Ekisero Ky’ebibala
1Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde. 28:2 a Yer 24:3 b Am 7:8 c Ez 7:2-9Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”
Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.”
Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.
38:3 a Am 5:16 b Am 5:23; 6:10“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”
48:4 a Nge 30:14 b Zab 14:4; Am 2:7Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,
era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,
58:5 2Bk 4:23; Nek 13:15-16; Kos 12:7; Mi 6:10-11nga mwogera nti,
“Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi,
tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke,
era ne Ssabbiiti eggwaako ddi,
tutunde eŋŋaano yaffe?”
Mukozesa minzaani enkyamu
ne mwongera emiwendo
ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
68:6 Am 2:6mmwe abagula abaavu n’effeeza
n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto,
ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.
78:7 a Am 6:8 b Kos 8:13Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.
88:8 a Kos 4:3 b Zab 18:7; Yer 46:8; Am 9:5“Ensi terikankana olw’ekyo,
na buli abeeramu n’akungubaga?
Ensi yonna eritumbiira ng’omugga Kiyira
n’ekka ng’amazzi
ag’omugga gw’e Misiri bwe gakola.”
98:9 Yob 5:14; Is 59:9-10; Yer 15:9; Am 5:8; Mi 3:6Mukama Katonda agamba nti,
“Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu
era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
108:10 a Yer 48:37 b Yer 6:26; Zek 12:10 c Ez 7:18Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.
118:11 1Sa 3:1; 2By 15:3; Ez 7:26“Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndisindika enjala mu nsi yonna,
teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi,
naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.
128:12 Ez 20:3, 31Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala,
bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo
nga banoonya ekigambo kya Mukama,
naye tebalikifuna.
138:13 Is 41:17; Kos 2:3“Mu biro ebyo,
“abawala ababalagavu n’abalenzi ab’amaanyi
balizirika olw’ennyonta.
148:14 a 1Bk 12:29 b Am 5:5 c Am 5:2Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya
oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’
oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’
baligwa obutayimuka nate.”