Ekyamateeka Olwokubiri 18 – LCB & CARS

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 18:1-22

Abaleevi Bakabona

1Bakabona, Abaleevi n’ekika kyonna ekya Leevi, tebaafunenga mugabo oba bya busika mu Isirayiri. Banaaweebwanga ku biweebwayo ebyokebwa ebinaaleetebwanga eri Mukama Katonda; ogwo gwe gunaabanga omugabo ogw’obusika bwabwe. 2Tebaabeerenga na mugabo gwa busika nga bannaabwe abalala bonna mu Isirayiri, kubanga Mukama Katonda yabasuubiza nga y’anaabanga obusika bwabwe.

3Bino bakabona bye banaagabananga ku biweebwayo eby’ente za sseddume n’endiga abantu bye banaabanga baleese: bakabona banaafunangako omukono n’emba zombi, n’eby’omu lubuto. 4Era onoobawanga ebibala byo ebibereberye eby’emmere ey’empeke, n’ebya wayini wo, n’amafuta go, n’ebyoya ebisooka eby’endiga zo. 5Kubanga Mukama Katonda wo yeeroboza Leevi n’ezzadde lye mu bika byo byonna okuweerezanga mu linnya lya Mukama emirembe n’emirembe. 6Omuleevi bw’anaavanga mu kimu ku bibuga byo ebiri mu Isirayiri gy’abadde atuula, n’ajja nga bw’anaabanga yeeteeserezza, n’ajja mu kifo Mukama Katonda ky’aneeronderanga, 7anaayinzanga okuweereza mu linnya lya Mukama Katonda we okufaanana nga Abaleevi banne abalala aba buli kiseera abanaabanga baweereza mu linnya lya Mukama Katonda mu kifo ekyo. 8Anaagabananga kyenkanyi ne banne abaabulijjo, ne bw’anaabanga ng’alina ensimbi ezize ku bubwe z’anaabanga aggye mu by’omu maka ge by’atunze.

Okuwera Empisa ez’Obulogo n’Obusamize

9Bw’onooyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, weekuume obutayiga kukopperera mpisa embi ez’abantu ab’omu mawanga g’olisanga mu nsi omwo. 10Tewabeerangawo omuntu n’omu alirabika ng’ayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ng’ekiweebwayo, oba ng’akola ng’omulaguzi, oba omulogo, oba omusawo w’ekinnansi, oba avvuunula eby’omu biseera ebijja, 11oba asuula abantu eddalu, oba emmandwa, oba omusamize, oba omulubaale, oba ayogera n’emizimu, oba eyeebuuza ku baafa. 12Omuntu yenna anaakolanga ebintu ng’ebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri Mukama. Era olwokubanga ab’omu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, Mukama Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ng’ogiyingira. 13Kikugwanira obenga muwulize nnyo, atuukiridde mu maaso ga Mukama Katonda wo. 14Newaakubadde ng’abantu ab’omu mawanga ago b’ogenda okulyako ensi yaabwe, bagondera nnyo abalaguzi n’abasamize, naye ebyo Mukama Katonda wo, ggwe, takukkiriza kubikola.

Okusuubizibwa Nnabbi Omuggya

15Mukama Katonda wo agenda kukuyimusiza Nnabbi ali nga nze, ng’amuggya mu bantu bo. Nnabbi oyo mumuwulirizanga era mumugonderanga. 16Kubanga ekyo kye wasaba Mukama Katonda wo ku lunaku olw’okukuŋŋaana ku lusozi Kolebu ng’ogamba nti, “Sisaanidde kuddayo nate kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wange wadde okuddayo okulaba omuliro guno omungi, nneme okufa.”

