2 Samwiri 8 – LCB & SNC

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 8:1-18

Obuwanguzi bwa Dawudi

1Oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, n’abafuula abaddu be, n’awamba n’ekibuga kyabwe ekikulu.

2Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, n’alagira buli omu ku bo yebake wansi, n’abapimako n’olukoba olupima. Buli eyali ebipimo bibiri yattibwanga, naye oyo eyali ow’ebipimo ebisatu nga y’alama. Abamowaabu8:2 Abamowaabu baali bazzukulu ba Lutti (Lub 19:37) abaabeeranga mu kitundu eky’ebuvanjuba bw’Ennyanja ey’Omunnyo. Sawulo yali abawangudde era ng’abafufuggazizza (1Sa 14:47). Dawudi bwe yali mu buwaŋŋanguse, abooluganda be, yabaweereza mu Mowaabu (1Sa 22:3-4). Bajjajja ba Dawudi baavanga mu Mowaabu (Lus 1:22; 4:22) ne bafuuka baddu ba Dawudi ne bamuwanga obusuulu. 3Ate era Dawudi n’awangula Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba, bwe yali nga yeddiza amatwale ge ku Mugga Fulaati. 4Dawudi n’awamba amagaali ga Kadadezeri lukumi, n’abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ebiri. N’atema kumpi embalaasi zonna, n’azilemaza n’alekawo kikumi ku zo.

5Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko ne bajja okubeera Kadadezeri kabaka w’e Zoba, naye Dawudi n’atta emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ku bo. 6Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.

7Dawudi n’anyaga engabo eza zaabu ezasitulibwanga abaserikale ba Kadadezeri n’azireeta e Yerusaalemi. 8Kabaka Dawudi n’anyaga n’ebikomo bingi ddala okuva mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri.

9Awo Toyi kabaka w’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, 10n’atuma mutabani we Yolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako, n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri. Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n’amutwalira ebintu bya ffeeza ne zaabu n’ebikomo.

11Kabaka Dawudi n’abiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu bye yaggya mu mawanga amalala ge yawangula. 12Amawanga gaali: Busuuli, ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti ne Amaleki; n’awonga n’omunyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba.

13Erinnya lya Dawudi ne litutumuka, bwe yakomawo okuva okutta Abasuuli omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu eky’Omunnyo.

14N’ateeka ebibinja bya baserikale mu Busuuli yonna, Abasuuli bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.

Amannya g’Abakungu ba Dawudi

15Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, ng’afuga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu mazima. 16Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w’eggye, Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza, 17Zadooki8:17 Zadooki yali muzzukulu wa Eriyazaali. Yasigala nga musajja wa Dawudi ow’oku lusegere, era oluvannyuma ye yafuka n’amafuta ku musika wa Dawudi, Sulemaani mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali nga be bakabona, Seroya nga ye muwandiisi, 18Benaaya mutabani wa Yekoyaada nga ye mukulu w’Abakeresi n’Abaperesi8:18 Abakeresi n’Abaperesi baali magye mapangise. Abakeresi baava Kuleete, ate Abaperesi nga bava Bufirisuuti. Ebibinja ebyo byombi bye byakumanga bakabaka. abaakuumanga ba kabaka, batabani ba Dawudi nga be bawi ba magezi ab’obwakabaka.

Slovo na cestu

2 Samuelova 8:1-18

1Stalo se potom, že porazil David Filistinské, a zemdlil je; i vzal David Meteg Amma z ruky Filistinských. 2Porazil také Moábské a změřil je provazcem, na zemi je rozprostíraje; a odměřil jich dva provazce k zbití a celý provazec k živení. I učiněni jsou Moábští Davidovi služebníci, a dávali jemu plat. 3Porazil též David Hadadezera syna Rohobova, krále Soba, když byl vytáhl, aby rozšířil končiny své až k řece Eufraten. 4A pobral mu David tisíc vozů a sedm set jezdců, a dvadceti tisíc mužů pěších, a zpodřezoval David žily všechněm koňům vozníkům; toliko zanechal z nich ke stu vozům. 5Přitáhli pak byli Syrští od Damašku na pomoc Hadadezerovi králi Soba, ale David porazil z Syrských dvamecítma tisíc mužů. 6Tedy osadil David stráží Syrii Damašskou, a byli Syrští služebníci Davidovi, dávajíce plat; nebo zachovával Hospodin Davida, kamžkoli se obrátil. 7Pobral také David štíty zlaté, kteréž měli služebníci Hadadezerovi, a přinesl je do Jeruzaléma. 8Z Betach též a z Berot, měst Hadadezerových, nabral král David velmi mnoho mědi. 9A když uslyšel Tohi král Emat, že porazil David všecko vojsko Hadadezerovo, 10Poslal Tohi Jorama syna svého k králi Davidovi, aby ho pozdravil přátelsky, a spolu s ním se radoval z toho, že šťastně bojoval s Hadadezerem, a porazil ho; (nebo Hadadezer vedl válku proti Tohi). Kterýžto přinesl s sebou nádoby stříbrné, též nádoby zlaté a nádoby měděné. 11Ty také obětoval král David Hospodinu s stříbrem a zlatem posvěceným ze všech národů, kteréž podmanil, 12Totiž z Syrských a Moábských, též z synů Ammon a z Filistinských, i z Amalechitských a z kořistí Hadadezera syna Rohobova, krále Soba. 13Zvelebil také David své jméno, když se navracoval od pobití osmnácti tisíců Syrských v údolí solnatém. 14Protož i nad Idumejskými stráž postavil, všecku krajinu Idumejskou stráží osadiv. I učiněni jsou všickni Idumejští služebníci Davidovi; nebo zachovával Hospodin Davida, kamž se koli obrátil. 15I kraloval David nade vším Izraelem, a činil David soud a spravedlnost všemu lidu svému. 16Joáb pak syn Sarvie byl nad vojskem, a Jozafat syn Achiludův kancléřem; 17Sádoch také syn Achitobův a Achimelech syn Abiatarův kněžími, a Saraiáš písařem. 18Benaiáš pak syn Joiadův byl nad Cheretejskými a Peletejskými, a synové Davidovi knížaty.