Musa Ayogera nga Katonda bw’Anaakulembera Abayisirayiri
1Bino bye bigambo Musa bye yategeeza Abayisirayiri bonna nga bali ku ludda olw’ebuvanjuba w’omugga Yoludaani mu ddungu, mu Alaba okwolekera Sufu, wakati wa Palani ne Toferi, ne Labani, ne Kazerosi ne Dizakabu. 2Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu1:2 Mu biro biri entambula yali ya njawulo okuva e Kolebu1:2 Kolebu Erinnya ly’Olusozi Kolebu eddala ly’Olusozi Sinaayi. okutuuka e Kadesubanea, ng’okutte ekkubo eriyitira ku Lusozi Seyiri.
3Awo ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwaka ogw’amakumi ana, Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebyo byonna Mukama bye yamulagira okubabuulira. 4Mu kiseera ekyo Musa yali amaze okuwangula Sikoni kabaka w’Abamoli eyabeeranga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani eyabeeranga mu Asutaloosi ne mu Ederei.
5Ku ludda lw’eyo olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa n’atandika okulangirira amateeka gano ng’ayogera nti:
6“Mukama Katonda waffe yatugamba nga tuli ku Kolebu nti, ‘Ebbanga lye mumaze ku lusozi luno limala; 7kale musitule mukyuke, mutambule nga mwolekera ensi ey’ensozi ey’Abamoli, ne mu baliraanwa baabwe yonna mu Alaba, mu nsozi, ne mu bisenyi, ne mu Negebu, ne ku lubalama lw’ennyanja, ne mu nsi ya Bakanani n’ey’Abalebanooni, okutuukira ddala ku mugga omunene, Omugga Fulaati. 8Mulabe, ensi eyo ngibawadde. Muyingire mwetwalire ensi eyo Mukama Katonda gye yeerayirira okugiwa bajjajjammwe: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo; okugibawa bo n’ezzadde lyabwe eririddawo.’
Okulonda Abakulembeze
9“Mu biro ebyo nabagamba nti, ‘Sisobola kubalabirira nzekka bw’omu. 10Mukama Katonda wammwe abongedde nnyo obungi, ne muwera nnyo; era, laba, kaakano muli ng’emmunyeenye ez’oku ggulu mu bungi bwammwe. 11Nsaba Mukama Katonda wa bajjajjammwe abongereko obungi emirundi lukumi okusinga nga bwe muli leero, era abawenga omukisa nga bwe yabasuubiza. 12Kale, nze obw’omu nzekka nnaasobola ntya okwetikka omugugu gwammwe ogwo oguzitowa bwe gutyo, n’okubamalirawo ennyombo zammwe? 13Kale nno, mwerondemu, mu buli kika kyammwe, ab’amagezi, abategeevu era abalina obumanyirivu nga bassibwamu ekitiibwa, nange nnaabakuza ne mbafuula abakulembeze bammwe.’ 14Nammwe mwanziramu nti, ‘Ekintu ky’otuteeserezza ffe okukola kirungi tukisiima.’
15“Bwe ntyo ne nzirira abakulu b’ebika byammwe, nga basajja ba magezi, abalina obumanyirivu, era abassibwamu ekitiibwa, ne mbalonda okubeeranga abakulembeze bammwe; okubanga abafuzi b’enkumi, n’abalala ab’ebikumi, n’abalala ab’amakumi ataano, n’abalala ab’ekkumi, mu bika byammwe byonna. 16Mu biro ebyo ne nkuutira abaabalamulanga nti, ‘Muwulirizenga ensonga ezinaabaleeterwanga abooluganda, era musalengawo mu bwenkanya wakati w’owooluganda ne munne, era ne wakati we ne munnaggwanga gw’abeera naye. 17Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’ 18Mu biro ebyo ne mbakuutira ebintu byonna bye musaanira okukolanga.”
Alipoota y’Abakessi
19Awo ne tusitula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu eddene ery’entiisa mwenna lye mwalaba, ne tukwata ekkubo eryatutwala mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tulyoka tutuuka e Kadesubanea. 20Ne mbagamba nti, “Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, Mukama Katonda waffe gy’atuwadde. 21Laba, Mukama Katonda wo akuwadde ensi. Kale, yambuka ogyetwalire nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, so toggwaamu maanyi.”
22Awo mwenna ne mujja gye ndi, ne muŋŋamba nti, “Kirungi tutume abantu basooke okutuukako eyo gye tulaga, bakebere ensi bagyetegereze nga bw’eri; balyoke bakomewo batutegeeze ekkubo lye tusaanira okukwata, n’ebibuga bye tunaggukako.”
23Ekirowoozo ekyo kyandabikira nga kirungi, ne nkisiima; ne nnonda mu mmwe abasajja kkumi na babiri; nga mu buli kika muvaamu omusajja omu omu. 24Baasitula ne bambuka mu nsi eyo ey’ensozi, ne batuuka mu kiwonvu Esukoli, ne bakiketta. 25Ne banoga ku bibala eby’omu nsi omwo ne babituleetera; ne batutegeeza bwe bati nti, “Ensi Mukama Katonda waffe gy’atuwadde nnungi nnyo.
