Abakkolosaayi 3 – LCB & CRO

Luganda Contemporary Bible

Abakkolosaayi 3:1-25

Ebiragiro ku Butukuvu

1Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 2Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, 3kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. 4Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya

5Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. 6Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, 7ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. 8Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. 9Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 10ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.

12Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

15N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

Amateeka g’Omu Nnyumba z’Abakristaayo

16Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

18Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

19Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

20Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

21Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

22Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

Knijga O Kristu

Kološanima 3:1-25

Novi život u Kristu

1Uskrsnuli ste s Kristom. Zato težite za nebeskim, gdje Krist sjedi na počasnome mjestu, Bogu zdesna. 2Razmišljajte o onome što u nebu; ne provodite vrijeme baveći se zemaljskim stvarima. 3Jer umrli ste s Kristom i vaš je pravi život skriven s Kristom u Bogu. 4A kada se Krist, koji je naš pravi život, objavi cijelome svijetu, tada će i vi imati udjela u njegovoj slavi.

5Usmrtite dakle ono zemaljsko u svojemu tijelu: blud, nečistoću, strasti, zlu požudu i pohlepu. Ne budite pohlepni za stvarima ovoga svijeta jer je to idolopoklonstvo 6zbog kojega će na ljude pasti Božji gnjev. 7I vi ste nekoć tako živjeli. 8Ali sada od sebe odbacite gnjev, srdžbu, opakost, hulu i prostotu! 9Ne lažite jedni drugima jer ste sa sebe svukli staru zlu narav i njezina zla djela. 10Obukli ste na sebe posve novoga čovjeka, koji se obnavlja spoznajući svojega Stvoritelja. 11Nema više ovdje ni Grka ni Židova, ni obrezana ni neobrezana, ni barbara ni skita, ni roba ni slobodna čovjeka; tu je samo Krist—koji je sve i u svima.

12Vi ste sveti i ljubljeni Božji izabranici. Obucite se stoga u milosrdno srce, dobrostivost, poniznost i strpljivost. 13Podnosite nedostatke drugih i praštajte onima kojima imate što zamjeriti. Kao što je Gospodin vama oprostio, tako i vi opraštajte drugima. 14A najvažnije je: obucite se u ljubav! Ona nas veže u savršeni sklad.

15Neka vašim srcima upravlja Kristov mir. Udovi ste istoga tijela i zato ste pozvani živjeti u miru. Budite zahvalni! 16Neka Kristova riječ u svem svojem bogatstvu prebiva u vama. Poučavajte se i opominjite međusobno sa svom mudrošću. U srcu pjevajte Bogu psalme, hvalospjeve i duhovne pjesme sa zahvalnošću. 17I ma što činili, riječju ili djelom, činite u ime Gospodina Isusa, zahvaljujući po njemu Bogu Ocu.

Upute kršćanskim obiteljima

18Žene, pokoravajte se svojim muževima kao što dolikuje u Gospodinu.

19Muževi, volite svoje žene i ne budite osorni prema njima.

20Djeco, slušajte u svemu roditelje jer je to ugodno Gospodinu.

21Očevi, ne ogorčujte svoju djecu da ne postanu malodušna.

22Robovi, budite poslušni svojim zemaljskim gospodarima u svemu. Ne trudite se da im ugodite samo dok vas vide, već uvijek tako činite, iskrena srca, u strahu Gospodnjem. 23Što god činili, činite od srca, kao Gospodinu, a ne ljudima. 24Znajte da ćete od Gospodina kao nagradu dobiti baštinu. Služite Gospodinu Kristu. 25Tko čini nepravdu, dobit će i plaću nepravednika. U Bogu nema pristranosti!