Ebyabaleevi 3 – LCB & AKCB

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 3:1-17

Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Emirembe

1“ ‘Omuntu bw’anaaleetanga ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, ekiweebwayo ekyo nga kya nte nnume oba nkazi gy’aggye mu kiraalo kye, ente eyo tebeerengako kamogo. 2Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo anaakwatanga omutwe gwakyo n’akittira ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu; batabani ba Alooni, bakabona, ne balyoka bamansira omusaayi ku kyoto okukyebungulula. 3Omu ku bakabona anaggyanga ebintu bino mu kiweebwayo olw’emirembe ekireeteddwa nga kyokeddwa mu muliro, nga kye kiweebwayo eri Mukama; anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 4n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 5Kale batabani ba Alooni banaabyokeranga kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

6“ ‘Omuntu anaggyanga mu kisibo kye ekisolo ekisajja oba ekikazi nga tekiriiko kamogo, n’akiwaayo eri Mukama. 7Bw’anaaleetanga endiga ento nga kye kiweebwayo kye eri Mukama, 8anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. 9Mu kiweebwayo olw’emirembe ky’anaaleetanga okuwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama nga kyokebwa mu muliro, anaggyangamu bino n’abiwaayo eri Mukama: anaawangayo amasavu n’omukira gwonna n’amasavu gaagwo, nga gusaliddwako okumpi n’omugongo, n’amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 10n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba, nga biggyibwako wamu n’ensigo. 11Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo eri Mukama nga kyokeddwa mu muliro.

12“ ‘Ekiweebwayo kye bwe kinaabanga embuzi, anaagiwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; 13anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. 14Awo anaawangayo ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro ng’akiggya okwo: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, 15n’ensigo zombi n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 16Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo nga kyokebwa mu muliro okuvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Amasavu gonna ganaabanga ga Mukama.

17“ ‘Ekintu kino kinaabeeranga etteeka ery’ebiro byonna okuyita mu mirembe eginaagendanga giddiriragana mu bifo byonna gye munaabeeranga. Temulyanga masavu wadde omusaayi.’ ”

Akuapem Twi Contemporary Bible

3 Mose 3:1-17

Asomdwoe Afɔrebɔ

1“ ‘Sɛ obiara pɛ sɛ ɔbɔ asomdwoe afɔre ma Awurade a, otumi de nantwinini anaa nantwibere bɔ, nanso ɛsɛ sɛ aboa no yɛ nea ne ho nni dɛm biara. 2Onipa a ɔde aboa no aba no de ne nsa begu aboa no apampam na wakum no wɔ Ahyiae Ntamadan no ano. Na Aaron mmabarima asɔfo no apete aboa no mogya agu afɔremuka no ho. 3Ɛsɛ sɛ mufi asomdwoe afɔre mu de nʼayamde ne srade a ɛwɔ ho nyinaa bɛbɔ aduan afɔre ma Awurade, 4a nʼasaabo abien no ne ne sisi ne nea ne mmerɛbo sa so a mubeyi aka asaabo no ho no. 5Na ɛsɛ sɛ Aaron mma hyew wɔ afɔremuka no so, wɔ ɔhyew afɔre a ɛda dua a ɛrehyew no so; ɛyɛ aduan afɔre, ehua a ɛsɔ Awurade ani.

6“ ‘Sɛ abirekyi anaa oguan na mode bɛbɔ asomdwoe afɔre ama Awurade a, ɛnsɛ sɛ dɛm biara ba ne ho na ɛsɛ sɛ ɔyɛ onini anaa ɔbere. 7Sɛ mode oguan ba sɛ mo akyɛde a, 8momfa mo nsa ngu nʼapampam na munkum no wɔ Ahyiae Ntamadan no kwan ano. Afei, Aaron mmabarima no bɛpete mogya no agu afɔremuka no ho nyinaa. 9Saa asomdwoe afɔrebɔde yi fa bi na wɔmfa mma Awurade sɛ ɔhyew afɔrebɔde a ne dua ne mu nneɛma ne ɛho srade, srade a ɛwɔ nʼayamde ho no nyinaa, 10ne asaabo abien ne ɛho srade a ɛbɛn ne sisia ne ne merɛbo a wobeyi a nʼasaabo ka ho no. 11Ɔsɔfo no bɛhyew no wɔ afɔremuka no so sɛ aduan a ɛyɛ ɔhyew afɔre ama Awurade.

12“ ‘Sɛ wode abirekyi brɛ Awurade sɛ wʼafɔrebɔde a, 13fa wo nsa gu aboa no apampam na kum no wɔ Ahyiae Ntamadan no kwan ano. Aaron mmabarima de aboa no mogya bɛpete afɔremuka no ho nyinaa. 14Ɛsɛ sɛ wɔhyew saa afɔrebɔde yi fa bi ma Awurade. Saa afɔrebɔde fa no yɛ aboa no yam srade, 15nʼasaabo abien ne ɛho srade a ɛbɛn nʼasen mu ne ne mmerɛbo a wobeyi aka ne asaabo no ho no. 16Ɔsɔfo no bɛhyew wɔ afɔremuka no so sɛ ɔhyew afɔre. Awurade ani bɛsɔ saa ɔhyew afɔre no. Kae sɛ srade no nyinaa yɛ Awurade dea.

17“ ‘Eyi ne mmara a munni so daa nyinaa wɔ asase yi so baabiara. Munnni srade anaa mogya.’ ”