Ebikolwa byʼAbatume 24 – LCB & NASV

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 24:1-27

Pawulo Awozesebwa mu Maaso ga Ferikisi

1Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’atuuka mu Kayisaliya ng’ali n’abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya era ng’aleese n’omwogezi omulungi erinnya lye Terutuulo, eyannyonnyola gavana emisango egyali givunaanibwa Pawulo. 2Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n’ayitibwa ategeeze ekivunaanibwa Pawulo, n’awoza bw’ati nti, “Oweekitiibwa, ffe Abayudaaya otuwadde eddembe, n’enkulaakulana olw’amagezi go. 3Tukwebaza nnyo olwa bino byonna by’otukoledde. 4Obutayagala kukukooya, nsaba ompulirize akaseera katono nga mpitaayita mu byangu ku nsonga ze tuvunaana omusajja ono.

5“Omusajja ono tumulabye nga wa mutawaana nnyo, kubanga akuma omuliro mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, basasamale era bajeemere gavumenti y’Abaruumi, omukulembeze mu ttabi ly’eddiini erimanyiddwa ng’ery’Abannazaalaayo. 6N’okugezaako yali agezaako okwonoona Yeekaalu, ne tumukwata. Twali tugenda okumusalira omusango n’ekibonerezo ng’amateeka gaffe bwe galagira, 7naye Lusiya, omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’atumuggyako n’amaanyi, 8n’alagira nti awozesebwe mu mateeka g’Ekiruumi, era n’alagira abamuwawaabira bajje wano mu maaso go. Bw’onoogenda ng’omubuuza ebintu bino byonna, amazima g’ensonga zaffe gajja kweyoleka.”

9Olwo n’Abayudaaya abalala ne boogera nga bawagira ebyo Terutuulo bye yawoza nti bya mazima.

10Oluwalo lwa Pawulo ne lutuuka, gavana n’amuwenya asituke ayogere. Pawulo n’ayanukula nti, “Mmanyi, ssebo, nga bw’osaze emisango egifa ku nsonga zaffe ez’Ekiyudaaya okumala emyaka emingi, ekyo kimpa obugumu nga mpoleza mu maaso go. 11Ggwe bw’onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nyambuka mu Yerusaalemi okusinza mu Yeekaalu. 12Abo abampawaabira tebansisinkanangako nga nnina gwe nnyumya naye mu Yeekaalu, wadde nga nsasamaza ekibiina mu kuŋŋaaniro oba awalala wonna mu kibuga. 13Era tebayinza kukulaga bukakafu bwonna ku bintu bino bye bampawaabira nti nabikola. 14Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda n’okumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe n’obulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka g’Ekiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi. 15Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’ababi. 16Olw’essuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba n’emmeeme ennongoofu eri Katonda n’eri abantu.

17“Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nga siriiwo, nakomawo mu Yerusaalemi ng’Abayudaaya mbaleetedde n’ensimbi ez’okubayamba, nga nange neeretedde ekirabo eky’okuwaayo eri Katonda mu Yeekaalu. 18Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze n’okumwa omutwe ng’amateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo. 19Naye waliwo Abayudaaya abava mu kitundu kye Asiya era basaanye babeewo wano boogere obanga balina kye banvunaana. 20Oba si ekyo buuza bano abali wano kaakano, bakutegeeze omusango Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu gwe lwandabako, bwe nayimirira mu maaso gaalwo. 21Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kw’abafu!’ ”

22Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n’agamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi w’abaserikale mu Yerusaalemi, bw’alituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.” 23N’alagira Pawulo azzibweyo mu kkomera akuumibwe, naye ng’alekerwamu ku ddembe, ne mikwano gye bakkirizibwe okujjanga okumulaba n’okumuleetera bye yeetaaga.

24Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n’ajja ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya. N’atumya Pawulo, ne bamuwuliriza ng’abategeeza ku kukkiriza Kristo Yesu. 25Awo Pawulo bwe yagenda abannyonnyola ebikwata ku butuukirivu, n’okwefuga mu bikolwa, n’okusalirwa omusango okugenda okujja, Ferikisi n’atya nnyo, n’agamba Pawulo nti, “Ebyo binaagira bimala! Kaakano genda, bwe ndifuna ekiseera ekirungi ndyongera okukuyita.” 26Era Ferikisi yali asuubira nti Pawulo ajja kumuwa enguzi, kyeyava amutumya emirundi mingi n’ayogera naye.

27Ne wayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu bigere bya Ferikisi. Naye Ferikisi olw’okwagala Abayudaaya bamusiime, bwe yali agenda n’aleka nga Pawulo musibe mu kkomera.

New Amharic Standard Version

ሐዋርያት ሥራ 24:1-27

ጳውሎስ በፊልክስ ፊት ቀረበ

1ከአምስት ቀን በኋላ፣ ሊቀ ካህናቱ ሐናንያ ከአንዳንድ ሽማግሌዎችና ጠርጡለስ ከሚባል ጠበቃ ጋር ወደ ቂሳርያ ወረደ፤ በጳውሎስም ላይ ያላቸውን ክስ ለአገረ ገዥው አቀረቡ። 2ጳውሎስ ተጠርቶ በቀረበ ጊዜ፣ ጠርጠሉስ እንዲህ ሲል ክሱን አቀረበ፤ “ክቡር ፊልክስ ሆይ፤ በአንተ ዘመን ሰላም ለብዙ ጊዜ ሰፍኖልናል፤ አርቆ አስተዋይነትህም ለዚህ ሕዝብ መሻሻልን አስገኝቶለታል፤ 3በየቦታውና በየጊዜው ይህን ውለታ በታላቅ ምስጋና እንቀበላለን። 4ነገር ግን ይበልጥ እንዳላደክምህ፣ በዐጭሩ እንድትሰማን መልካም ፈቃድህን እለምንሃለሁ።

