Ebyabaleevi 5 – LCB & CCL

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 5:1-19

Ebikolwa Ebyetaagisa Ebiweebwayo olw’Ekibi

1“ ‘Omuntu bw’ategyengayo ku kintu ky’amanyi, n’awa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango.

2“ ‘Omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, gamba omulambo gw’ensolo ey’omu nsiko etali nnongoofu, oba ku mulambo gw’ente etali nnongoofu, oba ku mirambo gy’ebiramu ebyekulula ebitali birongoofu, ne bw’anaabanga takitegedde, anaabanga afuuse atali mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango. 3Oba bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde mu muntu nga si kirongoofu mu buli ngeri yonna, ne kimufuula atali mulongoofu, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze nga kibi, anaabanga azzizza omusango. 4Omuntu bw’anaayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, oba kirungi oba kibi, ng’amaze galayira nga tafuddeeyo, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze bwe kiri, anaabanga azzizza omusango mu buli ngeri yonna gy’anaabanga alayiddemu. 5Omuntu bw’anazzanga omusango mu kyonna kyonna ku ebyo ebizze byogerwako, anaateekwanga okwatula ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, 6era n’aleeta ekiweebwayo kye olw’omusango eri Mukama olw’ekibi ekyo. Anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi enkazi ng’abiggya mu kisibo kye, nga kye kiweebwayo olw’ekibi; era kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye.

Ebiweebwayo olw’Ebibi eby’Abaavu

7“ ‘Omuntu bw’anaabanga omwavu, nga tasobola kuleeta ndiga nto olw’obwavu bwe, anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri eri Mukama, olw’ekibi omuntu oyo ky’akoze, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi, ekimu nga kye ky’ekiweebwayo olw’ekibi ekirala nga kye ky’ekiweebwayo ekyokebwa. 8Anaabireeteranga kabona, n’asooka okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaanyoolanga ensingo y’ekiweebwayo, naye nga tagikutuddeeko; 9anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mabbali g’ekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo y’ekyoto. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi. 10Kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokubiri nga kye kiweebwayo ekyokebwa ng’agoberera ebiragiro nga bwe bigamba. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye ky’anaabanga akoze, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.

11“ ‘Omuntu oyo omwavu bw’anaabanga tasobola kuleeta bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri, anaaleetanga ekiweebwayo olw’ekibi kye, kimu kya kkumi ekya efa5:11 efa yenkanankana liita nga bbiri eky’obuwunga obulungi okuba ekiweebwayo kye olw’okwonoona. Taabuteekengamu mafuta wadde obubaane, kubanga kiweebwayo olw’ekibi. 12Anaakireeteranga kabona, era kabona anaatoolangako olubatu, nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokera ku kyoto, ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Kino nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 13Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi ky’anaabanga akoze mu bintu ebyo byonna, era anaasonyiyibwanga. Ebyo byonna ebinaasigalangawo ku kiweebwayo kino binaabanga bya kabona, nga bwe kiri mu biragiro by’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke.’ ”

Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Omusango

14Mukama n’agamba Musa nti, 15“Omuntu bw’anazzanga omusango ng’asobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olw’omusango, endiga ennume etaliiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, ye sekeri5:15 sekeri yenkanankana gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango. 16Era anaaliwanga olw’ekyo kye yazzaako omusango mu bitukuvu bya Mukama, era anaayongerangako ekitundu kimu ekyokutaano eky’omuwendo gw’ekyo ky’anabanga asobezza; engassi eyo anaagiwanga kabona. Kabona anaatangiririranga omuntu oyo n’endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango, bw’atyo anaasonyiyibwanga.

17“Omuntu yenna bw’anaayonoonanga n’akola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bw’anaabanga takitegedde, anazzanga omusango. 18Anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ebalirirwamu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. Kabona anaamutangiririranga olw’ekisobyo ky’anaabanga akoze nga tagenderedde, era anaasonyiyibwanga. 19Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango, kubanga anaabanga ayonoonye mu maaso ga Mukama.”

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Levitiko 5:1-19

1“ ‘Ngati munthu anayitanidwa ku bwalo kuti akachitire umboni pa zimene anaziona kapena kuzimva koma iye nʼkukana kuchitira umboni, munthu ameneyo wachimwa ndipo ayenera kulangidwa.

2“ ‘Munthu akakhudza chinthu chilichonse chodetsedwa, monga nyama yakufa ya mʼthengo, kapena chiweto chakufa kapenanso chokwawa chakufa, ngakhale iyeyo wachikhudza mosadziwa, wasanduka wodetsedwa ndipo wachimwa.

