Danyeri 10 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 10:1-21

Danyeri Alaba Malayika mu Kwolesebwa

1Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Buperusi, Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’afuna okwolesebwa okulala. Ekigambo kye yafuna kyali kya mazima nga kyogera ku lutalo olw’amaanyi. N’ategeera obubaka obwamuweebwa mu kwolesebwa okwo.

2Mu biro ebyo, nze Danyeri ne mmala wiiki ssatu nga nkungubaga. 3Saalya ku mmere ennungi, newaakubadde ennyama wadde okunywa ku wayini; era ne nsiwuukira ddala okumala wiiki ssatu.

4Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga nyimiridde ku mabbali g’omugga omunene Tigiriisi, 5ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula waggulu, ne ndaba omusajja ayambadde linena, nga yeesibye olukoba olwa zaabu ennongooseemu mu kiwato. 6Omubiri gwe gwali gumasamasa ng’ejjinja erya berulo, n’ekyenyi kye nga kiri ng’okumyansa okw’eggulu, n’amaaso ge nga gali ng’ettabaaza ez’omuliro, n’emikono gye n’amagulu ge nga biri ng’ebbala ly’ekikomo ekizigule, n’eddoboozi lye ng’oluyoogaano olw’ekibiina ekinene.

7Nze Danyeri nzekka, nze nalaba okwolesebwa okwo, abasajja be nnali nabo tebaakulaba, wabula bajjula entiisa, ne badduka ne beekweka. 8Ne nsigala nzekka, nga neewuunya okwolesebwa okunene okwo; ne nzigwamu amaanyi; amaaso gange ne gayongobera, ne mba, nga seesobola. 9Awo ne mpulira ng’ayogera, era bwe nnali nga nkyamuwuliriza, ne neebaka otulo tungi nnyo, amaaso gange nga gatunudde wansi ku ttaka.

10Ne wabaawo omukono ogunkwatako, emikono gyange n’amaviivi gange ne bitanula okujugumira. 11N’aŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gy’oli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana.

12N’alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olw’ebigambo byo. 13Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana n’omulangira w’e Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu n’ajja n’annyamba, kubanga kabaka w’e Buperusi yali ankwatidde eyo. 14Kaakano nzize okukunnyonnyola ebigenda okutuuka ku bantu bo mu biro eby’omu maaso; kubanga bye wayolesebwa byogera ku biro ebigenda okujja.”

15Awo bwe yali ng’akyambuulira ebyo, ne nkutama, ne ntunuza amaaso gange wansi, ne nsirika. 16Awo ne wajja eyafaanana ng’omuntu n’akoma ku mimwa gyange, ne ntanula okwogera. Ne ŋŋamba eyali annyimiridde mu maaso nti, “Mukama wange nzijjudde obuyinike, era n’amaanyi sirina olw’ebyo bye njolesebbwa. 17Nnyinza ntya nze omuddu wo okwogera naawe ggwe mukama wange? Amaanyi gampweddemu, sikyayinza na kussa bulungi mukka.”

18Nate eyafaanana ng’omuntu n’ankomako n’anzizaamu amaanyi. 19N’aŋŋamba nti, “Ggwe omwagalwa ennyo, totya. Emirembe gibeere gy’oli, guma omwoyo era beera n’obuvumu.”

Awo bwe yayogera nange, ne nziramu amaanyi, ne njogera nti, “Yogera mukama wange, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”

20N’alyoka ayogera nti, “Ekindeese gy’oli okimanyi? Mu bbanga eritali ly’ewala, nzija kuddayo okulwanyisa omulangira ow’e Buperusi, era bwe ndimuwangula, omulangira ow’e Buyonaani alijja. 21Naye okusooka byonna, ka nkutegeeze ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo eky’amazima: Tewali n’omu ambeera okuggyako Mikayiri, omulangira wammwe abakuuma.

New Russian Translation

Даниил 10:1-21

Видение Даниила у реки Тигр

1На третий год правления Кира, царя Персии10:1 537 г. до н. э., Даниилу (называемому также Белтешаццаром) было дано откровение. Его весть истинна и относится к великой войне10:1 Или: «истинна и тяжела».. Понимание вести было дано ему в видении.

2В то время я, Даниил, скорбел в течение трех недель10:2 Букв.: «три седмицы дней»; также в ст. 3.. 3Я не ел вкусной пищи, мясо и вино не касались моих губ, и я не умащался благовонными маслами, пока не прошли три недели.

4На двадцать четвертый день первого месяца10:4 23 апреля 536 г. до н. э., когда я стоял на берегу великой реки Тигра, 5я поднял глаза и увидел: стоит некто в льняных одеждах и с поясом из уфазского золота. 6Его тело было как хризолит, лицо – как молния, глаза – как пламенеющие факелы, руки и ноги – как отполированная бронза, а голос – как шум от множества людей.

7Я, Даниил, был единственным, кто видел это видение; люди, бывшие со мной, не видели его, но их охватил такой ужас, что они убежали и попрятались. 8Я остался один и смотрел на это великое видение. Во мне не осталось сил, мое лицо смертельно побледнело, и я ослабел. 9Затем я услышал, как он говорит, и слушая его, упал ничком в глубокий обморок.

10Но рука прикоснулась ко мне и поставила меня, дрожащего, на мои колени и на руки. 11Он сказал:

– Даниил, ты, кто крепко любим, вникни в слова, которые я тебе скажу, и встань, потому что я послан сейчас к тебе.

Когда он сказал мне это, я, дрожа, встал. 12Тогда он продолжил:

– Не бойся, Даниил. С самого первого дня, когда ты решил обрести понимание и смирить себя перед твоим Богом, твои слова были услышаны, и по твоим словам пришел я. 13Но князь Персидского царства противостоял мне двадцать один день, и Михаил, один из великих князей, пришел мне на помощь; я оставался там с царями Персии10:13 В некоторых древних переводах: «я оставил его там с вождем Персии».. 14А теперь я пришел, чтобы объяснить тебе то, что произойдет с твоим народом в будущем, потому что видение относится ко времени, которое еще лишь грядет.

15Когда он говорил мне это, я припал лицом к земле и был безмолвен. 16Тогда тот, кто выглядел, как человек, прикоснулся к моим губам, и я открыл рот и начал говорить. Я сказал тому, кто стоял передо мной:

– Мой господин, от этого видения меня охватила такая скорбь, что во мне не осталось сил. 17Как же мне, твоему слуге, говорить с тобой, мой господин? Во мне нет сил, и я едва дышу.

18И снова тот, кто был похож на человека, прикоснулся ко мне и придал мне сил.

19– Не бойся, тот, кто крепко любим, – сказал он. – Мир тебе! Мужайся, мужайся!

Когда он говорил со мной, я укрепился и сказал:

– Говори, мой господин, потому что ты придал мне сил.

20И он сказал:

– Знаешь, почему я пришел к тебе? Скоро я возвращусь, чтобы воевать с князем10:20 То есть с ангелом-покровителем. Персии, и когда я возьму над ним верх, придет князь10:20 То есть ангел-покровитель. Греции. 21Но сначала я скажу тебе то, что написано в книге Истины. (Никто не поддерживает меня против них, кроме Михаила, вашего князя10:21 То есть ангела-покровителя..