Okuzikirira kwa Isirayiri
19:1 Zab 68:21Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti,
“Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi,
emifuubeeto gikankane.
Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna,
n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala.
Tewaliba n’omu awona.
29:2 a Zab 139:8 b Yer 51:53 c Ob 4Ne bwe balisima ne baddukira emagombe,
omukono gwange gulibaggyayo.
Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu
ndibawanulayo.
39:3 a Am 1:2 b Zab 139:8-10 c Yer 16:16-17Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri,
ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.
Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja
ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
49:4 a Lv 26:33; Ez 5:12 b Yer 21:10 c Yer 39:16 d Yer 44:11Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse,
era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo.
Ndibasimba amaaso
ne batuukibwako bibi so si birungi.”
59:5 a Zab 46:2; Mi 1:4 b Am 8:8Era Mukama, Mukama ow’Eggye,
akwata ku nsi n’esaanuuka,
abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga,
ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira
ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;
69:6 Zab 104:1-3, 5-6, 13; Am 5:8oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu,
omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi,
ayita amazzi g’ennyanja,
n’agayiwa wansi ku lukalu,
Mukama lye linnya lye.
79:7 a Is 20:4; 43:3 b Ma 2:23; Yer 47:4 c 2Bk 16:9; Is 22:6; Am 1:5; 2:10Mukama ayongera n’agamba nti,
“Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi?
Ssabaggya mu nsi y’e Misiri
nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli,
n’Abasuuli e Kiri?”
Essuubi lya Isirayiri
89:8 Yer 44:27“Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda,
gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi.
Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya
okuva ku nsi.
Kyokka sirizikiririza ddala
ennyumba ya Yakobo okugimalawo,”
bw’ayogera Mukama.
99:9 a Luk 22:31 b Is 30:28“Kubanga ndiwa ekiragiro,
ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa
mu mawanga gonna,
ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta
era tewaliba kayinja akaligwa wansi.
109:10 Am 6:3Aboonoonyi bonna mu bantu bange,
balifa kitala,
abo bonna aboogera nti,
‘Akabi tekalitutuukako.’ ”
Isirayiri edda obuggya
119:11 Zab 80:12“Mu biro ebyo ndizzaawo
ennyumba ya Dawudi eyagwa
era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa,
ne nzizaawo ebyali amatongo,
ne biba nga bwe byabeeranga,
129:12 a Kbl 24:18 b Is 43:7 c Bik 15:16-17*balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo
n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,”
bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.
139:13 a Lv 26:5 b Yo 3:18“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
“akungula lw’alisinga asiga,
n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu.
Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi,
n’akulukuta okuva mu busozi.
149:14 a Is 61:4 b Yer 30:18; 31:28; Ez 28:25-26Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse,
ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu.
Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu,
era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
159:15 a Is 60:21 b Yer 24:6; Ez 34:25-28; 37:12, 25Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,
era tebaliggibwa nate
mu nsi gye nabawa,”
bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.