Balam 10 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Balam 10:1-18

Okufuga kwa Toola

1Awo oluvannyuma lwa Abimereki, ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, era muzzukulu wa Dodo, omusajja wa Isakaali eyajja okulokola Isirayiri, eyabeeranga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi. 2N’akulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu esatu, n’aziikibwa mu Samiri.

Okufuga kwa Yayiri

3Oluvannyuma lw’oyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi, eyakulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri. 4Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu abeebagalanga endogoyi amakumi asatu, era baafuganga ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gireyaadi ebiyitibwa Kavosu Yayiri n’okutuusa leero. 5Yayiri n’afa n’aziikibwa mu Kamoni.

Okufuga kwa Yefusa

6Abayisirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama, nga baweereza Babaali ne Asutoleesi ne bakatonda ab’e Busuuli, ne bakatonda ab’e Sidoni, ne bakatonda ab’e Mowaabu, ne bakatonda ab’abaana ba Amoni, ne bakatonda b’Abafirisuuti, ne bava ku Mukama ne batamuweereza. 7Mukama n’anyiigira Isirayiri, n’abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’abaana ba Amoni, 8abaanyigiriza abaana ba Isirayiri, era ne babajooga okumala emyaka kkumi na munaana. Baanyigiriza abaana ba Isirayiri bonna abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi y’Abamoli eri mu Gireyaadi. 9Abaana ba Amoni nabo ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda ne Benyamini, n’ennyumba ya Efulayimu. Isirayiri ne yeeraliikirira nnyo. 10Awo abaana ba Isirayiri ne bakaabira Mukama nga bagamba nti, “Ddala ddala twasobya, ne tuva ku Katonda waffe, ne tuweereza Babaali.”

11Mukama Katonda n’addamu abaana ba Isirayiri nti, “Abamisiri n’Abamoli, n’abaana ba Amoni, n’Abafirisuuti, 12n’Abasidoni, n’Abamaleki, n’Abamawoni,10:12 Abamawoni abo baali ba njawulo ku bantu abaabeeranga mu Mawoni ekya Yuda. bwe baabanyigiriza ne munkowoola, sabalokola okuva mu mukono gwabwe? 13Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala, noolwekyo sigenda kubalokola nate. 14Mugende mukaabire bakatonda abo be mwasalawo okuweereza, babalokole mu nnaku yammwe.”

15Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna ky’onoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano. 16Ne baggya wakati mu bo bakatonda abalala, ne baweereza Mukama Katonda. Mukama n’alumwa olw’ennaku ya Isirayiri.”

17Awo abaana ba Amoni ne basiisira mu Gireyaadi, n’abaana ba Isirayiri nabo ne basiisira mu Mizupa. 18Abakulembeze b’abantu mu Gireyaadi ne bagambagana nti, “Omusajja anaasooka okulumba abaana ba Amoni, ye anaabeera omukulembeze w’abatuuze b’omu Gireyaadi.”

New Russian Translation

Судей 10:1-18

Тола

1После Авимелеха спасать Израиль поднялся Тола, сын Фуи, сына Додо, из рода Иссахара. Он жил в Шамире, в нагорьях Ефрема. 2Он был судьей в Израиле двадцать три года; после этого он умер и был похоронен в Шамире.

Иаир

3После него поднялся Иаир из Галаада, который был судьей в Израиле двадцать два года. 4У него было тридцать сыновей, которые ездили на тридцати ослах. У них было тридцать городов в Галааде, которые и по сегодняшний день называются селениями Иаира10:4 Евр.: «хаввот-иаир».. 5Когда Иаир умер, его похоронили в Камоне.

Идолопоклонство израильтян

6Израильтяне вновь стали творить зло в глазах Господа. Они служили Баалам и Астартам, богам Арама, богам Сидона, богам Моава, богам аммонитян и богам филистимлян, а Господа оставили и не служили Ему. 7Господь разгневался на Израиль и отдал их в руки филистимлян и аммонитян, 8которые в тот год притесняли и угнетали израильтян. Восемнадцать лет они угнетали израильтян на восточной стороне Иордана в Галааде, в земле аморреев. 9Аммонитяне тоже переправились через Иордан, чтобы воевать с Иудой, Вениамином и домом Ефрема; израильтяне были в большой беде. 10И израильтяне воззвали к Господу:

– Мы согрешили против Тебя, оставив нашего Бога и служа Баалам.

11Господь ответил им:

– Когда египтяне, аморреи, аммонитяне, филистимляне, 12сидоняне, амаликитяне и маонитяне10:12 Или: «мадианитяне». угнетали вас и вы взывали ко Мне о помощи, то разве Я не спасал вас от их рук? 13Но вы оставили Меня и служили другим богам, и Я не стану больше спасать вас. 14Идите и взывайте к другим богам, которых вы избрали. Пусть они спасают вас в беде!

15Но израильтяне сказали Господу:

– Мы согрешили. Сделай с нами все, что Тебе угодно, но сегодня спаси нас.

16Они избавились от чужеземных богов и стали служить Господу. И Он не мог больше видеть, как Израиль страдает.

17Когда аммонитяне приготовились к войне и поставили лагерь в Галааде, израильтяне собрались и поставили лагерь в Мицпе. 18А вожди жителей Галаада говорили друг другу:

– Всякий, кто начнет войну с аммонитянами, будет главой всех жителей Галаада.