5“ይህ ሰው፣ በዓለም ባሉት አይሁድ ሁሉ መካከል በሽታ ሆኖ ሁከት የሚያስነሣ፣ ደግሞም የናዝራውያን ወገን ቀንደኛ መሪ ሆኖ አግኝተነዋል። 6ከዚህም በላይ ቤተ መቅደሱን ለማርከስ ሲሞክር አግኝተን ያዝነው። በሕጋችንም መሠረት ልንፈርድበት አስበን ነበር፤ 7ነገር ግን የጦር አዛዡ ሉስዮስ መጥቶ በታላቅ ኀይል ከእጃችን ነጥቆ ወሰደው፤ ከሳሾቹም ወደ አንተ እንዲመጡ አዘዘ።24፥7 አንዳንድ የጥንት ቅጆች ቍ7 የላቸውም። 8እንግዲህ አንተ ራስህ መርምረኸው እርሱን የከሰስንበትን ነገር ሁሉ እውነት መሆኑን ልታረጋግጥ ትችላለህ።”

9አይሁድም ነገሩ እንደ ተባለው መሆኑን በመደገፍ በክሱ ተባበሩ።

10አገረ ገዥውም እንዲናገር በእጁ ምልክት በሰጠው ጊዜ፣ ጳውሎስ እንዲህ ሲል መለሰ፤ “ከብዙ ዘመን ጀምሮ የዚህ ሕዝብ ፈራጅ መሆንህን ዐውቃለሁ፤ ስለዚህ የመከላከያ መልሴን የማቀርበው በደስታ ነው። 11ልሰግድ ወደ ኢየሩሳሌም የመጣሁት ከዐሥራ ሁለት ቀን በፊት መሆኑን አንተው ራስህ በቀላሉ ማረጋገጥ ትችላለህ። 12ከሳሾቼም በቤተ መቅደስ ከማንም ጋር ስከራከር ወይም በምኵራብ ወይም በከተማ ውስጥ በየትኛውም ስፍራ ሕዝብን ሳነሣሣ አላገኙኝም። 13አሁንም ለተከሰስሁበት ነገር ማስረጃ ሊያቀርቡልህ አይችሉም። 14ይሁን እንጂ፣ እነርሱ ኑፋቄ በሚሉት በጌታ መንገድ የአባቶቻችንን አምላክ አመልካለሁ፤ በሕጉ የታዘዘውንና በነቢያት የተጻፈውን ሁሉ አምናለሁ፤ 15ደግሞም እንደነዚህ ሰዎች ሁሉ፣ ጻድቃንና ኀጥኣን ከሙታን እንደሚነሡ በእግዚአብሔር ተስፋ አለኝ። 16ስለዚህ በእግዚአብሔርና በሰው ፊት ንጹሕ ኅሊና እንዲኖረኝ ሁልጊዜ እጥራለሁ።

17“ከብዙ ዓመት በኋላም፣ ለድኻው ወገኔ ምጽዋትና መባ ይዤ ወደ ኢየሩሳሌም መጣሁ። 18እነርሱም በቤተ መቅደስ የመንጻት ሥርዐት ፈጽሜ ይህንኑ ሳደርግ አገኙኝ፤ የሕዝብ ሁካታ ወይም ረብሻ አልነበረም። 19ነገር ግን ክስ ካላቸው አንተ ፊት ቀርበው ሊከስሱ የሚገባቸው ከእስያ አውራጃ የመጡ አንዳንድ አይሁድ አሉ፤ 20ወይም በዚህ ያሉት እነዚህ በሸንጎው ፊት ቀርቤ በነበረበት ጊዜ ያገኙብኝ ወንጀል ካለ ይናገሩ፤ 21በመካከላቸው በቆምሁበት ጊዜ ስለ ሙታን ትንሣኤ ከተናገርሁት አንድ ነገር በስተቀር ዛሬ ተከስሼ የቀረብሁበት ሌላ ነገር የለም።”

22ፊልክስ ግን የጌታን መንገድ በሚገባ ዐውቆ ስለ ነበር፣ “የጦር አዛዡ ሉስዮስ ሲመጣ ለጕዳያችሁ ውሳኔ እሰጣለሁ” ብሎ ነገሩን በቀጠሮ አሳደረው። 23ከዚያም ለጳውሎስ መጠነኛ ነጻነት እየሰጠ እንዲጠብቀውና ወዳጆቹም ገብተው እንዲጠይቁት ፈቃድ እንዲሰጣቸው የመቶ አለቃውን አዘዘው።

24ከጥቂት ቀን በኋላ፣ ፊልክስ ከአይሁዳዊት ሚስቱ ከድሩሲላ ጋር መጣ፤ ጳውሎስንም አስጠርቶ በክርስቶስ ኢየሱስ ስለ ማመን ሲናገር አደመጠው። 25ጳውሎስ ስለ ጽድቅና ራስን ስለ መግዛት ስለሚመጣውም ፍርድ በሚናገርበት ጊዜ ግን ፊልክስ ፈርቶ፣ “ለጊዜው ይህ ይበቃል፤ ወደ ፊት ሲመቸኝ አስጠራሃለሁ፤ አሁን ልትሄድ ትችላለህ” አለው። 26ደግሞም ከጳውሎስ ጕቦ ለመቀበል ተስፋ ያደርግ ስለ ነበር፣ በየጊዜው እያስጠራ ያነጋግረው ነበር።

27ሁለት ዓመት ካለፈ በኋላም፣ ፊልክስ በጶርቅዮስ ፊስጦስ ተተካ፤ ፊልክስም አይሁድን ለማስደሰት ሲል፣ ጳውሎስን እንደ ታሰረ ተወው።