Okwemulugunya kwa Isirayiri
26“Naye ate ne mutayambuka, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. 27Ne mwemulugunyiriza mu weema zammwe nga mugamba nti, ‘Olwokubanga Mukama tatwagala, yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y’e Misiri alyoke atuweeyo mu mukono gw’Abamoli batuzikirize. 28Wa eyo gye tunaayambuka? Ebigambo bya baganda baffe abaagenda okuketta biyongobezza emitima gyaffe, bwe bagambye nti, Abantu abali eri banene, era bawanvu okutusinga ffe; ebibuga byayo binene nnyo, n’ebigo byabyo biwanvu bituukira ddala waggulu mu bire. Ate ne batabani ba Anaki1:28 Anaki baali batuuze b’omu Kanani, era baayitibwanga gasajja. nabo twabalabayo.’ ” 29Naye ne mbaddamu nti, “Temutekemuka mitima, so temubatya. 30Mukama Katonda wammwe bulijjo abakulembera, ye yennyini agenda kubalwaniriranga, nga bwe yabalwanirira mu Misiri nga mulabira ddala n’amaaso gammwe. 31Era ne mu ddungu walabira ddala nga Mukama Katonda wo bwe yakusitula, nga kitaawe w’omwana bw’asitula mutabani we, n’akuyisa mu lugendo lwonna n’okukutuusa n’akutuusa mu kifo kino.”
32Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama Katonda wammwe temwamwesiga, 33songa ye, yabakulemberanga mu lugendo lwammwe lwonna, n’empagi ey’omuliro ekiro, n’ekire mu budde obw’emisana, n’okubalaganga ekifo we munaasiisiranga.
34Mukama bwe yawulira ebigambo byammwe n’asunguwala nnyo, n’alayira nti, 35“Tewalibaawo n’omu ku bantu bano, ab’omulembe guno omubi, aliraba ku nsi eyo ennungi gye nalayirira okuwa bajjajjammwe, 36okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye agenda kugiraba, era ndimugabira, awamu n’ezzadde lye, ensi gye yalinnyako ekigere kye; kubanga yagondera Mukama n’omutima gwe gwonna.”
37Nange Mukama yansunguwalira ku lwammwe, n’aŋŋamba nti, “Naawe toliyingira mu nsi omwo. 38Wabula omuweereza wo Yoswa mutabani wa Nuuni ye aligiyingiramu. Mumuwagire, kubanga ye alikulembera abaana ba Isirayiri ne basikira ensi eyo. 39Abaana bammwe abato be mwatiisanga nti bagenda kuwambibwa batwalibwe mu busibe, abaana bammwe abo, abaali batannayawulamu kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa, ne bagyetwalira ne bagyefunira. 40Naye mmwe, musitule mukyuke, mukwate olugendo olw’omu ddungu nga mwolekera Ennyanja Emyufu.”
Isirayiri Awangulwa mu Lutalo
41Ne mulyoka munziramu nti, “Twonoonye eri Mukama. Tujja kwambuka tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.” Awo buli musajja ne yeesiba ebyokulwanyisa bye eby’olutalo, nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsi ey’ensozi.
42Mukama n’aŋŋamba nti, “Bategeeze nti, ‘Temwambuka kulwana, kubanga sijja kubeera nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’ ”
43Bwe ntyo ne mbagamba, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, ne mujjula amalala ne mwambuka mu nsi ey’ensozi. 44Awo Abamoli abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi, ne bavaayo ne babalumba, ne babagoba ng’enjuki bwe zikola, ne babakubira mu Seyiri n’okubatuusiza ddala e Koluma. 45Ne mukomawo, ne mukaabira mu maaso ga Mukama, naye Mukama n’atabawuliriza era ne bye mwamukaabirira n’atabibawa. 46Bwe mutyo ne musigala e Kadesi, okumala ebbanga eryo lyonna lye mwabeera eyo.
