14:1 Bik 10:42Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu n’abafu omusango, era n’olw’okujja kwe, n’olw’obwakabaka bwe, 24:2 Bag 6:6buuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza. 34:3 1Ti 1:10Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olw’okugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. 4Baligaana okuwuliriza eby’amazima, ne bagoberera enfumo obufumo. 54:5 Bik 21:8Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo.
64:6 a Baf 2:17 b Baf 1:23Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse. 74:7 a 1Ti 1:18 b 1Ko 9:24Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. 84:8 a Bak 1:5 b 2Ti 1:12Kye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe.
9Fuba okujja amangu gye ndi. 104:10 a Bak 4:14 b 1Yk 2:15 c Bik 16:6Kubanga Dema yandekawo ng’ayagala omulembe gwa kaakano, n’agenda e Sessaloniika. Kulesuke yagenda Ggalatiya ne Tito n’agenda e Dalumatiya. 114:11 a Bak 4:14 b 2Ti 1:15 c Bik 12:12Lukka yekka y’ali nange. Ggyayo Makko omuleete, kubanga annyamba nnyo mu buweereza. 124:12 Bik 20:4Tukiko n’amutuma mu Efeso. 13Bw’obanga ojja ondeeteranga omunagiro gwange gwe naleka e Tulowa ewa Kappo. Ondeeteranga n’emizingo gy’ebitabo, na ddala egyo egy’amaliba.
144:14 a Bik 19:33 b Bar 12:19Alegezanda, omuweesi w’ebikomo yankola ebyettima bingi. Mukama alimusasula olw’ebikolwa bye. 15Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe. 164:16 Bik 7:60Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali n’omu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa. 174:17 a Bik 23:11 b Bik 9:15Kyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma. 184:18 a Zab 121:7 b Bar 11:36Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.
Okulamusa n’Omukisa
194:19 Bik 18:2Nnamusiza Pulisika ne Akula n’ab’omu maka ga Onesifolo.
204:20 a Bik 19:22 b Bik 20:4Erasuto yasigalayo mu Kkolinso, ate Tulofiimo namuleka mu Mireeto nga mulwadde. 21Fuba ojje ng’ebiseera by’obutiti tebinnaba kutuuka.
Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n’abooluganda bonna.
224:22 a Bag 6:18; Fir 25 b Bak 4:18Mukama waffe abeerenga n’omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.