Ebikolwa byʼAbatume 3 – LCB & HHH

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 3:1-26

Peetero Awonya Omulema

1Awo Peetero ne Yokaana bwe baali bagenda mu Yeekaalu mu kusaba okw’essaawa omwenda, 2ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza. 3Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n’abasaba ensimbi. 4Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n’alyoka amugamba nti, “Tutunuulire!” 5N’abatunuulira ng’asuubira okuweebwayo akantu.

6Naye Peetero n’agamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!” 7Awo Peetero n’akwata omulema ku mukono ogwa ddyo n’amuyimusa, amangwago ebigere by’omusajja n’obukongovvule ne bifuna amaanyi, 8n’abuuka n’ayimirira n’atandika okutambula! N’ayingira nabo mu Yeekaalu ng’atambula era nga bw’abuuka ng’atendereza Katonda. 9Abantu bonna ne baamulaba ng’atambula, era ng’atendereza Katonda, 10ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ng’asabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olw’ekyo ekimutuuseeko.

Okwogera kwa Peetero mu Yeekaalu

11Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde. 12Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono? 13Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula, 14naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu. 15Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa. 16Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.

17“Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era n’abakulembeze bammwe nabo bwe batyo. 18Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo. 19Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe, 20mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda, 21eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. 22Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba. 23Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’

24“Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno. 25Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’ 26Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”

Habrit Hakhadasha/Haderekh

מעשי השליחים 3:1-26

1יום אחד, בשעה שלוש אחר־הצהריים, הלכו פטרוס ויוחנן לתפילת מנחה בבית־המקדש. 2כשהגיעו אל המקדש, ראו אדם שהיה פיסח מלידה, יושב ליד השער הנקרא ”המהודר“. הוא הובא לשם מדי יום כדי לקבץ נדבות. 3כאשר עברו פטרוס ויוחנן לידו, הוא ביקש נדבה גם מהם. 4השניים נעצו באיש מבט נוקב, ופטרוס אמר לו: ”הבט אלי!“

5הפיסח הרים את עיניו בתקווה לקבל תרומה נדיבה.

6אך פטרוס אמר: ”כסף אין לי, אולם אתן לך את מה שיש לי; בשם ישוע המשיח מנצרת, התהלך!“

7‏-8פטרוס אחז בידו של הפיסח והעמידו על רגליו. באותו רגע נרפאו רגלי האיש וקרסוליו התחזקו, הוא קפץ על רגליו והחל ללכת! האיש הלך איתם לבית־המקדש, כשהוא משבח את האלוהים, מקפץ ומדלג בשמחה.

9באי בית־המקדש, שראוהו הולך ומדלג, ושמעוהו מהלל את ה׳, 10הכירו את הקבצן הפיסח שנהגו לראות בשער המקדש, והופתעו מאוד.

11כולם מיהרו לצאת לאולם שלמה כדי לראות את הפלא, ואילו הקבצן נצמד בחזקה אל פטרוס ויוחנן.

12פטרוס ניצל את ההזדמנות ופנה אל העם: ”אנשי ישראל, מדוע אתם מופתעים כל־כך? מדוע אתם מביטים בנו כאילו שבכוחנו ובקדושתנו אנו אפשרנו לאיש הזה ללכת? 13אלוהי אברהם, יצחק ויעקב – אלוהי אבותינו – הוא שהביא כבוד ותפארת לשם עבדו ישוע באמצעות הנס שחולל. כן, אני מתכוון לאותו ישוע שמסרתם לרומאים, ושדחיתם את הצעת פילטוס לשחררו. 14סירבתם לשחרר את הקדוש והצדיק הזה, ודרשתם שפיליטוס ישחרר במקומו רוצח! 15וכך הרגתם את שר החיים; אך אלוהים הקימו מן המתים. יוחנן ואני עדים לעובדה זאת, כי לאחר שהרגתם את ישוע ראינו אותו חי וקיים.

16”האמונה בשמו של ישוע היא שריפאה אדם זה שכולכם הכרתם כפיסח. האמונה בישוע – שניתנה לנו מאלוהים – היא שריפאה אותו כליל!

17”אחים יקרים, אני יודע שכל מה שעשיתם אתם ומנהיגיכם לישוע, עשיתם מתוך בורות וחוסר ידיעה. 18אולם כך קיים אלוהים את הנבואות האומרות שהמשיח חייב לסבול. 19‏-20לכן חזרו בתשובה והאמינו באלוהים, כדי שיסלח לחטאיכם, ייתן לכם ימי שגשוג ורווחה, ויחזיר לכם את המשיח המיועד – ישוע המשיח. 21כי המשיח צריך להישאר בשמים, עד שתגיע העת להשלים את הכול, כפי שאמרו הנביאים לפני זמן רב. 22משה רבנו אמר:3‏.22 ג 22‏-23 ראה דברים יח 18‏-19 ’נביא מקרבכם – מאחיכם – כמוני, יקים לכם ה׳ אלוהיכם, אליו תשמעון‘; הקשיבו לדבריו בכובד ראש! 23כי מי שלא ישמע בקולו ייענש חמורות בידי ה׳!

24”גם שמואל וכל הנביאים שקמו אחריו דברו על מה שמתרחש היום. 25אתם הצאצאים של אותם הנביאים, וגם אתם כלולים באותה הברית שכרת ה׳ עם אבותיכם, שבה הבטיח לברך את העולם כולו באמצעות עם ישראל. הרי ה׳ הבטיח לאברהם אבינו:3‏.25 ג 25 בראשית כב 18 ’והתברכו בזרעך כל גויי הארץ‘. 26וכאשר הקים אלוהים את עבדו ישוע מן המתים, הוא שלח אותו קודם כל אליכם, בני ישראל, כדי לברך אתכם שתחזרו בתשובה.“