Etteeka ery’Ekiweebwayo eky’Empeke
12:1 a Lv 6:14-18 b Kbl 15:4“ ‘Omuntu yenna bw’anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke; empeke anaamalanga kuzisa, n’aleeta obuwunga obulungi. Anaabufukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ateekako n’obubaane, 22:2 a Lv 5:11 b Lv 6:15; Is 66:3 c nny 9, 16; Lv 5:12; 6:15; 24:7; Bik 10:4n’alyoka abuleetera batabani ba Alooni, bakabona. Kabona anaayoolanga olubatu lw’obuwunga obulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, n’abwokya mu kyoto ng’ekijjukizo, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 32:3 nny 10; Lv 6:16; 10:12, 13Obuwunga obunaasigalangawo ku kiweebwayo, bunaatwalibwanga Alooni ne batabani be, nga kye kitundu ekitukuvu ennyo eky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.
42:4 Kuv 29:2“ ‘Bw’onooleetanga emigaati egifumbiddwa mu oveni nga kye kiweebwayo, ginaabanga emigaati egikoleddwa mu buwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni nga tegiriimu kizimbulukusa, oba bunaabanga obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 5Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kitegekeddwa ku lukalango, kinaakolebwanga mu buwunga obulungi obutaliimu kizimbulukusa nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. 6Onookimenyaamenyanga mu butundutundu, n’okifukako amafuta ag’omuzeeyituuni. Ekyo kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. 72:7 Lv 7:9Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kyakufumbirwa mu fulampeni, kinaateekebwateekebwanga mu buwunga obulungi n’amafuta ag’omuzeeyituuni. 8Onooleeteranga Mukama ekiweebwayo ekyo eky’emmere ey’empeke ekitabuddwa mu bintu ebyo; bwe kinaakwasibwanga kabona, ye anaakireetanga ku kyoto. 92:9 a nny 2 b Kuv 29:18; Lv 6:15Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 102:10 nny 3Era ekinaafikkanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, Alooni ne batabani be, be banaakitwalanga; nga kye kitundu ekitukuvu ennyo ekibalirwa ku biweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.
Ekizimbulukusa n’Omunnyo
112:11 Kuv 23:18; 34:25; Lv 6:16“ ‘Temuleeteranga Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kiteekeddwamu n’ekizimbulukusa; kubanga temuuyokyenga kizimbulukusa wadde omubisi gw’enjuki ng’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. 122:12 Lv 7:13; 23:10Munaabireetanga eri Mukama ng’ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye, naye tebiiweerwengayo ku kyoto okubeera evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 132:13 Kbl 18:19; Ez 43:24Ebiweebwayo byo byonna eby’emmere ey’empeke onoobirungangamu omunnyo2:13 omunnyo Omunnyo guyamba emmere obutavunda.: tokkirizanga munnyo ogw’endagaano ne Katonda wo okubula mu biweebwayo byo eby’emmere ey’empeke; mu biweebwayo byo byonna ossangamu omunnyo.
142:14 Lv 23:10“ ‘Bw’onooleetanga eri Mukama ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye eby’emmere ey’empeke, binaabanga ebirimba ebibisi ebibereberye eby’emmere ey’empeke nga bibetenteddwa era nga byokeddwako mu muliro. 15Onoobifukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’obiteekangako n’obubaane; ekyo nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. 162:16 nny 2Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekimaze okubetentebwa nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya; ekyo nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.
献素祭的条例
1“如果有人献素祭给耶和华,要用细面粉作祭物。要在细面粉上浇油、加乳香, 2带到做祭司的亚伦子孙那里。祭司要抓一把浇了油的细面粉,连同所有乳香放在坛上焚烧,作为象征。这是蒙耶和华悦纳的馨香火祭。 3剩下的素祭要归亚伦及其子孙,这在献给耶和华的火祭中是至圣之物。
4“如果献用炉子烤的素祭,要献调油的无酵细面饼,或涂油的无酵薄饼。
5“如果献用平底锅烤的素祭,要献调油的无酵细面饼。 6要把饼掰成碎块,浇上油。这是素祭。
7“如果献用煎锅煎的素祭,要献用细面粉和油做的祭物。
8“要把这样做好的素祭带到耶和华面前,交给祭司献在祭坛上。 9祭司要从中取出一部分,作为象征放在祭坛上焚烧。这是蒙耶和华悦纳的馨香火祭。 10剩下的素祭要归亚伦及其子孙。这在献给耶和华的火祭中是至圣之物。
11“献给耶和华的任何素祭都不可含酵,因为你们不可把酵或蜜当作火祭献给耶和华。 12你们可以把酵和蜜作为初熟之祭献给耶和华,但不可作为馨香之祭献在祭坛上。 13所有素祭都要用盐调味,不可少了你们与上帝立约的盐。所有祭物中都要放盐。
14“如果将初熟的谷物献给耶和华作素祭,要用烘好后压碎的新麦穗, 15加上油和乳香。这是素祭。 16祭司要将一些压碎的麦穗、油及所有乳香作为象征焚烧。这是献给耶和华的火祭。