Abakkolosaayi 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abakkolosaayi 4:1-18

Ebiragiro Ebirala

1Mmwe bakama b’abaddu, mubenga benkanya eri abaddu bammwe nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu. 24:2 Luk 18:1Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga 34:3 a Bik 14:27 b Bef 6:19, 20nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa. 4Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako. 54:5 a Bef 5:15 b Mak 4:11 c Bef 5:16Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. 64:6 a Bef 4:29 b Mak 9:50 c 1Pe 3:15Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.

74:7 a Bik 20:4 b Bef 6:21, 22Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna. 84:8 Bef 6:21, 22Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu n’amaanyi, 94:9 Fir 10awamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku b’ewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.

104:10 a Bik 19:29 b Bik 4:36Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti bw’aliba ng’aze gye muli mumusembezanga, babatumidde; 11ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi. 124:12 a Bak 1:7; Fir 23 b Bar 15:30 c 1Ko 2:6Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza. 134:13 Bak 2:1Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw’afuba ennyo ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli. 144:14 a 2Ti 4:11; Fir 24 b 2Ti 4:10Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza. 154:15 Bar 16:5Mulamuse abooluganda ab’omu Lawodikiya, ne Nunfa, n’ekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.

164:16 2Bs 3:14Ebbaluwa eno bw’emalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n’ab’ekkanisa y’omu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.

174:17 a Fir 2 b 2Ti 4:5Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”

18Nze Pawulo nzennyini nze mpandiise okulamusa kuno. Munzijukirenga mu busibe bwange. Ekisa kibeerenga nammwe.