizi bw’awadde ku munne bugingirire, 19munaamukolangako nga naye bw’abadde ayagala munne akolweko. Bw’atyo n’omalirawo ddala ebikolwa ebibi ebiri wakati mu mmwe. 20Abalala bwe banaakiwuliranga banaatyanga, ng’olwo mu mmwe temukyali baddayo kuzzanga musango gufaanana ng’ogwo. 21Tobasaasiranga; obulamu busasulwenga na bulamu, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo, omukono olw’omukono n’ekigere olw’ekigere.

New International Reader’s Version

Deuteronomy 19:1-21

Cities to Run to for Safety

1The Lord your God will destroy the nations whose land he is giving you. You will drive them out. And you will make your homes in their towns and their houses. 2When you do, set apart for yourselves three cities in the land. It’s the land the Lord your God is giving you to take as your own. 3Figure out the distances and then separate the land into three parts. Then anyone who kills another person can run to one of these cities for safety. They are in the land the Lord your God is giving you as your own.

4Here is the rule about a person who kills someone. That person can run to one of those cities for safety. The rule applies to anyone who kills a neighbor they didn’t hate and didn’t mean to kill. 5For example, suppose a man goes into a forest with his neighbor to cut wood. When he swings his ax to chop down a tree, the head of the ax flies off. And it hits his neighbor and kills him. Then that man can run to one of those cities and save his life. 6If he doesn’t go to one of those cities, the dead man’s nearest male relative might become very angry. He might chase the man. If the city is too far away, he might catch him and kill him. But the man running to the city isn’t worthy of death, because he didn’t hate his neighbor. 7That’s why I command you to set apart for yourselves three cities.

8The Lord your God will increase the size of your territory. He promised your people of long ago that he would do it. He will give you the whole land he promised them. 9But he’ll do it only if you are careful to obey all the laws I’m commanding you today. I command you to love the Lord your God. You must always live as he wants you to live. Suppose you are careful to obey, and the Lord your God gives you more land. Then you must set apart three more cities. 10Do it to protect those not guilty of murder. Then you won’t spill their blood in your land. It’s the land the Lord your God is giving you as your own.

11But suppose a man hates his neighbor. So he hides and waits for him. Then he attacks him and kills him. And he runs to one of those cities for safety. 12If he does, the elders of his own town must send for him. He must be brought back from the city. He must be handed over to the dead man’s nearest male relative. Then the relative will kill him. 13Don’t feel sorry for him. He has killed someone who hadn’t done anything wrong. Crimes like that must be punished in Israel. Then things will go well with you.

14Don’t move your neighbor’s boundary stone. It was set up by people who lived there before you. It marks the border of a field in the land you will receive as your own. The Lord your God is giving you that land. You will take it over.

Witnesses

15Suppose someone is charged with committing a crime of any kind. Then one witness won’t be enough to prove that person is guilty. Every matter must be proved by the words of two or three witnesses.

16Suppose a witness who tells lies goes to court and brings charges against someone. The witness says someone committed a crime. 17Then the two people in the case must stand in front of the Lord. They must stand in front of the priests and the judges who are in office at that time. 18The judges must check out the matter carefully. And suppose the witness is proved to be lying. Then he has said something false in court against another Israelite. 19So do to the lying witness what he tried to do to the other person. Get rid of that evil witness. 20The rest of the people will hear about it. And they will be afraid. They won’t allow such an evil thing to be done among them again. 21Don’t feel sorry for that evil person. A life must be taken for a life. An eye must be put out for an eye. A tooth must be knocked out for a tooth. A hand must be cut off for a hand and a foot for a foot.