Okulamusa
11:1 a Bik 16:1; 2Ko 1:1 b Bik 9:13 c Bik 16:12 d 1Ti 3:1 e 1Ti 3:8Nze Pawulo ne Timoseewo abaddu ba Kristo Yesu tuwandiikira abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, awamu n’abalabirizi n’abadiikoni; 21:2 Bar 1:7ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.
Okwebaza n’okusaba Katonda
31:3 Bar 1:8Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 41:4 Bar 1:10era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu. 51:5 a Bik 2:42; Baf 4:15 b Bik 16:12-40Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri. 61:6 nny 10; 1Ko 1:8Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu. 71:7 a 2Pe 1:13 b 2Ko 7:3Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa. 8Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu. 91:9 1Bs 3:12Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera, 101:10 nny 6; 1Ko 1:8mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo, 111:11 Yak 3:18nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza.
Obusibe bwa Pawulo bubunyisa Njiri
12Abooluganda, njagala mmwe mutegeere kaakano nti ebimu ebyambaako byongera bwongezi kubunyisa Njiri, 131:13 nny 7, 14, 17n’okusibibwa kwange kulyoke kulabise Kristo eri olusiisira lwonna olw’abaserikale ba kabaka n’eri abalala bonna. 141:14 nny 7, 13, 17N’abooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olw’okusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya.
15Weewaawo abamu bategeeza abantu Kristo lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. 161:16 nny 7, 12Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nalondebwa lwa kulwanirira Njiri. 171:17 a Baf 2:3 b nny 7, 13, 14Naye bali bategeeza Kristo lwa kuvuganya, so si mu mazima, nga balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu. 18Naye nze nfaayo ki? Kristo bw’abuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi.
Era nzija kweyongera okusanyuka. 191:19 a 2Ko 1:11 b Bik 16:7Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange. 201:20 a Bar 8:19 b nny 14 c 1Ko 6:20 d Bar 14:8Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa. 211:21 Bag 2:20Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde. 22Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ng’ekyo kibala ky’okufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo. 231:23 a 2Ti 4:6 b Yk 12:26; 2Ko 5:8Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi. 24Naye okusigala mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe 25Ekyo nkikakasa era nkimanyi nti nzija kuba nga nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okusanyuka n’okukula mu kukkiriza, 26bwe ndikomawo gye muli mulyoke mweyongere okwenyumiririza mu Kristo ku lwange.
271:27 a Bef 4:1 b 1Ko 16:13 c Yud 3Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu. 28Temutyanga abo ababawakanya kubanga ke kabonero akakakasa nti balizikirizibwa, naye mmwe mulirokolebwa, era ekyo kiva eri Katonda. 291:29 a Mat 5:11, 12 b Bik 14:22Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye n’okubonaabona ku lulwe. 301:30 a Bak 2:1; 1Bs 2:2 b Bik 16:19-40 c nny 13Olutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira lwe ndiko kaakano, nammwe lwe muliko.