1
序文
1-5この書は、モーセがヨルダン川の東、モアブ平原のアラバ渓谷でイスラエルの人々に向けて語った時の記録です。当時、イスラエルの人々はそこに宿営していましたが、付近にはスフ、パラン、トフェル、ラバン、ハツェロテ、ディ・ザハブなどの町がありました。この時、ホレブ山(シナイ山)を出発してから四十年目の第十一月の一日(太陽暦二月十五日)でした。ホレブ山のふもとからカデシュ・バルネア〔約束の地パレスチナの南端〕までは、セイルの山地を通れば、普通なら歩いても十一日ほどで来られます。それはともかく、ヘシュボンでエモリ人の王シホンを、エデレイに近いアシュタロテでバシャンの王オグを打ち破ったあとのことでした。ここにたどり着くまでの間、主はいろいろな律法(教えと定め)をモーセを通して伝えましたが、それを全部まとめて、もう一度、モーセが説明し直したのです。
ホレブ山出発の命令
6「皆さん、今からちょうど四十年前、主がホレブ山でこう言われたのを覚えていますか。『もうこれ以上、ここにいる必要はない。 7向きを変えて出発しなさい。エモリ人の山地、アラバ渓谷、ネゲブ、カナンとレバノンの全土、つまり地中海からユーフラテス川までの全地域を占領するのだ。 8わたしが与えると言うのだから、大胆に入って行きなさい。そこは、昔あなたがたの先祖アブラハム、イサク、ヤコブおよびその子孫に必ず与えると約束した地だからだ。』
指導者たちの任命
9あの時、私はあなたがたにこう訴えました。『私一人では、これから先、とても全員の面倒を見きれない。どうしても助け手がいる。 10主があなたがたを、星の数ほどに増やしてくださったからだ。 11それどころか、お約束どおり今の千倍にもしてくださる。 12こんなに大ぜいでは、もめごとや問題もたくさん起こるだろう。とても一人ではさばききれない。 13そこで頼みたいのだが、各部族から、人生経験が豊かで知恵もあり、物事のよくわかる者を選んでくれないか。その者たちを指導者に任命しよう。』
14みんなが賛成してくれたので、 15私は彼らを助け手として任命しました。一番上に千人の者を指導する長を置き、その下にそれぞれ百人、五十人、十人の者の世話をする長を置いたのです。彼らはめいめい、自分の管理のもとにある人々のもめごとを解決したり、必要な世話をしたりすることになりました。 16当然ですが、いつでも、だれに対しても、たとえ外国人でも決して差別をせず、あくまで正しくふるまうように言いました。 17『決定を下すとき、金持ちの肩をもってはいけない。身分の高い者も低い者も同じように正しく扱いなさい。神様の代わりにさばくのだから、人の不平不満を恐れることはない。手に負えない事件は、私のところに持ってくれば処理しよう。』
18あの時、私はほかにもいろいろと指示しました。
民の不信仰
19-21それからホレブ山を発って、恐ろしく果てしない荒野を旅し、主の守りのもとにエモリ人の山地に着きました。そしてついに、約束の地との境にあるカデシュ・バルネアまで行ったのです。あそこで私はあなたがたに、『主がこの国を下さったのだから、ご命令どおり前進して占領しなさい。恐れたり疑ったりしてはいけない』と告げました。 22これに対してあなたがたは、『まず偵察隊を送り込もう。一番攻めやすい町から占領したほうがいい』と提案したのです。 23もっともなので、各部族から一名ずつ、全部で十二名を選びました。 24-25彼らは山地に潜入し、エシュコルの谷まで行くと、その地のくだものを持ち帰りました。それを見て、主の下さる地が実に良い地であることがはっきりわかりました。 26ところが、あなたがたは神様の命令に逆らい、前進したくないと言いだしたのです。 27そして、天幕(テント)の中でぶつぶつ不平を言いました。『主はきっと、私たちがお嫌いなんだ。だから、わざわざエジプトから連れ出し、エモリ人の手にかけて殺そうとしておられるのだ。 28どうしよう。偵察隊の報告では、彼らは背が高く、力もあり、町の城壁は恐ろしく高いというではないか。そのうえ、アナク人の子孫の巨人を見たとも言っていた。考えるだけでもぞっとする。』 29そこで私は反論しました。『恐れることはない。 30私たちの神、主が先頭に立って戦ってくださる。主は、エジプトでは奇跡を行い、 31その後も父親のように気を配り、荒野の旅を安全に守ってくださったことを忘れたのか。』
32-33しかし、何を言ってもむだでした。それまでいつも共にいて、野営するのに最適の場所を選び、夜は火の柱、昼は雲の柱の中にいて進む道を教えてくださった主を、あなたがたは信じようとしなかったのです。
34-35これには主もお怒りになりました。そのため、当時すでに大人だった者は一人も約束の地に入れなくなりました。 36ただ、エフネの息子カレブは別です。主に従い通したほうびに、自らが偵察して潜入した地の一部を相続地として与えられることになったのです。
37不信仰な者たちのために私でさえ主の怒りを買い、こう言い渡されました。『あなたは約束の地には入れない。 38代わりに、あなたに仕えているヌンの子ヨシュアが指導者となる。その準備ができるように彼を励ましてやりなさい。 39約束の地は、荒野で死ぬ者の子どもたちに与えよう。 40決してあなたがたのものにはならない。だから、向きを変えて荒野の道を紅海の方へ戻りなさい。』
41するとあなたがたは、今度はあわてて罪を告白し始めたのです。『お赦しください。私たちが悪かったのです。ご命令どおり、その国に攻め入ります。』そう言うと、簡単に全地を征服できるとでも思ったのか、あたふたと武装し始めました。 42しかし主は、私にはっきり言われました。『やめさせなさい。わたしがいっしょにいないのに無謀なことをしたら、ひどい目に会うだけだ。』 43ところが、その警告は聞き入れられず、あなたがたはまたもや主の命令に背いて、山地に攻め入ったのです。 44案の定、結果はさんざんでした。エモリ人の返り討ちに会い、逆にセイルからホルマのあたりまで激しく追撃されてしまったのです。 45逃げ帰ったあなたがたは主に泣きつきましたが、主は耳を傾けようとはなさいませんでした。 46こうして、長い間カデシュにとどまることになったのです。