Pawulo Ayanirizibwa Abatume
12:1 Bik 15:2Bwe waayitawo emyaka kkumi n’ena ne nzirayo ne Balunabba ne Tito e Yerusaalemi. 22:2 a Bik 15:4, 12 b 1Ko 9:24; Baf 2:16Nagendayo olw’okubikulirwa kwe nafuna, ne mbanjulira Enjiri gye mbuulira Abaamawanga. Nayogera n’abakulembeze b’Ekkanisa mu kyama balyoke bategeere bye njigiriza, si kulwa nga nteganira bwereere, ne bakkiriza nti bituufu. 32:3 a 2Ko 2:13 b Bik 16:3; 1Ko 9:21Tito gwe nnali naye ne batamuwaliriza kukomolebwa, newaakubadde nga yali munnaggwanga. 42:4 a 2Ko 11:26 b Yud 4 c Bik 15:1Naye olw’abooluganda ab’obulimba abaayingizibwa mu kyama okuketta eddembe lye tulina mu Kristo Yesu, balyoke batufuule abaddu, 52:5 nny 14abo tetwabawuliriza essaawa n’emu, amazima g’enjiri galyoke geeyongerenga mu mmwe.
62:6 a Bag 6:3 b Bik 10:34Naye abo abaabalibwa ng’okuba ekintu eky’omuwendo, abataaliko bwe baali gye ndi kubanga Katonda tasosola mu bantu, nze gye ndi tebalina kye bannyongerako, 72:7 a 1Bs 2:4; 1Ti 1:11 b Bik 9:15 c nny 9, 11, 14naye mu ngeri endala bwe baalaba nga nateresebwa Enjiri ey’abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey’abakomole, 82:8 Bik 1:25oyo eyakolera mu Peetero olw’obutume bw’abakomole, ye yakolera ne mu nze ku lw’Abaamawanga. 92:9 a nny 7, 11, 14 b 1Ti 3:15 c Bik 4:36 d Bar 12:3Yakobo ne Keefa2:9 Keefa ye Simooni Peetero ne Yokaana abaalabikanga ng’empagi bwe baalaba ekisa ekya mpeebwa, ne batukwata mu ngalo eza ddyo nze ne Balunabba nga bassa kimu naffe nti ffe tubeere mu Bamawanga, naye bo babeere mu b’abakomole. 102:10 Bik 24:17Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ng’ekyo kye nnali nesunga okukola.
Pawulo Anenya Peetero
112:11 a nny 7, 9, 14 b Bik 11:19Naye Peetero ate era nga ye Keefa, bwe yajja mu Antiyokiya ne mmunenya mu lwatu kubanga yali mukyamu. 122:12 a Bik 11:3 b Bik 11:2Kubanga abaava eri Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n’Abamawanga, naye bwe bajja n’atandika okubeeyawulako ng’atya abakomole. 132:13 nny 1; Bik 4:36Abayudaaya abalala bonna ne bamwegattako mu bukuusa, ekyo ne kireetera ne Balunabba okusendebwasendebwa obukuusa bwabwe.
142:14 a nny 5 b nny 7, 9, 11 c Bik 10:28Naye bwe nalaba nga tebatambula bulungi ng’amazima g’enjiri bwe gali, ne ŋŋamba Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Obanga ggwe Omuyudaaya ogoberera empisa z’Abamawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya Abaamawanga okugobereranga empisa z’Ekiyudaaya?”
15Ffe mu buzaaliranwa tuli Bayudaaya so si Bamawanga aboonoonyi. 162:16 Bik 13:39; Bar 9:30Kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa kugondera mateeka, wabula abufuna lwa kukkiriza Yesu Kristo, era naffe kyetwava tukkiriza Yesu Kristo tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza so si lwa kugondera mateeka. Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa eby’amateeka.
172:17 a nny 15 b Bag 3:21Naye oba nga bwe twanoonya okuweebwa obutuukirivu mu Kristo twasangibwa okuba aboonoonyi, kitegeeza nti Kristo muweereza wa kibi? Kikafuuwe. 18Kubanga bwe nzimba nate bye nazikiriza, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi. 192:19 a Bar 7:4 b Bar 6:10, 11, 14; 2Ko 5:15Kubanga olw’amateeka nnafa eri mateeka, ndyoke mbeere omulamu mu Katonda. Nakomererwa wamu ne Kristo; 202:20 a Bar 6:6 b 1Pe 4:2 c Mat 4:3 d Bar 8:37 e Bag 1:4kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange. 212:21 Bag 3:21Ssidibya kisa kya Katonda; naye oba nga obutuukirivu buva mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere.