Abaruumi 5 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 5:1-21

Emirembe n’Essanyu

1Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, 2era olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda. 3Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ng’okubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. 4Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, n’embala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi. 5Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.

6Bwe twali tukyali banafu wakati mu bibi, Kristo yatufiirira ffe aboonoonyi. 7Kizibu okufiirira omuntu omutuukirivu. Oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufa ku lw’omuntu omulungi. 8Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.

9Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda. 10Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe? 11So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.

Okufa mu Adamu n’Obulamu mu Kristo

12Ekibi kyajja mu nsi olw’omuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri y’emu olw’okuba nga bonna baayonoona, bonna balifa. 13Ekibi kyaliwo mu nsi ng’amateeka tegannabaawo. Kyokka Katonda teyagamba nti be balina okuvunaanyizibwa olw’ebibi byabwe, kubanga Amateeka gaali tegannabeerawo. 14Kyokka okufa kwali kukyafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n’abo abataayonoona mu ngeri Adamu gye yayonoonamu. Mu ngeri endala, Adamu ali mu kifaananyi kya Kristo eyajja oluvannyuma. 15Naye Katonda wa kisa nnyo, kubanga ekirabo kye yali agenda okutuwa, kyali kya njawulo ku kibi kya Adamu. Okwonoona kw’omuntu omu, Adamu, kwaleetera bangi okufa, kyokka ekisa kya Katonda n’ekirabo ekiri mu kisa ky’omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira nnyo ne kibuna mu bantu bangi. 16Waliwo enjawulo nnene wakati w’ekibi kya Adamu n’ekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gy’ali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi. 17Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?

18Kale ng’abantu bonna bwe baasalirwa omusango olw’ekibi ekimu, bwe kityo n’olw’ekikolwa ekimu eky’obutuukirivu abantu bonna mwe baaweerwa obutuukirivu ne bafuna obulamu. 19Obujeemu bw’omuntu omu bwafuula abangi okuba aboonoonyi. Bwe butyo n’obuwulize bw’omuntu omu Yesu, bulifuula bangi okuba abatuukirivu.

20Amateeka gaatekebwawo, amaanyi g’ekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo. 21Ng’ekibi bwe kyafugira mu kufa, n’ekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

New Russian Translation

Римлянам 5:1-21

Примирение с Богом

1Поэтому, получив оправдание по вере, мы имеем мир с Богом через нашего Господа Иисуса Христа. 2Через Него нам верою открыт доступ к благодати, в которой мы сейчас и стоим. И мы ликуем в надежде на то, что разделим славу Бога. 3Более того, мы радуемся в наших страданиях, потому что знаем, что страдания вырабатывают стойкость, 4стойкость дает опытность, а опытность вселяет надежду. 5Надежда же не разочаровывает, потому что Божья любовь излилась в наши сердца через Святого Духа, Который нам дан.

6Когда мы еще были беспомощными, Христос в определенное время умер за нечестивых. 7Ведь вряд ли кто отдаст свою жизнь даже за праведника, хотя, может быть, кто-то и решится умереть за доброго человека. 8Но Бог проявил Свою любовь к нам в том, что Христос умер за нас, когда мы были еще грешниками.

9И сейчас, когда мы оправданы Его кровью, мы тем более будем спасены Им от Божьего гнева! 10Если мы, в прошлом враги Богу, примирились с Ним через смерть Его Сына, то тем более, уже примиренные, мы будем спасены Его жизнью! 11Более того, мы хвалимся Богом через нашего Господа Иисуса Христа, через Которого мы теперь и получили это примирение!

Адам и Христос

12Грех вошел в мир через одного человека, а с грехом – смерть, и, таким образом, все стали смертными, потому что в нем все согрешили5:12 Или: «потому что все согрешили».. 13Еще до того, как был дан Закон, грех уже был в мире, но грех не вменяется там, где нет Закона. 14Однако же от Адама и до Моисея смерть уже царствовала и над теми, кто не согрешил как Адам, преступив Божий запрет.

Адам, в каком-то смысле, является прообразом Того, Кто должен был прийти. 15Но дар благодати действует не так, как преступление Адама. Если множество людей умерло из-за согрешения одного, то тем более благодать Божья и дар по благодати одного Человека, Иисуса Христа, в изобилии даются многим! 16Последствия греха одного человека не могут быть сравнимы с тем, что дает этот дар. Суд за одно преступление повлек за собой осуждение, а дар благодати принес оправдание от множества преступлений. 17Если из-за преступления всего лишь одного человека воцарилась смерть, то тем более через одного Человека, Иисуса Христа, будут царствовать в жизни те, кто принимает богатство благодати и дар праведности!

18Итак, как преступление одного принесло осуждение всем людям, так и праведный поступок Одного принес оправдание, дающее жизнь всем. 19Как непослушанием одного многие стали грешниками, так и послушанием Одного многие станут праведными.

20Закон же пришел, чтобы умножилось преступление. Но там, где умножился грех, возникло и изобилие благодати, 21чтобы как грех царствовал и вел к смерти, так и благодать царствовала в праведности, ведущей к вечной жизни через Иисуса Христа, нашего Господа.