Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Abaruumi 12

Ssaddaaka Ennamu

1Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo. So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.

Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza. Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo. Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo. Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri, oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza; oba omulala okugumya banne mu kubazzaamu amaanyi, oba omulala mu kugaba, oba omulala, okufuga n’obunyiikivu, n’omulala okulaga ekisa nga musanyufu.

Okwagala

Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi, 10 nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa, 11 mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama, 12 nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba. 13 Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.

14 Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga. 15 Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba. 16 Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.

17 Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna. 18 Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna; 19 abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama. 20 “Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.” 21 Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.

New International Reader's Version

Romans 12

Living as a Holy Sacrifice to God

1Brothers and sisters, God has shown you his mercy. So I am asking you to offer up your bodies to him while you are still alive. Your bodies are a holy sacrifice that is pleasing to God. When you offer your bodies to God, you are worshiping him in the right way. Don’t live the way this world lives. Let your way of thinking be completely changed. Then you will be able to test what God wants for you. And you will agree that what he wants is right. His plan is good and pleasing and perfect.

Serving One Another in the Body of Christ

God’s grace has been given to me. So here is what I say to every one of you. Don’t think of yourself more highly than you should. Be reasonable when you think about yourself. Keep in mind the faith God has given to each of you. Each of us has one body with many parts. And the parts do not all have the same purpose. So also we are many persons. But in Christ we are one body. And each part of the body belongs to all the other parts. We all have gifts. They differ according to the grace God has given to each of us. Do you have the gift of prophecy? Then use it according to the faith you have. If your gift is serving, then serve. If it is teaching, then teach. Is it encouraging others? Then encourage them. Is it giving to others? Then give freely. Is it being a leader? Then work hard at it. Is it showing mercy? Then do it cheerfully.

Love in Action

Love must be honest and true. Hate what is evil. Hold on to what is good. 10 Love one another deeply. Honor others more than yourselves. 11 Stay excited about your faith as you serve the Lord. 12 When you hope, be joyful. When you suffer, be patient. When you pray, be faithful. 13 Share with the Lord’s people who are in need. Welcome others into your homes.

14 Bless those who hurt you. Bless them, and do not curse them. 15 Be joyful with those who are joyful. Be sad with those who are sad. 16 Agree with one another. Don’t be proud. Be willing to be a friend of people who aren’t considered important. Don’t think that you are better than others.

17 Don’t pay back evil with evil. Be careful to do what everyone thinks is right. 18 If possible, live in peace with everyone. Do that as much as you can. 19 My dear friends, don’t try to get even. Leave room for God to show his anger. It is written, “I am the God who judges people. I will pay them back,” (Deuteronomy 32:35) says the Lord. 20 Do just the opposite. Scripture says,

“If your enemies are hungry, give them food to eat.
    If they are thirsty, give them something to drink.
By doing those things, you will pile up burning coals on their heads.” (Proverbs 25:21,22)

21 Don’t let evil overcome you. Overcome evil by doing good.