17Mukama Katonda kwe kunnyanukula nti, “Kye bagambye kirungi era kituufu. 18Nzija kubayimusiza Nnabbi ali nga ggwe okuva wakati mu bo; Nze nnaasanga ebigambo byange mu kammwe ke, ye n’abategeezanga bye nnaamulagiranga. 19Omuntu yenna ataagonderenga bigambo Nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lyange, Nze kennyini, Nze nnaamwekolerangako. 20Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”

21Oyinza okwebuuza nti, “Tunaamanyanga tutya ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’anaabanga abyogedde?” 22Ebigambo nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lya Mukama bwe bitaatuukirirenga oba bwe bitaabenga bya mazima, ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’abyogedde. Nnabbi oyo by’anaabanga ayogedde anaabanga abiyiiyizza buyiiya. Ebyo tebibatiisanga.

Священное Писание

Второзаконие 18:1-22

Приношения для священнослужителей и левитов

1Священнослужители-левиты – да и весь род Леви – не должны иметь надела или наследия в Исраиле. Они будут жить огненными жертвами Вечному, потому что это их наследие18:1 Или: «жертвами Вечному и Его частью».. 2У них не будет наследия среди братьев, потому что Вечный – их наследие, как Он и обещал им.

3Вот доля, которая причитается священнослужителям от народа и от всех тех, кто приносит в жертву быка или овцу, – это плечо, челюсти и желудок. 4Также ты должен давать им первые плоды со сборов зерна, молодого вина и масла, и шерсть от первой стрижки овец, 5потому что Вечный, твой Бог, выбрал левитов и их потомков из всех твоих родов, чтобы они всегда стояли и служили во имя Вечного.

6Если где-нибудь в Исраиле левит уйдёт из города, где он живёт, и придёт по желанию сердца на место, которое выберет Вечный, 7то он может служить во имя Вечного, своего Бога, подобно всем своим соплеменникам-левитам, которые стоят там перед Вечным. 8Он должен получать свою долю наравне с ними, несмотря на то что он выручил деньги от продажи семейной собственности.

Обычаи других народов

9Когда ты войдёшь в землю, которую даёт тебе Вечный, твой Бог, не подражай мерзким обычаям тех народов. 10Пусть не будет среди вас того, кто приносит в огненную жертву своего сына или свою дочь, занимается ворожбой и волшебством, толкует знамения, колдует, 11наводит чары, вызывает призраков и духов или вопрошает мёртвых. 12Всякий, кто творит такие дела, отвратителен Вечному, и из-за этих мерзких обычаев Вечный, твой Бог, прогонит от тебя народы. 13Ты должен быть непорочен перед Вечным, твоим Богом.

Пророк

14Народы, которые ты выселишь, слушают тех, кто занимается волшебством и ворожбой. Но тебе Вечный, твой Бог, не позволяет этого. 15Из твоей среды, из твоего же народа Вечный, твой Бог, поставит тебе Пророка, подобного мне. Ты должен слушать Его. 16Ведь именно этого ты просил у Вечного, своего Бога, у горы Синай18:16 Букв.: «у Хорива». Хорив – другое название горы Синай. в день собрания, когда сказал: «Пусть не услышу я больше голос Вечного, моего Бога, и не увижу больше этот великий огонь, чтобы не умереть»18:16 См. Исх. 20:19..

17Вечный сказал мне: «То, что они говорят, – хорошо. 18Я пошлю им Пророка, подобного тебе, из их братьев. Я вложу Свои слова в Его уста, и Он будет говорить им всё то, что Я Ему повелю18:15-18 Вечный посылал после Мусы целую череду Своих пророков. Но, конечно же, в первую очередь, данное пророчество относится к Исе, великому Пророку и Посреднику между Всевышним и человеком (см. Деян. 3:20-24).. 19Если кто-то не станет слушать Мои слова, которые Пророк Тот будет говорить от Моего имени, то Я сам призову того к ответу. 20Но пророк, который осмелится говорить от Моего имени хоть что-то, чего Я не повелевал ему, или пророк, который станет говорить от имени других богов, должен быть предан смерти».

21Ты можешь сказать про себя: «Как нам узнать слово, которое Вечный не говорил?» 22Если то, что пророк объявляет от имени Вечного, не происходит и не исполняется, то это то слово, которое Вечный не говорил. Тот пророк говорил самонадеянно. Не бойся его.