Omwana Mukulu Okusinga Bamalayika
1Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi; 2naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu. 3Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu. 4Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.
5Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti,
“Ggwe oli Mwana wange,
Leero nkuzadde?”
Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali
naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”
6Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti,
“Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”
7Era ayogera ku bamalayika nti,
“Afuula bamalayika be ng’empewo,
n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”
8Naye ku Mwana ayogera nti,
“Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe;
obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo.
9Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu.
Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako
amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”
10Ayongera n’agamba nti,
“Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi,
era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.
11Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna,
era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.
12Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako,
era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa.
Naye ggwe oba bumu,
so n’emyaka gyo tegirikoma.”
13Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti,
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo,
ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?
14Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.
Mwana Ni Mkuu Kuliko Malaika
11:1 Efe 3:1; 2Kor 1:1; Hes 12:6, 8; Yn 9:29; Ebr 2:3; 4:8; 12:25; Lk 1:70; Mdo 2:30Zamani Mungu alisema na baba zetu kwa njia ya manabii mara nyingi na kwa njia mbalimbali, 21:2 Kum 4:30; Ebr 9:26; 1Pet 1:20; Ebr 1:5; Mt 3:17; Ebr 3:6; 5:8; 7:28; Za 2:8; Mt 28:18; Yn 1:3; Ebr 11:3lakini katika siku hizi za mwisho anasema nasi kwa njia ya Mwanawe, ambaye amemweka kuwa mrithi wa vitu vyote, na ambaye kupitia kwake aliuumba ulimwengu. 31:3 Yn 1:14; 14:9; Kol 1:17; Tit 2:14; Ebr 7:27; Mk 16:19Mwana ni mngʼao wa utukufu wa Mungu na mfano halisi wa nafsi yake, akivihifadhi vitu vyote kwa neno lake lenye uweza. Akiisha kufanya utakaso kwa ajili ya dhambi, aliketi mkono wa kuume wa Aliye Mkuu huko mbinguni. 41:4 Efe 1:21; Flp 2:9, 10; Ebr 8:6Kwa hiyo alifanyika bora kuliko malaika, kama jina alilorithi lilivyo bora kuliko lao.
51:5 Za 2:7; Mt 3:17; 2Sam 7:14Kwa maana ni malaika yupi ambaye wakati wowote Mungu alipata kumwambia,
“Wewe ni Mwanangu;
leo mimi nimekuzaa?”
Au tena,
“Mimi nitakuwa Baba yake,
naye atakuwa Mwanangu?”
61:6 Yn 3:16; Kol 1:18; Ebr 10:5; Kum 32:43; Za 97:7Tena, Mungu amletapo mzaliwa wake wa kwanza ulimwenguni, anasema,
“Malaika wote wa Mungu na wamsujudu.”
71:7 Za 104:4Anenapo kuhusu malaika asema,
“Huwafanya malaika wake kuwa pepo,
watumishi wake kuwa miali ya moto.”
81:8 Lk 1:33; Za 45:6, 7Lakini kwa habari za Mwana asema,
“Kiti chako cha enzi, Ee Mungu,
kitadumu milele na milele,
nayo haki itakuwa fimbo ya utawala
ya ufalme wako.
91:9 Flp 2:9; Isa 61:1, 3; Za 45:6, 7; Mdo 4; 27; 10:38Umependa haki na kuchukia uovu;
kwa hiyo Mungu, Mungu wako,
amekuweka juu ya wenzako
kwa kukupaka mafuta ya furaha.”
101:10 Za 8:6; 102:25; Zek 12:1Pia asema,
“Hapo mwanzo, Ee Bwana, uliweka misingi ya dunia,
nazo mbingu ni kazi ya mikono yako.
111:11 Isa 34:4; 51:6; Ebr 12:27; Mt 24:35; 2Pet 3:7; 3:10; Ufu 21:1Hizo zitatoweka, lakini wewe utadumu;
zote zitachakaa kama vazi.
121:12 Ebr 13:8; Za 102:25, 27Utazikungʼutakungʼuta kama joho,
nazo zitachakaa kama vazi.
Lakini wewe hubadiliki,
nayo miaka yako haikomi kamwe.”
131:13 Ebr 1:3; Mk 16:19; Yos 10:24; Ebr 10:13; Za 110:1; Mt 22:44Je, ni kwa malaika yupi ambaye Mungu amepata kumwambia wakati wowote,
“Keti mkono wangu wa kuume,
hadi nitakapowaweka adui zako
chini ya miguu yako”?
141:14 Za 91:11; 103:20; Dan 7:10; Mt 25:34; Mk 10:17; Mdo 20:32; Rum 11:14; Ebr 2:3; 5:9; 9:28Je, malaika wote si roho watumikao, waliotumwa kuwahudumia wale watakaourithi wokovu?