Abaebbulaniya 5 – LCB & NIRV

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 5:1-14

1Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu n’ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo n’essaddaaka olw’ebibi byabwe. 2Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era n’abo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu. 3Olw’obunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw’abantu.

4Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ng’ayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni. 5Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti,

“Ggwe oli Mwana wange,

leero nkuzadde ggwe.”

6Era n’awalala agamba nti,

“Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe,

ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

7Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe. 8Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona. 9Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda. 10Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

Okulabula ku Kudda Ennyuma

11Waliwo bingi bye twandiyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu. 12Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo eby’amazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo ey’abakulu. 13Kubanga omuntu bw’aba ng’akyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku by’obutuukirivu. 14Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.

New International Reader’s Version

Hebrews 5:1-14

1Every high priest is chosen from among the people. He is appointed to act for the people. He acts for them in whatever has to do with God. He offers gifts and sacrifices for their sins. 2Some people have gone astray without knowing it. He is able to deal gently with them. He can do that because he himself is weak. 3That’s why he has to offer sacrifices for his own sins. He must also do it for the sins of the people. 4And no one can take this honor for himself. Instead, he receives it when he is appointed by God. That is just how it was for Aaron.

5It was the same for Christ. He did not take for himself the glory of becoming a high priest. But God said to him,

“You are my Son.

Today I have become your Father.” (Psalm 2:7)

6In another place God said,

“You are a priest forever,

just like Melchizedek.” (Psalm 110:4)

7Jesus prayed while he lived on earth. He made his appeal with sincere cries and tears. He prayed to the God who could save him from death. God answered Jesus because he truly honored God. 8Jesus was God’s Son. But by suffering he learned what it means to obey. 9In this way he was made perfect. Eternal salvation comes from him. He saves all those who obey him. 10God appointed him to be the high priest, just like Melchizedek.

A Warning Against Falling Away

11We have a lot to say about this. But it is hard to make it clear to you. That’s because you are no longer trying to understand. 12By this time you should be teachers. But in fact, you need someone to teach you all over again. You need even the simple truths of God’s word. You need milk, not solid food. 13Anyone who lives on milk is still a baby. That person does not want to learn about living a godly life. 14Solid food is for those who are grown up. They have trained themselves to tell the difference between good and evil. That shows they have grown up.