Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Olubereberye 1

Entandikwa

1Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi. Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.

Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu. Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza. Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.

Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.” Bw’atyo Katonda n’akola ebbanga okwawula wansi n’amazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo. Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.

Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo. 10 Katonda olukalu n’aluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go n’agayita ennyanja. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.

11 Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo. 12 Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 13 Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.

14 Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka. 15 Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo. 16 Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, n’ekitono kifugenga ekiro, n’akola n’emmunyeenye. 17 Awo Katonda n’abiteeka mu bbanga ly’eggulu byakenga ku nsi, 18 enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu n’ekizikiza. Katonda n’alaba ng’ekyo kirungi. 19 Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.

20 Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.” 21 Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 22 Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.” 23 Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.

24 Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali. 25 Katonda n’atonda ensolo ez’oku nsi eza buli ngeri, n’ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.

26 Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”

27 Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,
    mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;
    n’abatonda omusajja n’omukazi.

28 Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”

29 Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga. 30 Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.

31 Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.

Bibelen på hverdagsdansk

1 Mosebog 1

Hvordan Gud skaber universet

1I begyndelsen skabte Gud himlen og jorden. Jorden var øde og tom, og urdybet lå hen i totalt mørke, men Guds Ånd svævede over de mørke vande.

Så sagde Gud: „Der skal blive lys!” og så var der lys. Gud glædede sig over lyset, og han satte skel mellem lyset og mørket. Tiden med lys kaldte han dag, og tiden med mørke kaldte han nat. Det blev aften, og det blev morgen. Det var den første dag.

Så sagde Gud: „Der skal være en hvælving midt i alt vandet til at dele det.” Og Gud dannede en hvælving, så vandet ovenfor den blev adskilt fra vandet nedenfor den. Hvælvingen kaldte han himmel. Det blev aften, og det blev morgen. Det var den anden dag.

Dernæst sagde Gud: „Vandet under himmelhvælvingen skal samle sig, så det tørre land kommer til syne.” Og sådan skete det. 10 Det tørre land kaldte han jord, og de steder, hvor vandet var, kaldte han hav; og Gud glædede sig over sit værk.

11 Derpå sagde Gud: „Grønne planter, der bærer frø, skal spire frem af jorden, og frugttræer, som bærer frugt med kerner, skal vokse op, så de kan formere sig, hver efter sin art.” Og sådan blev det. 12 Op af jorden spirede grønne planter, som bar frø, og træer, som bar frugt med kerner, hver efter sin art. Og Gud glædede sig over sit værk. 13 Det blev aften, og det blev morgen. Det var den tredje dag.

14-15 Så sagde Gud: „Der skal være lysgivere på himmelhvælvingen, som sætter skel mellem dag og nat, og som markerer årstidernes skiften og festdagenes begyndelse.” Og sådan blev det. 16 Gud frembragte to store lys på himlen til at skinne på jorden, det største lys, solen, til at herske om dagen, og det mindre, månen, til at herske om natten sammen med stjernerne. 17 Han satte dem på himmelhvælvingen til at lyse på jorden, 18 til at sætte skel mellem dagen og natten. Og han glædede sig over sit værk. 19 Det blev aften, og det blev morgen. Det var den fjerde dag.

20 Dernæst sagde Gud: „Vandet skal vrimle med fisk og andet liv, og der skal være et mylder af fugle i luften.” Og sådan blev det. 21 Gud skabte de store havdyr og en mangfoldighed af fisk og fugle; og han glædede sig over sit værk. 22 Han velsignede dem og sagde: „Formér jer og bliv mange. Fiskene skal fylde havene, og fuglene skal fylde luften.” 23 Det blev aften, og det blev morgen. Det var den femte dag.

24 Derpå sagde Gud: „Af jorden skal der fremstå alle slags dyr—kvæg, krybdyr og alle mulige vilde dyr.” Og sådan blev det. 25 Gud dannede alle slags vilde dyr, krybdyr og husdyr, alle i stand til at formere sig, hver efter sin art; og Gud glædede sig over sit værk.

26 Så sagde Gud: „Lad os frembringe et levende væsen, der ligner os. Det skal herske over alt dyrelivet—fiskene i havet, fuglene i luften og de tamme og vilde dyr på jorden.” 27 Da skabte Gud to mennesker, som lignede ham. De blev skabt som mand og kvinde. 28 Gud velsignede dem og sagde: „Formér jer og bliv mange, bred jer over hele jorden og tag den i besiddelse! Hersk over fiskene, fuglene og alle de andre dyr på jorden.” 29 Gud fortsatte: „Se! Jeg giver jer alle de frøbærende planter på jorden som føde, og I må også spise frugt fra de mange frugttræer. 30 Jeg giver græsset og alt grønt til føde for dyrene og fuglene.” Og sådan blev det. 31 Gud betragtede nu hele sit skaberværk, og han var ovenud tilfreds med det. Det blev aften, og det blev morgen. Det var den sjette dag.