3“ ‘Munthu akakhudza choyipitsa munthu cha mtundu uliwonse, ndipo pochikhudzapo ndi kuyipitsidwa nacho mosadziwa, munthuyo adzakhala wopalamula akangodziwa chimene wachitacho.

4“ ‘Munthu akalumbira mofulumira kapena mosasamala kuti adzachita chinthu, choyipa kapena chabwino, ngakhale kuti wachita izi mosadziwa kuti nʼkulakwa, pamene wazindira kulakwa kwake, iye adzakhalabe wopalamula akangodziwa chimene wachitacho.

5“ ‘Pamene munthu wazindikira kuti wachimwa motere, awulule tchimo limene wachitalo. 6Pambuyo pake, munthuyo abwere kwa Yehova ndi mwana wankhosa wamkazi kapena mbuzi kuti ikhale chopereka chopepesera tchimo ndipo wansembe achite mwambo wopepesera tchimo lomwe wachitalo. Tsono wansembe achite mwambo wopepesera tchimo la munthuyo.

7“ ‘Ngati munthuyo alibe mwana wankhosa, abweretse njiwa ziwiri kapena nkhunda ziwiri kwa Yehova ngati chopereka chopepesera tchimo lake. Imodzi ikhale nsembe yopepesera tchimo, ndipo inayo ikhale nsembe yopsereza. 8Tsono abwere nazo kwa wansembe, ndipo wansembeyo ayambe wapereka mbalame imodzi ngati yopepesera tchimo. Apotole khosi koma osayidula mutu, 9kenaka awaze magazi a chopereka chopepesera tchimocho mʼmbali mwa guwa. Magazi ena onse awathire pa tsinde la guwa. Imeneyi ndi nsembe yopepesera tchimo. 10Pambuyo pake wansembe apereke mbalame inayo kuti ikhale chopereka chopsereza potsata mwambo wake. Wansembe atatha kupereka nsembe yopepesera tchimo limene munthu uja wachita, wochimwayo adzakhululukidwa.

11“ ‘Koma ngati munthuyo alibe njiwa ziwiri kapena nkhunda ziwiri, abweretse ufa wosalala wokwanira kilogalamu imodzi kuti ukhale chopereka chopepesera tchimo limene wachita. Asathiremo mafuta kapena lubani chifukwa ndi chopereka chopepesera tchimo. 12Abweretse ufawo kwa wansembe ndipo wansembeyo atapeko dzanja limodzi kuti ukhale ufa wachikumbutso ndi kuwutentha pa guwa pamodzi ndi chopereka chopsereza kwa Yehova. Imeneyi ndi nsembe yopepesera tchimo. 13Umu ndi mmene wansembe adzachitire mwambo wopepesera machimo ena aliwonse amene munthu wachita, ndipo munthuyo adzakhululukidwa. Zopereka zonse zotsala zidzakhala za wansembeyo monga momwe amachitira ndi chopereka chachakudya.’ ”

Chopereka Chopepesera Kupalamula

14Yehova anawuza Mose kuti, 15“Munthu akachita zinthu mosakhulupirika, nachimwa mosadziwa posapereka zinthu zopatulika zofunika kwa Yehova, munthuyo apereke kwa Yehova nsembe yopepesera machimo ake. Nsembeyo ikhale nkhosa yayimuna yopanda chilema ndipo mtengo wake ukhale wokwana masekeli oyenera a siliva pakawerengedwe ka ku Nyumba ya Mulungu. Imeneyi ndi nsembe yopepesera kupalamula. 16Munthuyo ayenera kubweza zinthu zopatulika zimene sanaperekezo. Awonjezepo chimodzi mwa zigawo zisanu zilizonse ndi kuzipereka zonsezo kwa wansembe amene adzachita mwambo wopepesera machimo a munthuyo, popereka nkhosa yayimuna ija ngati nsembe yopepesera ndipo wochimwayo adzakhululukidwa.

17“Ngati munthu wachimwa mosadziwa pochita chilichonse chimene Yehova salola, munthuyo ndi wopalamula ndithu, ndipo ayenera kulangidwa. 18Abwere kwa wansembe ndi chopereka chopepesera kupalamula kwake. Chopereka chikhale nkhosa yayimuna yopanda chilema ndipo mtengo wake ukhale woyenera nsembe yopepesera kupalamula kumene anachimwa mosadziwako, ndipo munthuyo adzakhululukidwa. 19Imeneyi ndi nsembe yopepesera kupalamula popeza munthuyo wapezeka wolakwa pamaso pa Yehova.”