2 Samwiri 10 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 10:1-19

Dawudi Awangula Abaana ba Amoni

1Mu kiseera ekyo kabaka w’abaana ba Amoni10:1 Abaana ba Amoni babeeranga mu ddungu ebuvanjuba wa Yoludaani n’afa, mutabani we Kamuni n’amusikira. 2Dawudi n’alowooza nga kyandibadde kirungi, okumukolera ebyekisa nga kitaawe bwe yali akoze. Awo Dawudi n’amutumira ekibinja okugenda okumukubagiza olw’okufa kwa kitaawe.

Abasajja ba Dawudi bwe baatuuka mu nsi ey’Abamoni, 3abakungu ba Amoni ne bagamba Kamuni mukama waabwe nti, “Olowooza nga Dawudi okukuweereza ababaka okukubagiza, aba assaamu kitaawo kitiibwa? Olowooza nga Dawudi tabasindise okujja okulawuna n’okuketta ekibuga n’okukiwamba?” 4Awo Kamuni n’akwata abasajja ba Dawudi n’abamwako ekitundu ky’ebirevu byabwe n’abasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma ku manyuma gaabwe, n’abagoba baddeyo ewaabwe.

5Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’atumira abasajja be ababaka, kubanga baali mu buswavu bungi, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula mulyoke mukomewo.”

6Awo Abamoni bwe bategeera nga Dawudi bamufuukidde ekyenyinyalwa, ne bapangisa abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo ebiri okuva e Besukekobu n’e Zoba, n’abalala abasajja lukumi okuva ewa kabaka w’e Maaka, n’abalala omutwalo gumu mu enkumi bbiri okuva e Tobu.

7Dawudi olwawulira ebyo, n’asindika Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira. 8Abamoni ne bavaayo ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu wankaaki w’ekibuga kyabwe, Abasuuli ab’e Zoba n’ab’e Lekobu, n’abasajja ab’e Tobu n’e Maaka bo ne babeera mu ttale.

9Awo Yowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumutaayizza mu maaso n’emabega, n’alondamu abasajja abazira mu Isirayiri, n’abasindika batabaale Abasuuli. 10Abaasigalawo n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, n’abasindika batabaale Abamoni. 11Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Bwe munaalaba Abasuuli nga batuyitiridde amaanyi, munajja ne mutubeera. Abamoni bwe banaabayinga amaanyi, tunajja ne tubabeera. 12Tuddemu amaanyi tulwane masajja olw’abantu baffe, n’olw’ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw’asiima.”

13Awo Yowaabu n’abasajja abaali naye ne bambuka okutabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka. 14Abamoni bwe baalaba nga Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Yowaabu n’alekeraawo okulwana n’Abamoni, n’addayo e Yerusaalemi.

15Awo Abasuuli bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beekuŋŋaanya. 16Kadadezeri n’atumya Abasuuli okuva emitala w’Omugga Fulaati, ne bagenda e Keramu nga bakulembeddwamu Sobaki omuduumizi w’eggye lya Kadadezeri.

17Awo Dawudi bwe yakiwulira, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna n’asomoka Yoludaani n’agenda e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi balwane naye. 18Naye ne badduka mu maaso ga Isirayiri, Dawudi n’atta abasajja lusanvu ku bavuzi b’amagaali g’embalaasi, era n’emitwalo ena ku beebagala embalaasi, n’afumita ne Sobaki omuduumizi w’eggye lyabwe n’afiirawo. 19Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beeweerayo ddala eri Abayisirayiri, era ne babawanga n’obusuulu.

Awo Abasuuli ne batya okuddamu okuyamba Abamoni.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記下 10:1-19

以色列人戰勝亞捫人

1後來,亞捫王死了,他兒子哈嫩繼位。 2大衛說:「我要恩待拿轄的兒子哈嫩,因為他父親曾經恩待我。」他便派臣僕去安慰喪父的哈嫩大衛的臣僕來到亞捫境內, 3亞捫的官長卻對哈嫩說:「大衛派人來安慰你,你以為他是來弔唁你父親嗎?他不過是來探聽虛實,想征服我們的城。」 4哈嫩便把大衛的臣僕抓起來,剃去他們一半鬍子,割去他們下身的衣服,然後放走他們。 5消息傳到大衛那裡,他就派人去迎接他們,告訴他們住在耶利哥,等鬍鬚長好了再回來,因為他們倍覺羞辱。

6亞捫人知道得罪了大衛,便派人到伯·利合瑣巴招募了兩萬名亞蘭步兵、瑪迦王的一千人和一萬二千名陀伯人。 7大衛聽見消息後,就派約押率領全體勇士出戰。 8亞捫人在城門前列陣,瑣巴利合亞蘭人、陀伯人以及瑪迦人在郊野列陣。 9約押見自己前後受敵,就從以色列軍中挑選一些精兵迎戰亞蘭人, 10把餘下的軍兵交給他的兄弟亞比篩帶領,迎戰亞捫人。

11他對亞比篩說:「倘若我勝不過亞蘭人,你便過來支援我;倘若你勝不過亞捫人,我便過去支援你。 12我們要剛強,為我們的人民和我們上帝的城邑而奮勇作戰。願耶和華成全祂自己的旨意!」

13於是,約押率領軍兵進攻亞蘭人,亞蘭人敗逃。 14亞捫人見亞蘭人敗逃,也從亞比篩面前逃回城去。約押打完亞捫人,便回師耶路撒冷

15亞蘭人見自己敗在以色列人手下,便再次聚集起來。 16哈大底謝派人把幼發拉底河那邊的亞蘭人調到希蘭來,由他的將軍朔法率領。 17大衛聽到消息後,就召集以色列全軍,渡過約旦河,來到希蘭亞蘭人列陣迎戰大衛18結果又敗在以色列人手下,四散逃命。大衛殺了七百名戰車兵、四萬騎兵,還殺了他們的將軍朔法19哈大底謝屬下的諸王見自己被以色列人打敗,便向以色列人求和,臣服大衛。從此,亞蘭人再也不敢支援亞捫人了。